Check out the new design

ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ * - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ


ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅಲ್- ಹಜ್ಜ್   ಶ್ಲೋಕ:
ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ
56 . Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Katonda yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ
57 . Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyoomesa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ قُتِلُوٓاْ أَوۡ مَاتُواْ لَيَرۡزُقَنَّهُمُ ٱللَّهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ
58 . Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
لَيُدۡخِلَنَّهُم مُّدۡخَلٗا يَرۡضَوۡنَهُۥۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَلِيمٌ حَلِيمٞ
59 . Agenda kubayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Katonda mumanyi nnyo wa kisa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
۞ ذَٰلِكَۖ وَمَنۡ عَاقَبَ بِمِثۡلِ مَا عُوقِبَ بِهِۦ ثُمَّ بُغِيَ عَلَيۡهِ لَيَنصُرَنَّهُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ
60 . Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvanyuma naalumbaganwa, mazima Katonda wa kumutaasiza ddala mazima Katonda mulekezi musonyiyi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ
61 . Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era mazima Katonda awulira alaba nnyo.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ هُوَ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ
62 . Ekyo bwe kityo bwe kiri lwakuba nti mazima Katonda ye ye mazima, era ddala bye basinza ebitali yye bye bitali bituufu era mazima Katonda yye ye wa waggulu ow'ekitiibwa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَتُصۡبِحُ ٱلۡأَرۡضُ مُخۡضَرَّةًۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ
63 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi ensi neefuuka ya kiragala mazima Katonda alumirwa (ebitonde bye) amanyi ebyekusifu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ
64 . Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Katonda yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
 
ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅಲ್- ಹಜ್ಜ್
ಅಧ್ಯಾಯಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ ಪುಟ ಸಂಖ್ಯೆ
 
ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ

ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ ನಿಂದ ಪ್ರಕಾಶಿತ

ಮುಚ್ಚಿ