Check out the new design

Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. * - Ishakiro ry'ibisobanuro


Ibisobanuro by'amagambo Isura: Hud   Umurongo:
فَلَمَّا جَآءَ أَمۡرُنَا جَعَلۡنَا عَٰلِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهَا حِجَارَةٗ مِّن سِجِّيلٖ مَّنضُودٖ
82. (Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu.
Ibisobanuro by'icyarabu:
مُّسَوَّمَةً عِندَ رَبِّكَۖ وَمَا هِيَ مِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ بِبَعِيدٖ
83. (Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi.
Ibisobanuro by'icyarabu:
۞ وَإِلَىٰ مَدۡيَنَ أَخَاهُمۡ شُعَيۡبٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥۖ وَلَا تَنقُصُواْ ٱلۡمِكۡيَالَ وَٱلۡمِيزَانَۖ إِنِّيٓ أَرَىٰكُم بِخَيۡرٖ وَإِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٖ مُّحِيطٖ
84. Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu.
Ibisobanuro by'icyarabu:
وَيَٰقَوۡمِ أَوۡفُواْ ٱلۡمِكۡيَالَ وَٱلۡمِيزَانَ بِٱلۡقِسۡطِۖ وَلَا تَبۡخَسُواْ ٱلنَّاسَ أَشۡيَآءَهُمۡ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ
85. Era abange bantu bange mutuukirize ebipimo ne minzani mu bwesimbu temukumpanyanga abantu ebintu bya bwe, era temukolanga ebibi mu nsi nga mugenderera okwonoona.
Ibisobanuro by'icyarabu:
بَقِيَّتُ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَۚ وَمَآ أَنَا۠ عَلَيۡكُم بِحَفِيظٖ
86. Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe.
Ibisobanuro by'icyarabu:
قَالُواْ يَٰشُعَيۡبُ أَصَلَوٰتُكَ تَأۡمُرُكَ أَن نَّتۡرُكَ مَا يَعۡبُدُ ءَابَآؤُنَآ أَوۡ أَن نَّفۡعَلَ فِيٓ أَمۡوَٰلِنَا مَا نَشَٰٓؤُاْۖ إِنَّكَ لَأَنتَ ٱلۡحَلِيمُ ٱلرَّشِيدُ
87. Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi.
Ibisobanuro by'icyarabu:
قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَرَزَقَنِي مِنۡهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أُخَالِفَكُمۡ إِلَىٰ مَآ أَنۡهَىٰكُمۡ عَنۡهُۚ إِنۡ أُرِيدُ إِلَّا ٱلۡإِصۡلَٰحَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُۚ وَمَا تَوۡفِيقِيٓ إِلَّا بِٱللَّهِۚ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُ وَإِلَيۡهِ أُنِيبُ
88. Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda.
Ibisobanuro by'icyarabu:
 
Ibisobanuro by'amagambo Isura: Hud
Urutonde rw'amasura numero y'urupapuro
 
Ibisobanuro bya qoran ntagatifu - Ibisobanuro bya Qur'an mu rurimi rw'ikigande - Umuryango Nyafurika uharanira iterambere. - Ishakiro ry'ibisobanuro

Byasobanuwe n'umuryango Nyafurika ushinzwe iterambere.

Gufunga