Check out the new design

ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ * - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ


ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅನ್ನೂರ್   ಶ್ಲೋಕ:
يُقَلِّبُ ٱللَّهُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَعِبۡرَةٗ لِّأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ
44 . Katonda akyusakyusa emisana n'ekiro, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abalina amaaso.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَٱللَّهُ خَلَقَ كُلَّ دَآبَّةٖ مِّن مَّآءٖۖ فَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ بَطۡنِهِۦ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰ رِجۡلَيۡنِ وَمِنۡهُم مَّن يَمۡشِي عَلَىٰٓ أَرۡبَعٖۚ يَخۡلُقُ ٱللَّهُ مَا يَشَآءُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
45 . Katonda yatonda buli kiramu nga akiggya mu mazzi, mu byo mulimu ekitambulira ku lubuto lwa kyo, ne mu byo mulimu ekitambulira ku magulu abiri, era mulimu ekitambulira ku ana, Katonda atonda ekyo ky'aba ayagadde. Mazima Katonda muyinza ku buli kintu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
لَّقَدۡ أَنزَلۡنَآ ءَايَٰتٖ مُّبَيِّنَٰتٖۚ وَٱللَّهُ يَهۡدِي مَن يَشَآءُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
46 . Mazima twassa obubonero obunnyonnyola, bulijjo Katonda alungamya gwaba ayagadde ku kkubo eggolokofu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَيَقُولُونَ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَبِٱلرَّسُولِ وَأَطَعۡنَا ثُمَّ يَتَوَلَّىٰ فَرِيقٞ مِّنۡهُم مِّنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَۚ وَمَآ أُوْلَٰٓئِكَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ
47 . (Abannanfusi) bagamba nti tukkirizza Katonda n'omubaka era ne tugonda ate ekitundu ku bo ne kyekyusa oluvanyuma lw'ekyo, era abo si bakkiriza.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَإِذَا دُعُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُم مُّعۡرِضُونَ
48 . Bwe bayitibwa okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati wa bwe ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bakyawukanako.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَإِن يَكُن لَّهُمُ ٱلۡحَقُّ يَأۡتُوٓاْ إِلَيۡهِ مُذۡعِنِينَ
49 . Bwe kiba nga amazima gali ku ludda lwa bwe bajja gyali (Nabbi) nga bagonvu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
أَفِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ أَمِ ٱرۡتَابُوٓاْ أَمۡ يَخَافُونَ أَن يَحِيفَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ وَرَسُولُهُۥۚ بَلۡ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ
50 . (Ekibakozesa ekyo) abaffe mu mitima gya bwe mulimu obulwadde oba babuusabuusa (obwa Nabbi bwe), oba batya Katonda n'omubaka we okubasaliriza, si bwekiri abo bbo be beeyisa obubi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
إِنَّمَا كَانَ قَوۡلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ إِذَا دُعُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَهُمۡ أَن يَقُولُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَاۚ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ
51 . Mazima kyalibadde ekigambo kya bakkiriza (kye bandigambye) wonna we babayitira okudda eri Katonda n'omubakawe abe nga alamula wakati waabwe bandigambye tuwulidde era netugonda era abo bbo be b'okutuuka ku buwanguzi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَخۡشَ ٱللَّهَ وَيَتَّقۡهِ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ
52 . Oyo yenna agondera Katonda n'omubakawe n'atya Katonda ne yeeyisa nga Katonda bwayagala abo bbo be bawanguzi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
۞ وَأَقۡسَمُواْ بِٱللَّهِ جَهۡدَ أَيۡمَٰنِهِمۡ لَئِنۡ أَمَرۡتَهُمۡ لَيَخۡرُجُنَّۖ قُل لَّا تُقۡسِمُواْۖ طَاعَةٞ مَّعۡرُوفَةٌۚ إِنَّ ٱللَّهَ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ
53 . Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro bya bwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
 
ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅನ್ನೂರ್
ಅಧ್ಯಾಯಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ ಪುಟ ಸಂಖ್ಯೆ
 
ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ

ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ ನಿಂದ ಪ್ರಕಾಶಿತ

ಮುಚ್ಚಿ