Check out the new design

Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit * - Përmbajtja e përkthimeve


Përkthimi i kuptimeve Surja: El Isra   Ajeti:
إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ إِنَّ فَضۡلَهُۥ كَانَ عَلَيۡكَ كَبِيرٗا
87 . (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu.
Tefsiret në gjuhën arabe:
قُل لَّئِنِ ٱجۡتَمَعَتِ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَىٰٓ أَن يَأۡتُواْ بِمِثۡلِ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لَا يَأۡتُونَ بِمِثۡلِهِۦ وَلَوۡ كَانَ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٖ ظَهِيرٗا
88 . Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.
Tefsiret në gjuhën arabe:
وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا لِلنَّاسِ فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ مِن كُلِّ مَثَلٖ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا
89 . Mazima twannyonnyola abantu mu Kur’ani muno buli kika kya kifaananyi, naye abantu abasinga obungi bagaana (okugyako okusigala) mu bukafiiri.
Tefsiret në gjuhën arabe:
وَقَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ لَكَ حَتَّىٰ تَفۡجُرَ لَنَا مِنَ ٱلۡأَرۡضِ يَنۢبُوعًا
90 . Era nebagamba nti tetugenda kukkiriza okugyako nga otufukumulire amazzi okuva mu ttaka.
Tefsiret në gjuhën arabe:
أَوۡ تَكُونَ لَكَ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَعِنَبٖ فَتُفَجِّرَ ٱلۡأَنۡهَٰرَ خِلَٰلَهَا تَفۡجِيرًا
91 . Oba obe nga olina ennimiro erimu emitende ne Nzabibu. Olwo nno noofukumula emigga mu nnyiriri zaayo olufukumula.
Tefsiret në gjuhën arabe:
أَوۡ تُسۡقِطَ ٱلسَّمَآءَ كَمَا زَعَمۡتَ عَلَيۡنَا كِسَفًا أَوۡ تَأۡتِيَ بِٱللَّهِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ قَبِيلًا
92 . Oba otusuuleko eggulu nga bwogamba, nga liri mu bibajjo, oba oleete Katonda ne ba Malayika tubalabe maaso ku maaso.
Tefsiret në gjuhën arabe:
أَوۡ يَكُونَ لَكَ بَيۡتٞ مِّن زُخۡرُفٍ أَوۡ تَرۡقَىٰ فِي ٱلسَّمَآءِ وَلَن نُّؤۡمِنَ لِرُقِيِّكَ حَتَّىٰ تُنَزِّلَ عَلَيۡنَا كِتَٰبٗا نَّقۡرَؤُهُۥۗ قُلۡ سُبۡحَانَ رَبِّي هَلۡ كُنتُ إِلَّا بَشَرٗا رَّسُولٗا
93 . Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka!.
Tefsiret në gjuhën arabe:
وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰٓ إِلَّآ أَن قَالُوٓاْ أَبَعَثَ ٱللَّهُ بَشَرٗا رَّسُولٗا
94 . Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira okugyako okuba nti bagamba nti omuntu obuntu Katonda gwatumye nga mubaka.
Tefsiret në gjuhën arabe:
قُل لَّوۡ كَانَ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَلَٰٓئِكَةٞ يَمۡشُونَ مُطۡمَئِنِّينَ لَنَزَّلۡنَا عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَلَكٗا رَّسُولٗا
95 . Bagambe nti singa ensi yalimu ba Malayika nga batambula, nga mwe babeerera ddala, olwo nno twandibadde tubatumira Malayika okuva mu ggulu nga ye Mubaka.
Tefsiret në gjuhën arabe:
قُلۡ كَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنِي وَبَيۡنَكُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا
96 . Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube.
Tefsiret në gjuhën arabe:
 
Përkthimi i kuptimeve Surja: El Isra
Përmbajtja e sureve Numri i faqes
 
Përkthimi i kuptimeve të Kuranit Fisnik - Përkthimi logandisht - Fondacioni Afrikan i Zhvillimit - Përmbajtja e përkthimeve

Nga Organizata Afrikane e Zhvillimit.

Mbyll