Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Quran - Luganda translation - African Development Foundation * - Index of Translations


Translation of the Meanings Surah: Hūd   Verse:
أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۖ قُلۡ فَأۡتُواْ بِعَشۡرِ سُوَرٖ مِّثۡلِهِۦ مُفۡتَرَيَٰتٖ وَٱدۡعُواْ مَنِ ٱسۡتَطَعۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
13. Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima.
Arabic Tafsirs:
فَإِلَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكُمۡ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَآ أُنزِلَ بِعِلۡمِ ٱللَّهِ وَأَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ
14. Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka).
Arabic Tafsirs:
مَن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتَهَا نُوَفِّ إِلَيۡهِمۡ أَعۡمَٰلَهُمۡ فِيهَا وَهُمۡ فِيهَا لَا يُبۡخَسُونَ
15. Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda kwayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa.
Arabic Tafsirs:
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَيۡسَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِلَّا ٱلنَّارُۖ وَحَبِطَ مَا صَنَعُواْ فِيهَا وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
16. Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu.
Arabic Tafsirs:
أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّهِۦ وَيَتۡلُوهُ شَاهِدٞ مِّنۡهُ وَمِن قَبۡلِهِۦ كِتَٰبُ مُوسَىٰٓ إِمَامٗا وَرَحۡمَةًۚ أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۚ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ مِنَ ٱلۡأَحۡزَابِ فَٱلنَّارُ مَوۡعِدُهُۥۚ فَلَا تَكُ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُۚ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ
17. Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.
Arabic Tafsirs:
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ يُعۡرَضُونَ عَلَىٰ رَبِّهِمۡ وَيَقُولُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ هَٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ كَذَبُواْ عَلَىٰ رَبِّهِمۡۚ أَلَا لَعۡنَةُ ٱللَّهِ عَلَى ٱلظَّٰلِمِينَ
18. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi.
Arabic Tafsirs:
ٱلَّذِينَ يَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَيَبۡغُونَهَا عِوَجٗا وَهُم بِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ كَٰفِرُونَ
19. Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya.
Arabic Tafsirs:
 
Translation of the Meanings Surah: Hūd
Index of Surahs Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Quran - Luganda translation - African Development Foundation - Index of Translations

Issued by African Development Foundation

Close