Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Kah’fu   Umurongo:
وَإِذِ ٱعۡتَزَلۡتُمُوهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ فَأۡوُۥٓاْ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ يَنشُرۡ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَيُهَيِّئۡ لَكُم مِّنۡ أَمۡرِكُم مِّرۡفَقٗا
16 . Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe.
Ibisobanuro by'icyarabu:
۞ وَتَرَى ٱلشَّمۡسَ إِذَا طَلَعَت تَّزَٰوَرُ عَن كَهۡفِهِمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَإِذَا غَرَبَت تَّقۡرِضُهُمۡ ذَاتَ ٱلشِّمَالِ وَهُمۡ فِي فَجۡوَةٖ مِّنۡهُۚ ذَٰلِكَ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِۗ مَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ وَلِيّٗا مُّرۡشِدٗا
17 . Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَتَحۡسَبُهُمۡ أَيۡقَاظٗا وَهُمۡ رُقُودٞۚ وَنُقَلِّبُهُمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَذَاتَ ٱلشِّمَالِۖ وَكَلۡبُهُم بَٰسِطٞ ذِرَاعَيۡهِ بِٱلۡوَصِيدِۚ لَوِ ٱطَّلَعۡتَ عَلَيۡهِمۡ لَوَلَّيۡتَ مِنۡهُمۡ فِرَارٗا وَلَمُلِئۡتَ مِنۡهُمۡ رُعۡبٗا
18 . Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَكَذَٰلِكَ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِيَتَسَآءَلُواْ بَيۡنَهُمۡۚ قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ كَمۡ لَبِثۡتُمۡۖ قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۚ قَالُواْ رَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثۡتُمۡ فَٱبۡعَثُوٓاْ أَحَدَكُم بِوَرِقِكُمۡ هَٰذِهِۦٓ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ فَلۡيَنظُرۡ أَيُّهَآ أَزۡكَىٰ طَعَامٗا فَلۡيَأۡتِكُم بِرِزۡقٖ مِّنۡهُ وَلۡيَتَلَطَّفۡ وَلَا يُشۡعِرَنَّ بِكُمۡ أَحَدًا
19 . Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya.
Ibisobanuro by'icyarabu:
إِنَّهُمۡ إِن يَظۡهَرُواْ عَلَيۡكُمۡ يَرۡجُمُوكُمۡ أَوۡ يُعِيدُوكُمۡ فِي مِلَّتِهِمۡ وَلَن تُفۡلِحُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا
20 . Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: Al Kah’fu
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga