Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል-ሙዕሚኑን   አንቀጽ:
۞ وَلَوۡ رَحِمۡنَٰهُمۡ وَكَشَفۡنَا مَا بِهِم مِّن ضُرّٖ لَّلَجُّواْ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ
75 . Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَقَدۡ أَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ فَمَا ٱسۡتَكَانُواْ لِرَبِّهِمۡ وَمَا يَتَضَرَّعُونَ
76 . Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
حَتَّىٰٓ إِذَا فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا ذَا عَذَابٖ شَدِيدٍ إِذَا هُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ
77 . Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ
78 . (Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَهُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ
79 . Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَهُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ وَلَهُ ٱخۡتِلَٰفُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
80 . Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera!.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
بَلۡ قَالُواْ مِثۡلَ مَا قَالَ ٱلۡأَوَّلُونَ
81 . Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قَالُوٓاْ أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ
82 . Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَقَدۡ وُعِدۡنَا نَحۡنُ وَءَابَآؤُنَا هَٰذَا مِن قَبۡلُ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ
83 . Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قُل لِّمَنِ ٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهَآ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
84 . Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi?.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ
85 . Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira!.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قُلۡ مَن رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلسَّبۡعِ وَرَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ
86 . Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa?.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَتَّقُونَ
87 . Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قُلۡ مَنۢ بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُوَ يُجِيرُ وَلَا يُجَارُ عَلَيۡهِ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
88 . Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ فَأَنَّىٰ تُسۡحَرُونَ
89 . Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya!.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል-ሙዕሚኑን
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት