Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: An Nur   Umurongo:
وَإِذَا بَلَغَ ٱلۡأَطۡفَٰلُ مِنكُمُ ٱلۡحُلُمَ فَلۡيَسۡتَـٔۡذِنُواْ كَمَا ٱسۡتَـٔۡذَنَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ
59 . Abato mu mmwe bwe batuuka e myaka gy'obukulu bateekwa okusaba okukkirizibwa okuyingira nga bwe basaba abo abakulembedde, bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambobye, era bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَٱلۡقَوَٰعِدُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ ٱلَّٰتِي لَا يَرۡجُونَ نِكَاحٗا فَلَيۡسَ عَلَيۡهِنَّ جُنَاحٌ أَن يَضَعۡنَ ثِيَابَهُنَّ غَيۡرَ مُتَبَرِّجَٰتِۭ بِزِينَةٖۖ وَأَن يَسۡتَعۡفِفۡنَ خَيۡرٞ لَّهُنَّۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
60 . N'abannyuka eby'obufumbo mu bakyala abo abatakyalina ssuubi mu kufumbirwa, tebalina kabi obuteebikkirira naye nga tebegyagyama na bya kwenyiriza, era okwessaamu ensa kye kisinga obulungi gye bali, era bulijjo Katonda awulira nnyo mumanyi.
Ibisobanuro by'icyarabu:
لَّيۡسَ عَلَى ٱلۡأَعۡمَىٰ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡأَعۡرَجِ حَرَجٞ وَلَا عَلَى ٱلۡمَرِيضِ حَرَجٞ وَلَا عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ أَن تَأۡكُلُواْ مِنۢ بُيُوتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ ءَابَآئِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أُمَّهَٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ إِخۡوَٰنِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَخَوَٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَعۡمَٰمِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ عَمَّٰتِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ أَخۡوَٰلِكُمۡ أَوۡ بُيُوتِ خَٰلَٰتِكُمۡ أَوۡ مَا مَلَكۡتُم مَّفَاتِحَهُۥٓ أَوۡ صَدِيقِكُمۡۚ لَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَن تَأۡكُلُواْ جَمِيعًا أَوۡ أَشۡتَاتٗاۚ فَإِذَا دَخَلۡتُم بُيُوتٗا فَسَلِّمُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ تَحِيَّةٗ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ مُبَٰرَكَةٗ طَيِّبَةٗۚ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ
61 . Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bbo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda ba mmwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga ba kitammwe abato oba mu maka ga ba senga mmwe, oba mu maka ga ba kojjammwe oba mu maka ga ba maama ba mmwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwa mmwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawudde yawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Katonda. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambo (bye) mulyoke mutegeere.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: An Nur
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga