Check out the new design

ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ * - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ


ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಹೂದ್   ಶ್ಲೋಕ:
فَلَا تَكُ فِي مِرۡيَةٖ مِّمَّا يَعۡبُدُ هَٰٓؤُلَآءِۚ مَا يَعۡبُدُونَ إِلَّا كَمَا يَعۡبُدُ ءَابَآؤُهُم مِّن قَبۡلُۚ وَإِنَّا لَمُوَفُّوهُمۡ نَصِيبَهُمۡ غَيۡرَ مَنقُوصٖ
109. Tobaamu kubuusabuusa mu ebyo bye basinza tebasinza okugyako nga ba Jjajaabwe bwe baasinzanga oluberyeberye,era mazima ffe tujja kubatuukiririza omugabo gwa bwe awatali kukendezaako.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ فَٱخۡتُلِفَ فِيهِۚ وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيۡنَهُمۡۚ وَإِنَّهُمۡ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُ مُرِيبٖ
110. Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani).
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَإِنَّ كُلّٗا لَّمَّا لَيُوَفِّيَنَّهُمۡ رَبُّكَ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ إِنَّهُۥ بِمَا يَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ
111. Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
فَٱسۡتَقِمۡ كَمَآ أُمِرۡتَ وَمَن تَابَ مَعَكَ وَلَا تَطۡغَوۡاْۚ إِنَّهُۥ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
112. Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَلَا تَرۡكَنُوٓاْ إِلَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ فَتَمَسَّكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِنۡ أَوۡلِيَآءَ ثُمَّ لَا تُنصَرُونَ
113. Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ طَرَفَيِ ٱلنَّهَارِ وَزُلَفٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِۚ إِنَّ ٱلۡحَسَنَٰتِ يُذۡهِبۡنَ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ ذَٰلِكَ ذِكۡرَىٰ لِلذَّٰكِرِينَ
114. Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَٱصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ
115. Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
فَلَوۡلَا كَانَ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مِن قَبۡلِكُمۡ أُوْلُواْ بَقِيَّةٖ يَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡفَسَادِ فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا قَلِيلٗا مِّمَّنۡ أَنجَيۡنَا مِنۡهُمۡۗ وَٱتَّبَعَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَآ أُتۡرِفُواْ فِيهِ وَكَانُواْ مُجۡرِمِينَ
116. Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَمَا كَانَ رَبُّكَ لِيُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ بِظُلۡمٖ وَأَهۡلُهَا مُصۡلِحُونَ
117. Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
 
ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಹೂದ್
ಅಧ್ಯಾಯಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ ಪುಟ ಸಂಖ್ಯೆ
 
ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ

ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ ನಿಂದ ಪ್ರಕಾಶಿತ

ಮುಚ್ಚಿ