Check out the new design

আল-কোৰআনুল কাৰীমৰ অৰ্থানুবাদ - উগাণ্ডিয়ান অনুবাদ- আফ্ৰিকান বিকাশ ফাউণ্ডেচন * - অনুবাদসমূহৰ সূচীপত্ৰ


অৰ্থানুবাদ ছুৰা: ছাবা   আয়াত:

Saba-e

ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡخَبِيرُ
1 . Ebitendo byonna bya Katonda, oyo nga bibye yekka, ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era ebitendo byonna bibye ku nkomerero era yye ye mugoba nsonga amanyi ennyo.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۚ وَهُوَ ٱلرَّحِيمُ ٱلۡغَفُورُ
2 . Amanyi ebyo ebiyingira mu nsi n'ebigifuluma, n'ebyo ebikka okuva mu ggulu n'ebyambuka mu lyo, era yye ye musaasizi omusonyiyi.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَا تَأۡتِينَا ٱلسَّاعَةُۖ قُلۡ بَلَىٰ وَرَبِّي لَتَأۡتِيَنَّكُمۡ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِۖ لَا يَعۡزُبُ عَنۡهُ مِثۡقَالُ ذَرَّةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَآ أَصۡغَرُ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرُ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ
3 . Abo abaakaafuwala bagamba nti enkomerero tegenda kutujjira, bagambe nti nedda ndayidde Mukama omulabirizi wange (enkomerero) egenda kubajjira ddala (Mukama omulabirizi wange) omumanyi w'ebyekusifu, akantu akatono ennyo tekayinza kumubulako kakabe mu ggulu omusanvu oba mu nsi wadde akatono ennyo okusinga kwako wadde ekinene (tewali kintu kyonna) okugyako nga kiri mu kitabo ekinnyonnyofu.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
لِّيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ
4 . (Byonna bwe biryolesebwa) olwo nno (Katonda) alyoke asasule abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu. Abo balina ekisonyiwo ne riziki eweesa ekitiibwa.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
وَٱلَّذِينَ سَعَوۡ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٞ
5 . Ate abo abakola kaweefube okulwanyisa ebigambo byaffe, abo balina ebibonerezo ebiruma olw'ebyonoono (byabwe).
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
وَيَرَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ هُوَ ٱلۡحَقَّ وَيَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ
6 . Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ هَلۡ نَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ رَجُلٖ يُنَبِّئُكُمۡ إِذَا مُزِّقۡتُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍ إِنَّكُمۡ لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍ
7 . Abo abaakaafuwala (mu kujereegerera) bagamba nti abaffe tubalagirire omusajja anaabategeeza bwe munaaba muyuziddwa oluyuzibwa olw'amaanyi (nga muli mu ntaana ennyama n'ebaggwa ku magumba) mbu mazima mmwe muliddayo nemutondebwa bupya.
আৰবী তাফছীৰসমূহ:
 
অৰ্থানুবাদ ছুৰা: ছাবা
ছুৰাৰ তালিকা পৃষ্ঠা নং
 
আল-কোৰআনুল কাৰীমৰ অৰ্থানুবাদ - উগাণ্ডিয়ান অনুবাদ- আফ্ৰিকান বিকাশ ফাউণ্ডেচন - অনুবাদসমূহৰ সূচীপত্ৰ

আফ্ৰিকান ডেভেলপমেণ্ট ফাউণ্ডেচনৰ পৰা জাৰি কৰিছে।

বন্ধ