Check out the new design

அல்குர்ஆன் மொழிபெயர்ப்பு - உகாண்டா மொழிபெயர்ப்பு - ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளை * - மொழிபெயர்ப்பு அட்டவணை


மொழிபெயர்ப்பு அத்தியாயம்: அர்ரூம்   வசனம்:
قُلۡ سِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلُۚ كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّشۡرِكِينَ
42 . Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
அரபு விரிவுரைகள்:
فَأَقِمۡ وَجۡهَكَ لِلدِّينِ ٱلۡقَيِّمِ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا مَرَدَّ لَهُۥ مِنَ ٱللَّهِۖ يَوۡمَئِذٖ يَصَّدَّعُونَ
43 . Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja.
அரபு விரிவுரைகள்:
مَن كَفَرَ فَعَلَيۡهِ كُفۡرُهُۥۖ وَمَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا فَلِأَنفُسِهِمۡ يَمۡهَدُونَ
44 . Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe.
அரபு விரிவுரைகள்:
لِيَجۡزِيَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡكَٰفِرِينَ
45 . Katonda alyoke asasule mu bigabwabye abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu, anti mazima yye tayagala bakaafiiri.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَن يُرۡسِلَ ٱلرِّيَاحَ مُبَشِّرَٰتٖ وَلِيُذِيقَكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَلِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
46 . Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo).
அரபு விரிவுரைகள்:
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ رُسُلًا إِلَىٰ قَوۡمِهِمۡ فَجَآءُوهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱنتَقَمۡنَا مِنَ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْۖ وَكَانَ حَقًّا عَلَيۡنَا نَصۡرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
47 . Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza.
அரபு விரிவுரைகள்:
ٱللَّهُ ٱلَّذِي يُرۡسِلُ ٱلرِّيَٰحَ فَتُثِيرُ سَحَابٗا فَيَبۡسُطُهُۥ فِي ٱلسَّمَآءِ كَيۡفَ يَشَآءُ وَيَجۡعَلُهُۥ كِسَفٗا فَتَرَى ٱلۡوَدۡقَ يَخۡرُجُ مِنۡ خِلَٰلِهِۦۖ فَإِذَآ أَصَابَ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ إِذَا هُمۡ يَسۡتَبۡشِرُونَ
48 . Katonda yooyo atambuza empewo, nezifuukuula ebire naabyanjuluza mu bbanga nga bwaba ayagadde, naabifuula ebitundutundu, olwo nno n'olaba namutikkwa w'enkuba nga bivaamu, (Katonda) bwagituusa ku abo baaba ayagadde mu baddube ogenda okulaba nga bo basanyuka.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلِ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡهِم مِّن قَبۡلِهِۦ لَمُبۡلِسِينَ
49 . Newaakubadde nga tennaba kubatonnyesebwa oluberyeberye lw'ekyo baali bakutuse n'okusuubira.
அரபு விரிவுரைகள்:
فَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ ءَاثَٰرِ رَحۡمَتِ ٱللَّهِ كَيۡفَ يُحۡيِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
50 . Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Katonda engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo. Mazima oyo ajja kulamusiza ddala abafu era yye bulijjo muyinza ku buli kintu.
அரபு விரிவுரைகள்:
 
மொழிபெயர்ப்பு அத்தியாயம்: அர்ரூம்
அத்தியாயங்களின் அட்டவணை பக்க எண்
 
அல்குர்ஆன் மொழிபெயர்ப்பு - உகாண்டா மொழிபெயர்ப்பு - ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளை - மொழிபெயர்ப்பு அட்டவணை

ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளையிலிருந்து வருகிறது.

மூடுக