Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Saba’   Ayah:
وَلَا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ عِندَهُۥٓ إِلَّا لِمَنۡ أَذِنَ لَهُۥۚ حَتَّىٰٓ إِذَا فُزِّعَ عَن قُلُوبِهِمۡ قَالُواْ مَاذَا قَالَ رَبُّكُمۡۖ قَالُواْ ٱلۡحَقَّۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ
23 . Era mu maasoge okuwolereza tekugenda kugasa (muntu yenna) okugyako oyo gwaliba akkirizza, okutuusa okutya bwe kuliba kuggyiddwa mu mitima gya bwe baligamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe agambyeki? (ba Malayika) baligamba nti (ayogedde) amazima, era yye wa waggulu omusukkulumu.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ قُلِ ٱللَّهُۖ وَإِنَّآ أَوۡ إِيَّاكُمۡ لَعَلَىٰ هُدًى أَوۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
24 . Bagambe ani abagabirira okuva mu ggulu omusanvu n'e nsi, bagambe nti Katonda. Era mazima ffe oba mmwe tuli ku bulungamu oba ku bubuze obw'olwatu.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُل لَّا تُسۡـَٔلُونَ عَمَّآ أَجۡرَمۡنَا وَلَا نُسۡـَٔلُ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
25 . Bagambe nti temugenda kubuuzibwa ku ebyo bye twayonoona nga bwe tutagenda kubuuzibwa ku bye mukola.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ يَجۡمَعُ بَيۡنَنَا رَبُّنَا ثُمَّ يَفۡتَحُ بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَهُوَ ٱلۡفَتَّاحُ ٱلۡعَلِيمُ
26 . Bagambe nti Mukama omulabirizi waffe agenda ku tukungaanya oluvanyuma asalewo wakati waffe mu mazima, anti yye ye mutaawuluza asinga, omumanyi ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ أَرُونِيَ ٱلَّذِينَ أَلۡحَقۡتُم بِهِۦ شُرَكَآءَۖ كَلَّاۚ بَلۡ هُوَ ٱللَّهُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
27 . Bagambe nti mundage abo be munnyungako ne mubangattako, nedda tebaliiyo wabula yye ye Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا كَآفَّةٗ لِّلنَّاسِ بَشِيرٗا وَنَذِيرٗا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ
28 . Era tetwakutuma okugyako nga oli (mubaka) awa amawulire ag'essanyu (eri abakkiriza) era omutiisa (eri abatakkiriza) naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
29 . Era nebagamba nti eyo endagaano eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima!.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُل لَّكُم مِّيعَادُ يَوۡمٖ لَّا تَسۡتَـٔۡخِرُونَ عَنۡهُ سَاعَةٗ وَلَا تَسۡتَقۡدِمُونَ
30 . Bagambe nti mulina endagaano y’olunaku lwe mutalisobola kusaba museeseetulwe ku lwo wadde essaawa emu era nga bwe mutalisobola kusaba lubaleeterwe mangu (ne mukifuna).
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَن نُّؤۡمِنَ بِهَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ وَلَا بِٱلَّذِي بَيۡنَ يَدَيۡهِۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّٰلِمُونَ مَوۡقُوفُونَ عِندَ رَبِّهِمۡ يَرۡجِعُ بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٍ ٱلۡقَوۡلَ يَقُولُ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لَوۡلَآ أَنتُمۡ لَكُنَّا مُؤۡمِنِينَ
31 . Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: tetujja kukkiriza Kur’ani eno wadde ebyo ebyagikulembera naye singa osobola okulaba ekiseera abeeyisa obubi lwe baliyimirizibwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe abamu ekigambo balikissa ku bannaabwe (ekyabasuula mu buzibu), abo abaali batwalibwa okuba aba wansi baligamba abo abeetwala okuba aba waggulu nti singa temwali mmwe twandibadde bakkirizza.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Saba’
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close