Check out the new design

அல்குர்ஆன் மொழிபெயர்ப்பு - உகாண்டா மொழிபெயர்ப்பு - ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளை * - மொழிபெயர்ப்பு அட்டவணை


மொழிபெயர்ப்பு அத்தியாயம்: ஹூத்   வசனம்:
يَقۡدُمُ قَوۡمَهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَأَوۡرَدَهُمُ ٱلنَّارَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡوِرۡدُ ٱلۡمَوۡرُودُ
98. (Firawo) alikulembera abantube ku lunaku lw'enkomerero naabayingiza omuliro. Buyingiro bubi bwe baliyingira.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَأُتۡبِعُواْ فِي هَٰذِهِۦ لَعۡنَةٗ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ بِئۡسَ ٱلرِّفۡدُ ٱلۡمَرۡفُودُ
99. Ate nebagoberezebwa ekikolimo kuno ku nsi ne ku lunaku lw'enkomerero, ennyongeza mbi ne kye bongerako nakyo kibi.
அரபு விரிவுரைகள்:
ذَٰلِكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلۡقُرَىٰ نَقُصُّهُۥ عَلَيۡكَۖ مِنۡهَا قَآئِمٞ وَحَصِيدٞ
100. Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن ظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡۖ فَمَآ أَغۡنَتۡ عَنۡهُمۡ ءَالِهَتُهُمُ ٱلَّتِي يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٖ لَّمَّا جَآءَ أَمۡرُ رَبِّكَۖ وَمَا زَادُوهُمۡ غَيۡرَ تَتۡبِيبٖ
101. (Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَكَذَٰلِكَ أَخۡذُ رَبِّكَ إِذَآ أَخَذَ ٱلۡقُرَىٰ وَهِيَ ظَٰلِمَةٌۚ إِنَّ أَخۡذَهُۥٓ أَلِيمٞ شَدِيدٌ
102. Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu.
அரபு விரிவுரைகள்:
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّمَنۡ خَافَ عَذَابَ ٱلۡأٓخِرَةِۚ ذَٰلِكَ يَوۡمٞ مَّجۡمُوعٞ لَّهُ ٱلنَّاسُ وَذَٰلِكَ يَوۡمٞ مَّشۡهُودٞ
103. Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako.
அரபு விரிவுரைகள்:
وَمَا نُؤَخِّرُهُۥٓ إِلَّا لِأَجَلٖ مَّعۡدُودٖ
104. Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere.
அரபு விரிவுரைகள்:
يَوۡمَ يَأۡتِ لَا تَكَلَّمُ نَفۡسٌ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ فَمِنۡهُمۡ شَقِيّٞ وَسَعِيدٞ
105. Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu.
அரபு விரிவுரைகள்:
فَأَمَّا ٱلَّذِينَ شَقُواْ فَفِي ٱلنَّارِ لَهُمۡ فِيهَا زَفِيرٞ وَشَهِيقٌ
106. Bo abo abaajeema baakuyingira muliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema.
அரபு விரிவுரைகள்:
خَٰلِدِينَ فِيهَا مَا دَامَتِ ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ إِلَّا مَا شَآءَ رَبُّكَۚ إِنَّ رَبَّكَ فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ
107. Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde.
அரபு விரிவுரைகள்:
۞ وَأَمَّا ٱلَّذِينَ سُعِدُواْ فَفِي ٱلۡجَنَّةِ خَٰلِدِينَ فِيهَا مَا دَامَتِ ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ إِلَّا مَا شَآءَ رَبُّكَۖ عَطَآءً غَيۡرَ مَجۡذُوذٖ
108. Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa.
அரபு விரிவுரைகள்:
 
மொழிபெயர்ப்பு அத்தியாயம்: ஹூத்
அத்தியாயங்களின் அட்டவணை பக்க எண்
 
அல்குர்ஆன் மொழிபெயர்ப்பு - உகாண்டா மொழிபெயர்ப்பு - ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளை - மொழிபெயர்ப்பு அட்டவணை

ஆப்பிரிக்க மேம்பாட்டு அறக்கட்டளையிலிருந்து வருகிறது.

மூடுக