Check out the new design

Prijevod značenja časnog Kur'ana - Ugandski prijevod - Afrička ustanova za razvoj * - Sadržaj prijevodā


Prijevod značenja Sura: El-Isra   Ajet:
وَمَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُمۡ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِهِۦۖ وَنَحۡشُرُهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ عُمۡيٗا وَبُكۡمٗا وَصُمّٗاۖ مَّأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ كُلَّمَا خَبَتۡ زِدۡنَٰهُمۡ سَعِيرٗا
97 . Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.
Tefsiri na arapskom jeziku:
ذَٰلِكَ جَزَآؤُهُم بِأَنَّهُمۡ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالُوٓاْ أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا وَرُفَٰتًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ خَلۡقٗا جَدِيدًا
98 . Eyo y'empeera yaabwe, kubanga mazima bo baawakanya ebigambo byaffe, era ne bagamba nti bwe tuliba engumbagumba oba nga tufuuse ettaka, abaffe tulizuukizibwa netutondebwa bupya!.
Tefsiri na arapskom jeziku:
۞ أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ قَادِرٌ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۡ وَجَعَلَ لَهُمۡ أَجَلٗا لَّا رَيۡبَ فِيهِ فَأَبَى ٱلظَّٰلِمُونَ إِلَّا كُفُورٗا
99 . Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri.
Tefsiri na arapskom jeziku:
قُل لَّوۡ أَنتُمۡ تَمۡلِكُونَ خَزَآئِنَ رَحۡمَةِ رَبِّيٓ إِذٗا لَّأَمۡسَكۡتُمۡ خَشۡيَةَ ٱلۡإِنفَاقِۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ قَتُورٗا
100 . Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza.
Tefsiri na arapskom jeziku:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ تِسۡعَ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۖ فَسۡـَٔلۡ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ إِذۡ جَآءَهُمۡ فَقَالَ لَهُۥ فِرۡعَوۡنُ إِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰمُوسَىٰ مَسۡحُورٗا
101 . Mazima twawa Musa eby'amagero mwenda ebyeyolefu, buuza abaana ba Israil (ebyaliwo) mu kiseera weyabajjira (aba Misiri), Firawo naamugamba nti mazima nze Musa nkulabira ddala nga ggwe oli mulogo.
Tefsiri na arapskom jeziku:
قَالَ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَآ أَنزَلَ هَٰٓؤُلَآءِ إِلَّا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ بَصَآئِرَ وَإِنِّي لَأَظُنُّكَ يَٰفِرۡعَوۡنُ مَثۡبُورٗا
102 . (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde.
Tefsiri na arapskom jeziku:
فَأَرَادَ أَن يَسۡتَفِزَّهُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ فَأَغۡرَقۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ جَمِيعٗا
103 . Olwo nno (Firawo) yayagala okubagoba mu nsi (Misiri), twamuzikiriza n'abo abaali naye.
Tefsiri na arapskom jeziku:
وَقُلۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِۦ لِبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱسۡكُنُواْ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ ٱلۡأٓخِرَةِ جِئۡنَا بِكُمۡ لَفِيفٗا
104 . Era oluvanyuma lw'ekyo twagamba abaana ba Israil mutuule mu nsi (eye Sham), endagaano y'olunaku lw'enkomerero bwelituuka mwenna tugenda kubaleeta nga tubakungaanya.
Tefsiri na arapskom jeziku:
 
Prijevod značenja Sura: El-Isra
Indeks sura Broj stranice
 
Prijevod značenja časnog Kur'ana - Ugandski prijevod - Afrička ustanova za razvoj - Sadržaj prijevodā

Došlo od Afrička ustanova za razvoj.

Zatvaranje