Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል-ሙዕሚኑን   አንቀጽ:

Al Mu-uminuuna

قَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ
1 . Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي صَلَاتِهِمۡ خَٰشِعُونَ
2 . Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَنِ ٱللَّغۡوِ مُعۡرِضُونَ
3 . Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِلزَّكَوٰةِ فَٰعِلُونَ
4 . Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ
5 . Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ
6 . Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
فَمَنِ ٱبۡتَغَىٰ وَرَآءَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡعَادُونَ
7 . Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِأَمَٰنَٰتِهِمۡ وَعَهۡدِهِمۡ رَٰعُونَ
8 . (Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَوَٰتِهِمۡ يُحَافِظُونَ
9 . Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡوَٰرِثُونَ
10 . Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱلَّذِينَ يَرِثُونَ ٱلۡفِرۡدَوۡسَ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
11 . Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن سُلَٰلَةٖ مِّن طِينٖ
12 . Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ثُمَّ جَعَلۡنَٰهُ نُطۡفَةٗ فِي قَرَارٖ مَّكِينٖ
13 . Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ثُمَّ خَلَقۡنَا ٱلنُّطۡفَةَ عَلَقَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡعَلَقَةَ مُضۡغَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡمُضۡغَةَ عِظَٰمٗا فَكَسَوۡنَا ٱلۡعِظَٰمَ لَحۡمٗا ثُمَّ أَنشَأۡنَٰهُ خَلۡقًا ءَاخَرَۚ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ أَحۡسَنُ ٱلۡخَٰلِقِينَ
14 . Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ثُمَّ إِنَّكُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ لَمَيِّتُونَ
15 . Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ تُبۡعَثُونَ
16 . Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا فَوۡقَكُمۡ سَبۡعَ طَرَآئِقَ وَمَا كُنَّا عَنِ ٱلۡخَلۡقِ غَٰفِلِينَ
17 . Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል-ሙዕሚኑን
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት