Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Hajj   Umurongo:
حُنَفَآءَ لِلَّهِ غَيۡرَ مُشۡرِكِينَ بِهِۦۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَكَأَنَّمَا خَرَّ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَتَخۡطَفُهُ ٱلطَّيۡرُ أَوۡ تَهۡوِي بِهِ ٱلرِّيحُ فِي مَكَانٖ سَحِيقٖ
31 . Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo.
Ibisobanuro by'icyarabu:
ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ شَعَٰٓئِرَ ٱللَّهِ فَإِنَّهَا مِن تَقۡوَى ٱلۡقُلُوبِ
32 . (Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo biragiro bya Katonda) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Katonda mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egitya Katonda.
Ibisobanuro by'icyarabu:
لَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ مَحِلُّهَآ إِلَى ٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ
33 . Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvanyuma ekifo wezirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali e nyumba kaasangwawo.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَلِكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكٗا لِّيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۗ فَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَلَهُۥٓ أَسۡلِمُواْۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُخۡبِتِينَ
34 . Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda.)
Ibisobanuro by'icyarabu:
ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ
35 . (Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَٱلۡبُدۡنَ جَعَلۡنَٰهَا لَكُم مِّن شَعَٰٓئِرِ ٱللَّهِ لَكُمۡ فِيهَا خَيۡرٞۖ فَٱذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَا صَوَآفَّۖ فَإِذَا وَجَبَتۡ جُنُوبُهَا فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡقَانِعَ وَٱلۡمُعۡتَرَّۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرۡنَٰهَا لَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
36 . Ne ngamiya twazibateerawo nga za mu bubonero bwa Katonda, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko erinnya lya Katonda nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu nezisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embuto zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, bwe tutyo twazibagondeza mube nga mwebaza.
Ibisobanuro by'icyarabu:
لَن يَنَالَ ٱللَّهَ لُحُومُهَا وَلَا دِمَآؤُهَا وَلَٰكِن يَنَالُهُ ٱلتَّقۡوَىٰ مِنكُمۡۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرَهَا لَكُمۡ لِتُكَبِّرُواْ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا هَدَىٰكُمۡۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُحۡسِنِينَ
37 . Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Katonda naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bwatyo yazibagondeza mube nga mutendereza Katonda olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa.
Ibisobanuro by'icyarabu:
۞ إِنَّ ٱللَّهَ يُدَٰفِعُ عَنِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ خَوَّانٖ كَفُورٍ
38 . Mazima Katonda alwanirira abo abakkiriza, mazima Katonda tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Hajj
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga