Check out the new design

クルアーンの対訳 - ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team * - 対訳の目次


対訳 章: 預言者たち章   節:
وَكَمۡ قَصَمۡنَا مِن قَرۡيَةٖ كَانَتۡ ظَالِمَةٗ وَأَنشَأۡنَا بَعۡدَهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ
11 . Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe).
アラビア語 クルアーン注釈:
فَلَمَّآ أَحَسُّواْ بَأۡسَنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَرۡكُضُونَ
12 . Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka.
アラビア語 クルアーン注釈:
لَا تَرۡكُضُواْ وَٱرۡجِعُوٓاْ إِلَىٰ مَآ أُتۡرِفۡتُمۡ فِيهِ وَمَسَٰكِنِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡـَٔلُونَ
13 . (Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ
14 . Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi.
アラビア語 クルアーン注釈:
فَمَا زَالَت تِّلۡكَ دَعۡوَىٰهُمۡ حَتَّىٰ جَعَلۡنَٰهُمۡ حَصِيدًا خَٰمِدِينَ
15 . Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ
16 . Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo.
アラビア語 クルアーン注釈:
لَوۡ أَرَدۡنَآ أَن نَّتَّخِذَ لَهۡوٗا لَّٱتَّخَذۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّآ إِن كُنَّا فَٰعِلِينَ
17 . Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola.
アラビア語 クルアーン注釈:
بَلۡ نَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَى ٱلۡبَٰطِلِ فَيَدۡمَغُهُۥ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٞۚ وَلَكُمُ ٱلۡوَيۡلُ مِمَّا تَصِفُونَ
18 . Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.
アラビア語 クルアーン注釈:
وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَنۡ عِندَهُۥ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَلَا يَسۡتَحۡسِرُونَ
19 . Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
يُسَبِّحُونَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لَا يَفۡتُرُونَ
20 . Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa.
アラビア語 クルアーン注釈:
أَمِ ٱتَّخَذُوٓاْ ءَالِهَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ هُمۡ يُنشِرُونَ
21 . Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu).
アラビア語 クルアーン注釈:
لَوۡ كَانَ فِيهِمَآ ءَالِهَةٌ إِلَّا ٱللَّهُ لَفَسَدَتَاۚ فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ
22 . Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.
アラビア語 クルアーン注釈:
لَا يُسۡـَٔلُ عَمَّا يَفۡعَلُ وَهُمۡ يُسۡـَٔلُونَ
23 . Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa.
アラビア語 クルアーン注釈:
أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡۖ هَٰذَا ذِكۡرُ مَن مَّعِيَ وَذِكۡرُ مَن قَبۡلِيۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡحَقَّۖ فَهُم مُّعۡرِضُونَ
24 . Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.
アラビア語 クルアーン注釈:
 
対訳 章: 預言者たち章
章名の目次 ページ番号
 
クルアーンの対訳 - ルガンダ語対訳 - The African Development Foundation team - 対訳の目次

アフリカ開発財団発行。

閉じる