Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ሐጅ   አንቀጽ:
وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥۚ وَإِنَّ يَوۡمًا عِندَ رَبِّكَ كَأَلۡفِ سَنَةٖ مِّمَّا تَعُدُّونَ
47 . Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Katonda tayinza kwawukana ku ndagaanoye (ajja kubibatuusaako ku lunaku lw'enkomerero) era mazima olunaku lumu ewa Mukama omulabiriziwo lulinga emyaka lukumi mu mbala ya mmwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَمۡلَيۡتُ لَهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ ثُمَّ أَخَذۡتُهَا وَإِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ
48 . Era ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvanyuma nembikwata era gyendi yokka y'eri obuddo.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قُلۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّمَآ أَنَا۠ لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٞ
49 . Gamba (Ggwe Muhammad) abange mmwe abantu mazima nze gye muli ndi mutiisa ow'olwatu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ
50 . Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱلَّذِينَ سَعَوۡاْ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ
51 . Naabo abeewaayo okulemesa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro Jahiimu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٖ وَلَا نَبِيٍّ إِلَّآ إِذَا تَمَنَّىٰٓ أَلۡقَى ٱلشَّيۡطَٰنُ فِيٓ أُمۡنِيَّتِهِۦ فَيَنسَخُ ٱللَّهُ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ ثُمَّ يُحۡكِمُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ
52 . Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لِّيَجۡعَلَ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡقَاسِيَةِ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّٰلِمِينَ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ
53 . (Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَيُؤۡمِنُواْ بِهِۦ فَتُخۡبِتَ لَهُۥ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
54 . Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةً أَوۡ يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَقِيمٍ
55 . Bulijjo abo abaakaafuwala tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kur’ani) okuutuusa olunaku lwe'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ሐጅ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት