Check out the new design

Salin ng mga Kahulugan ng Marangal na Qur'an - Salin sa Wikang Ugandano ng Pundasyong Afrikano ng Paglago * - Indise ng mga Salin


Salin ng mga Kahulugan Surah: Al-Kahf   Ayah:
۞ قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا
75 . (Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
Ang mga Tafsir na Arabe:
قَالَ إِن سَأَلۡتُكَ عَن شَيۡءِۭ بَعۡدَهَا فَلَا تُصَٰحِبۡنِيۖ قَدۡ بَلَغۡتَ مِن لَّدُنِّي عُذۡرٗا
76 . (Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze.
Ang mga Tafsir na Arabe:
فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَآ أَتَيَآ أَهۡلَ قَرۡيَةٍ ٱسۡتَطۡعَمَآ أَهۡلَهَا فَأَبَوۡاْ أَن يُضَيِّفُوهُمَا فَوَجَدَا فِيهَا جِدَارٗا يُرِيدُ أَن يَنقَضَّ فَأَقَامَهُۥۖ قَالَ لَوۡ شِئۡتَ لَتَّخَذۡتَ عَلَيۡهِ أَجۡرٗا
77 . Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa).
Ang mga Tafsir na Arabe:
قَالَ هَٰذَا فِرَاقُ بَيۡنِي وَبَيۡنِكَۚ سَأُنَبِّئُكَ بِتَأۡوِيلِ مَا لَمۡ تَسۡتَطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرًا
78 . (Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza.
Ang mga Tafsir na Arabe:
أَمَّا ٱلسَّفِينَةُ فَكَانَتۡ لِمَسَٰكِينَ يَعۡمَلُونَ فِي ٱلۡبَحۡرِ فَأَرَدتُّ أَنۡ أَعِيبَهَا وَكَانَ وَرَآءَهُم مَّلِكٞ يَأۡخُذُ كُلَّ سَفِينَةٍ غَصۡبٗا
79 . Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi.
Ang mga Tafsir na Arabe:
وَأَمَّا ٱلۡغُلَٰمُ فَكَانَ أَبَوَاهُ مُؤۡمِنَيۡنِ فَخَشِينَآ أَن يُرۡهِقَهُمَا طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗا
80 . Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala.
Ang mga Tafsir na Arabe:
فَأَرَدۡنَآ أَن يُبۡدِلَهُمَا رَبُّهُمَا خَيۡرٗا مِّنۡهُ زَكَوٰةٗ وَأَقۡرَبَ رُحۡمٗا
81 . Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi.
Ang mga Tafsir na Arabe:
وَأَمَّا ٱلۡجِدَارُ فَكَانَ لِغُلَٰمَيۡنِ يَتِيمَيۡنِ فِي ٱلۡمَدِينَةِ وَكَانَ تَحۡتَهُۥ كَنزٞ لَّهُمَا وَكَانَ أَبُوهُمَا صَٰلِحٗا فَأَرَادَ رَبُّكَ أَن يَبۡلُغَآ أَشُدَّهُمَا وَيَسۡتَخۡرِجَا كَنزَهُمَا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ وَمَا فَعَلۡتُهُۥ عَنۡ أَمۡرِيۚ ذَٰلِكَ تَأۡوِيلُ مَا لَمۡ تَسۡطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرٗا
82 . Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza.
Ang mga Tafsir na Arabe:
وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَن ذِي ٱلۡقَرۡنَيۡنِۖ قُلۡ سَأَتۡلُواْ عَلَيۡكُم مِّنۡهُ ذِكۡرًا
83 . Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako.
Ang mga Tafsir na Arabe:
 
Salin ng mga Kahulugan Surah: Al-Kahf
Indise ng mga Surah Numero ng Pahina
 
Salin ng mga Kahulugan ng Marangal na Qur'an - Salin sa Wikang Ugandano ng Pundasyong Afrikano ng Paglago - Indise ng mga Salin

Mula sa Pundasyong Afrikano ng Paglago.

Isara