Check out the new design

Prijevod značenja časnog Kur'ana - Ugandski prijevod - Afrička ustanova za razvoj * - Sadržaj prijevodā


Prijevod značenja Sura: Hud   Ajet:
قَالَ يَٰنُوحُ إِنَّهُۥ لَيۡسَ مِنۡ أَهۡلِكَۖ إِنَّهُۥ عَمَلٌ غَيۡرُ صَٰلِحٖۖ فَلَا تَسۡـَٔلۡنِ مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌۖ إِنِّيٓ أَعِظُكَ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ
46. (Katonda) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera.
Tefsiri na arapskom jeziku:
قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَعُوذُ بِكَ أَنۡ أَسۡـَٔلَكَ مَا لَيۡسَ لِي بِهِۦ عِلۡمٞۖ وَإِلَّا تَغۡفِرۡ لِي وَتَرۡحَمۡنِيٓ أَكُن مِّنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ
47. (Nuhu) naagamba nti nkusaba obukuumibwo nneme kuba nga nkusaba ekyo kye sirinaako kumanya era bwotonsonyiwe n'onsaasira nja kubeera mu bafaafaaganiddwa.
Tefsiri na arapskom jeziku:
قِيلَ يَٰنُوحُ ٱهۡبِطۡ بِسَلَٰمٖ مِّنَّا وَبَرَكَٰتٍ عَلَيۡكَ وَعَلَىٰٓ أُمَمٖ مِّمَّن مَّعَكَۚ وَأُمَمٞ سَنُمَتِّعُهُمۡ ثُمَّ يَمَسُّهُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ
48. Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli.
Tefsiri na arapskom jeziku:
تِلۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡغَيۡبِ نُوحِيهَآ إِلَيۡكَۖ مَا كُنتَ تَعۡلَمُهَآ أَنتَ وَلَا قَوۡمُكَ مِن قَبۡلِ هَٰذَاۖ فَٱصۡبِرۡۖ إِنَّ ٱلۡعَٰقِبَةَ لِلۡمُتَّقِينَ
49. Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda.
Tefsiri na arapskom jeziku:
وَإِلَىٰ عَادٍ أَخَاهُمۡ هُودٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۖ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا مُفۡتَرُونَ
50. Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Hudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye tewali kirala kyonna kisinzibwa, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza.
Tefsiri na arapskom jeziku:
يَٰقَوۡمِ لَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ أَجۡرًاۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَى ٱلَّذِي فَطَرَنِيٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
51. Abange bantu bange, si basaba mpeera ku kino, empeera yange teri okugyako ku oyo eyantonda, abaffe temutegeera.
Tefsiri na arapskom jeziku:
وَيَٰقَوۡمِ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ ثُمَّ تُوبُوٓاْ إِلَيۡهِ يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارٗا وَيَزِدۡكُمۡ قُوَّةً إِلَىٰ قُوَّتِكُمۡ وَلَا تَتَوَلَّوۡاْ مُجۡرِمِينَ
52. Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi.
Tefsiri na arapskom jeziku:
قَالُواْ يَٰهُودُ مَا جِئۡتَنَا بِبَيِّنَةٖ وَمَا نَحۡنُ بِتَارِكِيٓ ءَالِهَتِنَا عَن قَوۡلِكَ وَمَا نَحۡنُ لَكَ بِمُؤۡمِنِينَ
53. Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka ba katonda baffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza.
Tefsiri na arapskom jeziku:
 
Prijevod značenja Sura: Hud
Indeks sura Broj stranice
 
Prijevod značenja časnog Kur'ana - Ugandski prijevod - Afrička ustanova za razvoj - Sadržaj prijevodā

Došlo od Afrička ustanova za razvoj.

Zatvaranje