Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Quran - Luganda translation - African Development Foundation * - Index of Translations


Translation of the Meanings Surah: Ar-Ra‘d   Verse:

Al R’ad

الٓمٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِۗ وَٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ ٱلۡحَقُّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ
1. Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kur’ani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza.
Arabic Tafsirs:
ٱللَّهُ ٱلَّذِي رَفَعَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ بِغَيۡرِ عَمَدٖ تَرَوۡنَهَاۖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَ يُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُم بِلِقَآءِ رَبِّكُمۡ تُوقِنُونَ
2. Katonda yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe.
Arabic Tafsirs:
وَهُوَ ٱلَّذِي مَدَّ ٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۡهَٰرٗاۖ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ جَعَلَ فِيهَا زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ يُغۡشِي ٱلَّيۡلَ ٱلنَّهَارَۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ
3. Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.
Arabic Tafsirs:
وَفِي ٱلۡأَرۡضِ قِطَعٞ مُّتَجَٰوِرَٰتٞ وَجَنَّٰتٞ مِّنۡ أَعۡنَٰبٖ وَزَرۡعٞ وَنَخِيلٞ صِنۡوَانٞ وَغَيۡرُ صِنۡوَانٖ يُسۡقَىٰ بِمَآءٖ وَٰحِدٖ وَنُفَضِّلُ بَعۡضَهَا عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلۡأُكُلِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ
4. Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi.
Arabic Tafsirs:
۞ وَإِن تَعۡجَبۡ فَعَجَبٞ قَوۡلُهُمۡ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبًا أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍۗ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَاقِهِمۡۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
5. Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.
Arabic Tafsirs:
 
Translation of the Meanings Surah: Ar-Ra‘d
Index of Surahs Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Quran - Luganda translation - African Development Foundation - Index of Translations

Issued by African Development Foundation

Close