Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Saba’   Ayah:
قُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَمَا يُبۡدِئُ ٱلۡبَٰطِلُ وَمَا يُعِيدُ
49 . Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ إِن ضَلَلۡتُ فَإِنَّمَآ أَضِلُّ عَلَىٰ نَفۡسِيۖ وَإِنِ ٱهۡتَدَيۡتُ فَبِمَا يُوحِيٓ إِلَيَّ رَبِّيٓۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٞ قَرِيبٞ
50 . Bagambe nti: bwemba mbuze mazima mba mbuze ku lwange naye bwennungama kiba kivudde ku bubaka Mukama omulabirizi wange bwantumira, mazima yye muwulizi nnyo ali kumpi ddala.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ فَزِعُواْ فَلَا فَوۡتَ وَأُخِذُواْ مِن مَّكَانٖ قَرِيبٖ
51 . Singa oliraba mu kiseera abakaafiiri bwe balitya (ku lunaku lw'enkomerero) tewaliba buddukiro era balikwatibwa nga bajjibwa mu kifo eky'okumpi ddala.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦ وَأَنَّىٰ لَهُمُ ٱلتَّنَاوُشُ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ
52 . Era baligamba nti tubikkiriza (ebyo Nabbi byagamba) naye wwa gye balijja okukkiriza nga bamaze okukuleka mu kifo eky'ewala (gye bavudde).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَدۡ كَفَرُواْ بِهِۦ مِن قَبۡلُۖ وَيَقۡذِفُونَ بِٱلۡغَيۡبِ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ
53 . Mazima baabiwakanya oluberyeberye, era baatemerera obulimba ku bigambo ebyekusifu ebiri mu kifo eky'ewala.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَحِيلَ بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ مَا يَشۡتَهُونَ كَمَا فُعِلَ بِأَشۡيَاعِهِم مِّن قَبۡلُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ فِي شَكّٖ مُّرِيبِۭ
54 . Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza).
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Saba’
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close