Check out the new design

വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ * - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക


പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: ഹജ്ജ്   ആയത്ത്:
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّهُۥ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَأَنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
6 . Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡعَثُ مَن فِي ٱلۡقُبُورِ
7 . Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Katonda agenda kuzuukiza abali mu kabbuli.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ
8 . Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Katonda nga tasinziira ku kumanya wadde okulungamizibwa oba ekitabo ekiraga obutangaavu.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
ثَانِيَ عِطۡفِهِۦ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۖ لَهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞۖ وَنُذِيقُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ
9 . (Mu ngeri y’okulengezza n’okwekuza) aweta ensingoye abe nga ajja abantu ku kkubo lya Katonda, atuusibwako okuswazibwa mu nsi era tugenda kumukombesa ku lunaku lw'enkomerero ku bibonerezo ebyokya.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ يَدَاكَ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ
10 . (Aligambibwa nti) ekyo kikutUuseeko olw'ebyo e mikonogyo bye gyakola edda (ku nsi) era mazima Katonda talyazAamaanya baddu.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَعۡبُدُ ٱللَّهَ عَلَىٰ حَرۡفٖۖ فَإِنۡ أَصَابَهُۥ خَيۡرٌ ٱطۡمَأَنَّ بِهِۦۖ وَإِنۡ أَصَابَتۡهُ فِتۡنَةٌ ٱنقَلَبَ عَلَىٰ وَجۡهِهِۦ خَسِرَ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡخُسۡرَانُ ٱلۡمُبِينُ
11 . Ne mu bantu mulimu asinza Katonda ng'ali ku ndeboolebo (ya bukkiriza) n'olwekyo bwatuukibwako ekirungi akkalira nakyo ate bwatuukibwako ekikemo oba okugesezebwa atalantuka n'agwira ku kyenyikye (naava ku ddiini) olwo nno naafiirwa ensi n'enkomerero okwo kwe kufaafaaganirwa okw'olwatu.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
يَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُۥ وَمَا لَا يَنفَعُهُۥۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ
12 . Alekawo Katonda n'aasinza ebyo ebitamutuusaako kabi era ebitamutuusaako mugaso okwo kwe kubula okwewala.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
يَدۡعُواْ لَمَن ضَرُّهُۥٓ أَقۡرَبُ مِن نَّفۡعِهِۦۚ لَبِئۡسَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَلَبِئۡسَ ٱلۡعَشِيرُ
13 . Asaba oyo akabiike nga ke kali okumpi okusinga omugasogwe, mubi nnyo asuubirwa okutaasa era mubi nnyo asuubirwa okuba nga ye w'omukwano.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يُرِيدُ
14 . Mazima Katonda agenda kuyingiza e jjana abo abaakola emirimu emirungi, nga emigga gikulukutira wansi, waazo, mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
مَن كَانَ يَظُنُّ أَن لَّن يَنصُرَهُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ بِسَبَبٍ إِلَى ٱلسَّمَآءِ ثُمَّ لۡيَقۡطَعۡ فَلۡيَنظُرۡ هَلۡ يُذۡهِبَنَّ كَيۡدُهُۥ مَا يَغِيظُ
15 . Omuntu alowooza nti Katonda tagenda kutaasa Mubakawe kuno ku nsi ne ku nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvanyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe byakola bisobola okumuwonya byatayagala.
അറബി തഫ്സീറുകൾ:
 
പരിഭാഷ അദ്ധ്യായം: ഹജ്ജ്
സൂറത്തുകളുടെ സൂചിക പേജ് നമ്പർ
 
വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ - വിവർത്തനങ്ങളുടെ സൂചിക

ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷനിൽ നിന്ന് പ്രസിദ്ധീകരിച്ചത്.

അവസാനിപ്പിക്കുക