Check out the new design

《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 * - 译解目录


含义的翻译 章: 安比亚仪   段:
فَجَعَلَهُمۡ جُذَٰذًا إِلَّا كَبِيرٗا لَّهُمۡ لَعَلَّهُمۡ إِلَيۡهِ يَرۡجِعُونَ
58 . (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza).
阿拉伯语经注:
قَالُواْ مَن فَعَلَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَآ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
59 . (Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi.
阿拉伯语经注:
قَالُواْ سَمِعۡنَا فَتٗى يَذۡكُرُهُمۡ يُقَالُ لَهُۥٓ إِبۡرَٰهِيمُ
60 . Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako.
阿拉伯语经注:
قَالُواْ فَأۡتُواْ بِهِۦ عَلَىٰٓ أَعۡيُنِ ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡهَدُونَ
61 . Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi.
阿拉伯语经注:
قَالُوٓاْ ءَأَنتَ فَعَلۡتَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَا يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُ
62 . (Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim!.
阿拉伯语经注:
قَالَ بَلۡ فَعَلَهُۥ كَبِيرُهُمۡ هَٰذَا فَسۡـَٔلُوهُمۡ إِن كَانُواْ يَنطِقُونَ
63 . Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula.
阿拉伯语经注:
فَرَجَعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ فَقَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ أَنتُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ
64 . Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi.
阿拉伯语经注:
ثُمَّ نُكِسُواْ عَلَىٰ رُءُوسِهِمۡ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَا هَٰٓؤُلَآءِ يَنطِقُونَ
65 . Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera.
阿拉伯语经注:
قَالَ أَفَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يَضُرُّكُمۡ
66 . (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi.
阿拉伯语经注:
أُفّٖ لَّكُمۡ وَلِمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
67 . Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!.
阿拉伯语经注:
قَالُواْ حَرِّقُوهُ وَٱنصُرُوٓاْ ءَالِهَتَكُمۡ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ
68 . Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola.
阿拉伯语经注:
قُلۡنَا يَٰنَارُ كُونِي بَرۡدٗا وَسَلَٰمًا عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ
69 . Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim.
阿拉伯语经注:
وَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَخۡسَرِينَ
70 . Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu.
阿拉伯语经注:
وَنَجَّيۡنَٰهُ وَلُوطًا إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا لِلۡعَٰلَمِينَ
71 . Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde.
阿拉伯语经注:
وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ نَافِلَةٗۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا صَٰلِحِينَ
72 . Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu.
阿拉伯语经注:
 
含义的翻译 章: 安比亚仪
章节目录 页码
 
《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 - 译解目录

来自非洲发展机构。

关闭