Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አር ሩም   አንቀጽ:
وَعۡدَ ٱللَّهِۖ لَا يُخۡلِفُ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ
6 . Eyo ndagaano ya Katonda, Katonda tayawukana ku ndagaanoye, naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
يَعۡلَمُونَ ظَٰهِرٗا مِّنَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ عَنِ ٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ غَٰفِلُونَ
7 . (Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أَوَلَمۡ يَتَفَكَّرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۗ مَّا خَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَآ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَأَجَلٖ مُّسَمّٗىۗ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلنَّاسِ بِلِقَآيِٕ رَبِّهِمۡ لَكَٰفِرُونَ
8 . Abaffe tebafumiitiriza mu myooyo gyabwe (ne bakiraba nti) Katonda teyatonda ggulu musanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi, wabula mu mazima era nga birina e kiseera ekigere naye mazima bangi mu bantu bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَأَثَارُواْ ٱلۡأَرۡضَ وَعَمَرُوهَآ أَكۡثَرَ مِمَّا عَمَرُوهَا وَجَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ فَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيَظۡلِمَهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ
9 . Abaffe tebatambulangako mu nsi nebalaba yali etya enkomerero y'abo abaabakulembera! (ate) nga baali babasinga amaanyi era baayiikuula ensi era ne bagizimba okusinga nga bano bwe baagizimba era ababaka baabwe baabaleetera obunnyonnyofu, n'olwekyo Katonda teyali wa kubayisa bubi wabula bo bennyini be beeyisa obubi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ثُمَّ كَانَ عَٰقِبَةَ ٱلَّذِينَ أَسَٰٓـُٔواْ ٱلسُّوٓأَىٰٓ أَن كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَكَانُواْ بِهَا يَسۡتَهۡزِءُونَ
10 . Oluvanyuma enkomerero y'abo abaakola ebivve yali nti baalimbisa e bigambo bya Katonda era baali babijeeja.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱللَّهُ يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥ ثُمَّ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
11 . Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يُبۡلِسُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ
12 . Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَمۡ يَكُن لَّهُم مِّن شُرَكَآئِهِمۡ شُفَعَٰٓؤُاْ وَكَانُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ كَٰفِرِينَ
13 . Era tebagenda kufuna mu bannaabwe bawolereza, olwo nno balyegaana bannaabwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَتَفَرَّقُونَ
14 . Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَهُمۡ فِي رَوۡضَةٖ يُحۡبَرُونَ
15 . Bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirungi, abo nno baakubeera mu bifo ebyeyagaza nga basanyusibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አር ሩም
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት