Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Muuminuna   Umurongo:
وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَسۡكَنَّٰهُ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَإِنَّا عَلَىٰ ذَهَابِۭ بِهِۦ لَقَٰدِرُونَ
18 . Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo.
Ibisobanuro by'icyarabu:
فَأَنشَأۡنَا لَكُم بِهِۦ جَنَّٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ لَّكُمۡ فِيهَا فَوَٰكِهُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ
19 . Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَشَجَرَةٗ تَخۡرُجُ مِن طُورِ سَيۡنَآءَ تَنۢبُتُ بِٱلدُّهۡنِ وَصِبۡغٖ لِّلۡأٓكِلِينَ
20 . Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهَا وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ
21 . Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ
22 . Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ
23 . Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!.
Ibisobanuro by'icyarabu:
فَقَالَ ٱلۡمَلَؤُاْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُرِيدُ أَن يَتَفَضَّلَ عَلَيۡكُمۡ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَنزَلَ مَلَٰٓئِكَةٗ مَّا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ
24 . Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka.
Ibisobanuro by'icyarabu:
إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلُۢ بِهِۦ جِنَّةٞ فَتَرَبَّصُواْ بِهِۦ حَتَّىٰ حِينٖ
25 . Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa).
Ibisobanuro by'icyarabu:
قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ
26 . (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe).
Ibisobanuro by'icyarabu:
فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِ أَنِ ٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُنَا وَفَارَ ٱلتَّنُّورُ فَٱسۡلُكۡ فِيهَا مِن كُلّٖ زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَأَهۡلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيۡهِ ٱلۡقَوۡلُ مِنۡهُمۡۖ وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ
27 . Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Muuminuna
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga