Check out the new design

पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन । * - अनुवादहरूको सूची


अर्थको अनुवाद सूरः: इस्रा   श्लोक:
وَإِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فِي ٱلۡبَحۡرِ ضَلَّ مَن تَدۡعُونَ إِلَّآ إِيَّاهُۖ فَلَمَّا نَجَّىٰكُمۡ إِلَى ٱلۡبَرِّ أَعۡرَضۡتُمۡۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ كَفُورًا
67 . Obuzibu bwe bubatuukako nga muli mu nyanja olwo nno buli kye musaba nekivaawo okugyako yye, naye bwabawonya nemudda ku lukalu ate olwo nemuddayo. Era anti bulijjo omuntu mwegaanyi.
अरबी व्याख्याहरू:
أَفَأَمِنتُمۡ أَن يَخۡسِفَ بِكُمۡ جَانِبَ ٱلۡبَرِّ أَوۡ يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبٗا ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ وَكِيلًا
68 . Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna.
अरबी व्याख्याहरू:
أَمۡ أَمِنتُمۡ أَن يُعِيدَكُمۡ فِيهِ تَارَةً أُخۡرَىٰ فَيُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ قَاصِفٗا مِّنَ ٱلرِّيحِ فَيُغۡرِقَكُم بِمَا كَفَرۡتُمۡ ثُمَّ لَا تَجِدُواْ لَكُمۡ عَلَيۡنَا بِهِۦ تَبِيعٗا
69 . Oba mulina obukakafu nti Katonda tayinza kubazzaayo mu yo (enyanja) omulundi omulala, olwo nno n'abasindikira omuyaga olw'ebyo bye mwawakanya ate nga temuyinza kwefunira kuffe olw'ekintu ekyo muntu alondoola.
अरबी व्याख्याहरू:
۞ وَلَقَدۡ كَرَّمۡنَا بَنِيٓ ءَادَمَ وَحَمَلۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡبَرِّ وَٱلۡبَحۡرِ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّمَّنۡ خَلَقۡنَا تَفۡضِيلٗا
70 . Mazima twawa abaana ba Adam ekitiibwa, netubawa kwe batambulira nga bali ku lukalu ne kunyanja, netubagabirira mu birungi, era netubasukkulumya olusukkulumya ku bingi mu ebyo bye twatonda.
अरबी व्याख्याहरू:
يَوۡمَ نَدۡعُواْ كُلَّ أُنَاسِۭ بِإِمَٰمِهِمۡۖ فَمَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ فَأُوْلَٰٓئِكَ يَقۡرَءُونَ كِتَٰبَهُمۡ وَلَا يُظۡلَمُونَ فَتِيلٗا
71 . (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono.
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَن كَانَ فِي هَٰذِهِۦٓ أَعۡمَىٰ فَهُوَ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ أَعۡمَىٰ وَأَضَلُّ سَبِيلٗا
72 . Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo.
अरबी व्याख्याहरू:
وَإِن كَادُواْ لَيَفۡتِنُونَكَ عَنِ ٱلَّذِيٓ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ لِتَفۡتَرِيَ عَلَيۡنَا غَيۡرَهُۥۖ وَإِذٗا لَّٱتَّخَذُوكَ خَلِيلٗا
73 . Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe.
अरबी व्याख्याहरू:
وَلَوۡلَآ أَن ثَبَّتۡنَٰكَ لَقَدۡ كِدتَّ تَرۡكَنُ إِلَيۡهِمۡ شَيۡـٔٗا قَلِيلًا
74 . Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali.
अरबी व्याख्याहरू:
إِذٗا لَّأَذَقۡنَٰكَ ضِعۡفَ ٱلۡحَيَوٰةِ وَضِعۡفَ ٱلۡمَمَاتِ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ عَلَيۡنَا نَصِيرٗا
75 . Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.
अरबी व्याख्याहरू:
 
अर्थको अनुवाद सूरः: इस्रा
अध्यायहरूको (सूरःहरूको) सूची رقم الصفحة
 
पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन । - अनुवादहरूको सूची

अफ्रिकी विकास फाउन्डेशनद्वारा जारी ।

बन्द गर्नुस्