Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ከህፍ   አንቀጽ:
وَدَخَلَ جَنَّتَهُۥ وَهُوَ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ قَالَ مَآ أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِۦٓ أَبَدٗا
35 . Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَمَآ أَظُنُّ ٱلسَّاعَةَ قَآئِمَةٗ وَلَئِن رُّدِدتُّ إِلَىٰ رَبِّي لَأَجِدَنَّ خَيۡرٗا مِّنۡهَا مُنقَلَبٗا
36 . Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
قَالَ لَهُۥ صَاحِبُهُۥ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَكَفَرۡتَ بِٱلَّذِي خَلَقَكَ مِن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ سَوَّىٰكَ رَجُلٗا
37 . Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَّٰكِنَّا۠ هُوَ ٱللَّهُ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا
38 . Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا
39 . Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
فَعَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يُؤۡتِيَنِ خَيۡرٗا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرۡسِلَ عَلَيۡهَا حُسۡبَانٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَتُصۡبِحَ صَعِيدٗا زَلَقًا
40 . Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
أَوۡ يُصۡبِحَ مَآؤُهَا غَوۡرٗا فَلَن تَسۡتَطِيعَ لَهُۥ طَلَبٗا
41 . Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَأُحِيطَ بِثَمَرِهِۦ فَأَصۡبَحَ يُقَلِّبُ كَفَّيۡهِ عَلَىٰ مَآ أَنفَقَ فِيهَا وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَيَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي لَمۡ أُشۡرِكۡ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا
42 . Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ فِئَةٞ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مُنتَصِرًا
43 . Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
هُنَالِكَ ٱلۡوَلَٰيَةُ لِلَّهِ ٱلۡحَقِّۚ هُوَ خَيۡرٞ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ عُقۡبٗا
44 . Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا كَمَآءٍ أَنزَلۡنَٰهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَٱخۡتَلَطَ بِهِۦ نَبَاتُ ٱلۡأَرۡضِ فَأَصۡبَحَ هَشِيمٗا تَذۡرُوهُ ٱلرِّيَٰحُۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ مُّقۡتَدِرًا
45 . Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ከህፍ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት