Check out the new design

Meningsmæssige oversættelser af Den Hellige Koran - Den lugandiske oversættelse - Det Afrikanske Udviklingsinstitut * - Oversigt over oversættelser


Meningsmæssige oversættelser Kapitel (sura): AL-BAQARAH   Vers (aya):

Bakarah

الٓمٓ
Alif Laam Miim.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ذَٰلِكَ ٱلۡكِتَٰبُ لَا رَيۡبَۛ فِيهِۛ هُدٗى لِّلۡمُتَّقِينَ
Ekitabo ekyo (Kulaani) tekiriimu kubuusabuusa wabula bulunngamu eri abo abatya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡغَيۡبِ وَيُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ
Abo abakkiriza ebitalabikako ne bayimirizaawo esswala, era ne bawaayo mw'ebyo byetubagabirira.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلَّذِينَ يُؤۡمِنُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَ وَبِٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ يُوقِنُونَ
Era b’ebo abakkiriza ebyakussibwako n'ebyo ebyassibwa ku Babaka abaakusooka, era nga bakakasa Olunaku lw'Enkomerero.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ عَلَىٰ هُدٗى مِّن رَّبِّهِمۡۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ
Abo be bali ku bulunngamu okuva eri Omulezi Waabwe (Allah), era abo be b'okwesiima .
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ ءَأَنذَرۡتَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تُنذِرۡهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
Mazima abo abatakkiriza (Bubaka obwassibwa ku Nnabbi Muhammadi) kyenkanankana gyebali, obatiisizza oba tobatiisizza si ba kukkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
خَتَمَ ٱللَّهُ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ وَعَلَىٰ سَمۡعِهِمۡۖ وَعَلَىٰٓ أَبۡصَٰرِهِمۡ غِشَٰوَةٞۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ
Allah yazibikira emitima gyabwe n’okuwulira kwabwe, era ne ku maaso gaabwe kuliko ekibikka, era balina ebibonerezo ebinene.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَبِٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَمَا هُم بِمُؤۡمِنِينَ
Era mu bantu mulimu abagamba nti tukkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero, ate nga si Bakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يُخَٰدِعُونَ ٱللَّهَ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَمَا يَخۡدَعُونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ
Bakwenyakwenya Allah n'Abakkiriza so nga bakwenyakwenya myoyo gyabwe nga tebamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ فَزَادَهُمُ ٱللَّهُ مَرَضٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمُۢ بِمَا كَانُواْ يَكۡذِبُونَ
mu mitima gyabwe mulimu obulwade, ne Allah n'abongera obulwadde, era balina ebibonerezo ebirumya olw'ebyo bye baalimbanga.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ لَا تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ قَالُوٓاْ إِنَّمَا نَحۡنُ مُصۡلِحُونَ
Bwe bagambibwa nti temwonoona mu nsi, bagamba nti: mazima ddala ffe tuli abalongoosa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَلَآ إِنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡمُفۡسِدُونَ وَلَٰكِن لَّا يَشۡعُرُونَ
So nga mazima ddala bo be boonoonyi naye tebakitegeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ ءَامِنُواْ كَمَآ ءَامَنَ ٱلنَّاسُ قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ كَمَآ ءَامَنَ ٱلسُّفَهَآءُۗ أَلَآ إِنَّهُمۡ هُمُ ٱلسُّفَهَآءُ وَلَٰكِن لَّا يَعۡلَمُونَ
Era bwe baba bagambiddwa nti mukkirize nga abantu (abalala) bwe bakkiriza, baddamu (mungeri yokukakkanya) nti: tukkirize nga ababuyabuya bwe bakkiriza?! Abange mazima ddala bo be babuyabuya naye tebamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا لَقُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ إِلَىٰ شَيَٰطِينِهِمۡ قَالُوٓاْ إِنَّا مَعَكُمۡ إِنَّمَا نَحۡنُ مُسۡتَهۡزِءُونَ
Bwe basisinkana Abakkiriza bagamba nti tukkirizza, naye bwe baddayo nga beeyawudde n'abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima ffe okuba na bali tuba tuli mu ku bakongoola na kubasekerera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱللَّهُ يَسۡتَهۡزِئُ بِهِمۡ وَيَمُدُّهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ
Allah naye abasasula kyebakola Abakkiriza mu kubajeeja era n'abongerayo mu bubuze bwabwe nga basamaaliridde babulubuuta.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلضَّلَٰلَةَ بِٱلۡهُدَىٰ فَمَا رَبِحَت تِّجَٰرَتُهُمۡ وَمَا كَانُواْ مُهۡتَدِينَ
Abonno beebo abaagula obubuze mu bulunngamu. Okusuubula kwabwe tekwakola magoba, era tebaali baakulunngama.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
مَثَلُهُمۡ كَمَثَلِ ٱلَّذِي ٱسۡتَوۡقَدَ نَارٗا فَلَمَّآ أَضَآءَتۡ مَا حَوۡلَهُۥ ذَهَبَ ٱللَّهُ بِنُورِهِمۡ وَتَرَكَهُمۡ فِي ظُلُمَٰتٖ لَّا يُبۡصِرُونَ
Ekifaananyi kyabwe (abannanfuusi) bafaanana nga omuntu akumye omuliro, bwe gumala okwaka era ne gumulisa ebimwetoolodde, olwo Allah n'aggyawo ekitangaala kyabwe n'abaleka mu nzikiza, nga tebakyalaba.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
صُمُّۢ بُكۡمٌ عُمۡيٞ فَهُمۡ لَا يَرۡجِعُونَ
Abantu abo bakiggala, bakassiru, era bamuzibe, tebayinza kudda (ku kkubo ggolokofu).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَوۡ كَصَيِّبٖ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فِيهِ ظُلُمَٰتٞ وَرَعۡدٞ وَبَرۡقٞ يَجۡعَلُونَ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِم مِّنَ ٱلصَّوَٰعِقِ حَذَرَ ٱلۡمَوۡتِۚ وَٱللَّهُ مُحِيطُۢ بِٱلۡكَٰفِرِينَ
Ekifaananyi kyabwe ekyamazzi balinga abantu abali mu nkuba etonnya ng'erimu e kizikiza ekikutte nga mulimu n'okubwatuka kw'eggulu, n'okumyansa kw'obumyanso, ne nebatuuka okussa ennwe zaabwe mu matu gaabwe olw'okutya okubwatuka nga batya okufa. Nebatamanya nti Allah yeetoolodde abawakanya amateeka Ge.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَكَادُ ٱلۡبَرۡقُ يَخۡطَفُ أَبۡصَٰرَهُمۡۖ كُلَّمَآ أَضَآءَ لَهُم مَّشَوۡاْ فِيهِ وَإِذَآ أَظۡلَمَ عَلَيۡهِمۡ قَامُواْۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَذَهَبَ بِسَمۡعِهِمۡ وَأَبۡصَٰرِهِمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
Obumyanso olw'amaanyi gaabwo bubulako katono okuziba amaaso gaabwe. Buli lwe bubamulisiza nga batambula mu nkuba, ate bwe buzikira ne bukoma nga bayimirira olw'obutalaba gye balaga, era singa Allah aba ayagadde yaalibaggyeko okuwulira kwabwe, n'okulaba kwabwe. Mazima Allah Muyinza ku buli kintu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ
Abange mmwe abantu musinze Omulezi Wammwe eyabatonda n'atonda n'abo abaabakulembera mulyoke mumutye mu ngeri eyannamaddala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ فِرَٰشٗا وَٱلسَّمَآءَ بِنَآءٗ وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجَ بِهِۦ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ رِزۡقٗا لَّكُمۡۖ فَلَا تَجۡعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
(Omulezi wammwe) Oyo eyabakolera ensi nga mwaliiro (eteredde) era n'abakolera eggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (enkuba) okuva waggulu mu bire n'ameza nayo e bibala nga byakulya byammwe. Kale nno Allah (Katonda) temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi nti Yye Yekka y'ateekwa okusinzibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّمَّا نَزَّلۡنَا عَلَىٰ عَبۡدِنَا فَأۡتُواْ بِسُورَةٖ مِّن مِّثۡلِهِۦ وَٱدۡعُواْ شُهَدَآءَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Era bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu Waffe (Nnabbi Muhammadi) okusaasira kwa Allah n'emirembe bimubeereko), kale muleeteeyo essuula emu efaananako nga Kulaani, muyite abajulizi bammwe be mulowooza nti bayinza okubayamba awatali Allah, bwe muba nga muli baamazima.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِن لَّمۡ تَفۡعَلُواْ وَلَن تَفۡعَلُواْ فَٱتَّقُواْ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي وَقُودُهَا ٱلنَّاسُ وَٱلۡحِجَارَةُۖ أُعِدَّتۡ لِلۡكَٰفِرِينَ
Bwe muba nga temukikoze era nga temugenda kusobola kukikola; kale mutye Omuliro era mugwewale (kubanga) enku zaagwo bantu n'amayinja, gwategekerwa abawakanya Allah n'Amateeka Ge.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَبَشِّرِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ كُلَّمَا رُزِقُواْ مِنۡهَا مِن ثَمَرَةٖ رِّزۡقٗا قَالُواْ هَٰذَا ٱلَّذِي رُزِقۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَأُتُواْ بِهِۦ مُتَشَٰبِهٗاۖ وَلَهُمۡ فِيهَآ أَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞۖ وَهُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Era sanyusa abo Abakkiriza ne bakola emirimu emirungi nti mazima ddala bajja kufuna Ejjana ezikulukutiramu emigga. buli lwe banaaweebwanga ekibala kyonna mu Jjana bajja kugambanga nti ekyo kyatuweebwako dda (nga tuli ku nsi), binaabaweebwanga nga mundabika bifaanana na biri eby'okunsi naye nga mu buwoomi byanjawulo era baliweebwa abali mu Jjana abakyala abaatukuzibwa, (nabwekityo abakyala balifuna mu Jjana abaami abaatukuzibwa) era baakugibeeramu lubeerera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَسۡتَحۡيِۦٓ أَن يَضۡرِبَ مَثَلٗا مَّا بَعُوضَةٗ فَمَا فَوۡقَهَاۚ فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ فَيَعۡلَمُونَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّهِمۡۖ وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَيَقُولُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۘ يُضِلُّ بِهِۦ كَثِيرٗا وَيَهۡدِي بِهِۦ كَثِيرٗاۚ وَمَا يُضِلُّ بِهِۦٓ إِلَّا ٱلۡفَٰسِقِينَ
Mazima Katonda takwatibwa nsonyi kukuba kyakulabirako kyonna newakubadde nga kyansiri n'ekintu ekirala ekigisingako. Wabula bo Abakkiriza bamanyira ddala nti ago ge mazima agaava eri Omulezi waabwe, kyokka ab'agaana okukkiriza bagamba nti Katonda yagenderera ki mu ky'okulabirako kino!. N'olw'ekyo aleka bangi ne babula olw'ekyokulabirako kino so nga ate alunngamya nakyo bangi. Era b'abuza nakyobe boonoonefu abatakkiriza Allah n'Omubaka we Muhammadi- okusaasira kwa Allah n'emirembe bimubeereko-.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يَنقُضُونَ عَهۡدَ ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مِيثَٰقِهِۦ وَيَقۡطَعُونَ مَآ أَمَرَ ٱللَّهُ بِهِۦٓ أَن يُوصَلَ وَيُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ
Abo abamenya Endagaano ya Allah oluvannyuma lw'okugikakasa, ne bakutula ebyo Allah bye yalagira okuyunga, era ne boonoona mu nsi, abonno be b'okufaafaaganirwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كَيۡفَ تَكۡفُرُونَ بِٱللَّهِ وَكُنتُمۡ أَمۡوَٰتٗا فَأَحۡيَٰكُمۡۖ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡ ثُمَّ إِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
Muwakanya mutya Allah (era ne mutamukkiriza) nga mwali bafu temwaliwo n'abawa obulamu, ate oluvannyuma alibatta, ate oluvannyuma alibazuukiza era nga gy'ali gye mugenda okudda!.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰٓ إِلَى ٱلسَّمَآءِ فَسَوَّىٰهُنَّ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖۚ وَهُوَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ
Oyo Allah (y'Oyo eyabatondera byonna ebiri mu nsi, bwe yamaliriza n'alyoka azzaako eggulu, n'alikola nga lya myaliiro musanvu era kubuli kimu mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي جَاعِلٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ خَلِيفَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَجۡعَلُ فِيهَا مَن يُفۡسِدُ فِيهَا وَيَسۡفِكُ ٱلدِّمَآءَ وَنَحۡنُ نُسَبِّحُ بِحَمۡدِكَ وَنُقَدِّسُ لَكَۖ قَالَ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ
Jjukira ggwe Muhammadi, Omulezi Wo bwe yagamba Bamalayika nti mazima nngenda kuteeka mu nsi omusigire, ne bagamba nti, ogenda okugissaamu (omuntu) anaagyonooneramu n'ayiwa n'omusaayi, nga ate ffe tukutendereza era nga tukugulumiza! (Allah) yaddamu n’abagamba nti Nze mmanyi ebyo bye mutamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَعَلَّمَ ءَادَمَ ٱلۡأَسۡمَآءَ كُلَّهَا ثُمَّ عَرَضَهُمۡ عَلَى ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ فَقَالَ أَنۢبِـُٔونِي بِأَسۡمَآءِ هَٰٓؤُلَآءِ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Allah (Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga Bamalayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (nti mmwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ لَا عِلۡمَ لَنَآ إِلَّا مَا عَلَّمۡتَنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ
Ne bagamba nga batendereza nti; Oli wanjawulo era wasukkuluma (Allah) ffe tetulina kyetumanyi okuggyako ekyo ky'oba otuyigirizza. Mazima Ggwe Muyitirivu w'okumanya era Omuyitirivu W'amagezi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالَ يَٰٓـَٔادَمُ أَنۢبِئۡهُم بِأَسۡمَآئِهِمۡۖ فَلَمَّآ أَنۢبَأَهُم بِأَسۡمَآئِهِمۡ قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ إِنِّيٓ أَعۡلَمُ غَيۡبَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَأَعۡلَمُ مَا تُبۡدُونَ وَمَا كُنتُمۡ تَكۡتُمُونَ
Allah n'agamba nti; owange Adamu, babuulire amannya gaabyo. Bwe yamaliriza okubattottolera amannya gaabyo, Allah kwe kubagamba nti: Ssaabagambye nti mazima nze mmanyi ebikusike mu nsi ne mu ggulu, era nga mmanyi bye mwolesa n'ebyo bye mukweka?!
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ وَٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Era jjukira we twagambira Bamalayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okuggyako Ibuliisu (Sitaani) yagaana ne yeekuluntaza n'ebeera mu bawakanya Allah.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقُلۡنَا يَٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ وَكُلَا مِنۡهَا رَغَدًا حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Ne tugamba nti: Owange ggwe Adamu beera mu Jjana ggwe ne mukyala wo era mulye mwegazaanyize wonna we mwagala naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَأَزَلَّهُمَا ٱلشَّيۡطَٰنُ عَنۡهَا فَأَخۡرَجَهُمَا مِمَّا كَانَا فِيهِۖ وَقُلۡنَا ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ
Sitaani n'abaseereza okuva mu Jjana era n'abaggya mu birungi bye baalimu. Ne tubagamba nti mukke mu nsi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira okutuusa ebbanga eggere.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَتَلَقَّىٰٓ ءَادَمُ مِن رَّبِّهِۦ كَلِمَٰتٖ فَتَابَ عَلَيۡهِۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ
Adamu bwe yamala n'afuna ebigambo ebyokwenenya okuva eri Omulezi We ne yeenenya era Allah n'amusonyiwa n'akkiriza okwenenya kwe. Mazima Yye (Allah) y'akkiriza okwenenya, era Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قُلۡنَا ٱهۡبِطُواْ مِنۡهَا جَمِيعٗاۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَن تَبِعَ هُدَايَ فَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Ne tugamba nti, kale mwenna mugifulume (Ejjana) era mukkirire mu nsi, buli lwonna obulunngamu lwe bunaabajjiranga okuva Gyendi, abo abaligoberera okulunngamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Naye abo abaligaana okukkiriza Allah n'Ababaka Be ne balimbisa Ebigambo Byaffe be b'okuba mu Muliro obugenderevu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتِيَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتُ عَلَيۡكُمۡ وَأَوۡفُواْ بِعَهۡدِيٓ أُوفِ بِعَهۡدِكُمۡ وَإِيَّٰيَ فَٱرۡهَبُونِ
Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira (mu byebaze). Era mutuukirize Endagaano Yange (ey'okunzikiriza n'okugondera Amateeka Gange), nja kutuukiriza endagaano yammwe (ey'okubayingiza Ejjana). Era Nze Nzekka gwe muba mutya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَءَامِنُواْ بِمَآ أَنزَلۡتُ مُصَدِّقٗا لِّمَا مَعَكُمۡ وَلَا تَكُونُوٓاْ أَوَّلَ كَافِرِۭ بِهِۦۖ وَلَا تَشۡتَرُواْ بِـَٔايَٰتِي ثَمَنٗا قَلِيلٗا وَإِيَّٰيَ فَٱتَّقُونِ
Era mukkirize ebyo bye nnassa (ku Nnabbi Muhammadi) nga bikakasa ebyo bye mulina (Tawulaati) era temuba abasaale mu kubiwakanya. Era temutundanga Ebigambo Byange omuwendo omutono (olw’emigaso gy'ensi), era mutye Nze Nzekka.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا تَلۡبِسُواْ ٱلۡحَقَّ بِٱلۡبَٰطِلِ وَتَكۡتُمُواْ ٱلۡحَقَّ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Temutabulanga amazima n'ebitali bituufu, ne mukweka amazima nga mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱرۡكَعُواْ مَعَ ٱلرَّٰكِعِينَ
Muyimirizeewo esswala, mutoole Zzaka, era mukutame n'abo abakutama.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ أَتَأۡمُرُونَ ٱلنَّاسَ بِٱلۡبِرِّ وَتَنسَوۡنَ أَنفُسَكُمۡ وَأَنتُمۡ تَتۡلُونَ ٱلۡكِتَٰبَۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
Abaffe mulagira mutya abantu okukola obulungi ne mwerabira emyoyo gyammwe, so nga ate mmwe musoma ekitabo (Tawulaati), abange temutegeera?!
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ وَإِنَّهَا لَكَبِيرَةٌ إِلَّا عَلَى ٱلۡخَٰشِعِينَ
Mweyambise obugumiikiriza n'okusaala, wabula yo esswala ekaluubirira nnyo abantu, okuggyako abo abagondera Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يَظُنُّونَ أَنَّهُم مُّلَٰقُواْ رَبِّهِمۡ وَأَنَّهُمۡ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ
Abo abakakasa nti baakusisinkana Omulezi Waabwe Katonda , era Gy'ali gye bagenda okudda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتِيَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتُ عَلَيۡكُمۡ وَأَنِّي فَضَّلۡتُكُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ
Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira ne mbasukkulumya ku bantu abalala bonna (olw'okubaggyamu Bannabbi abangi n'ebirala).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا لَّا تَجۡزِي نَفۡسٌ عَن نَّفۡسٖ شَيۡـٔٗا وَلَا يُقۡبَلُ مِنۡهَا شَفَٰعَةٞ وَلَا يُؤۡخَذُ مِنۡهَا عَدۡلٞ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ
Era mutye Olunaku omuntu lw'ataligasa muntu mulala mu kintu kyonna, era lw'atalikkirizibwa kuwolereza wadde okuwa ennunuzi, era abantu abo tebalitaasibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ نَجَّيۡنَٰكُم مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَسُومُونَكُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يُذَبِّحُونَ أَبۡنَآءَكُمۡ وَيَسۡتَحۡيُونَ نِسَآءَكُمۡۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَآءٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَظِيمٞ
Era mujjukire lwe twabawonya abantu ba Falaawo abaabatuusangako ebibonyoobonyo ebikakali, nga basanjaga abaana bammwe ab'obulenzi ne balekawo ab'obuwala. Ekikolwa ekyo kyalimu ekigezo kinene nnyo ekyava eri Mukama Wammwe (Katonda).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ فَرَقۡنَا بِكُمُ ٱلۡبَحۡرَ فَأَنجَيۡنَٰكُمۡ وَأَغۡرَقۡنَآ ءَالَ فِرۡعَوۡنَ وَأَنتُمۡ تَنظُرُونَ
Era mujjukire lwe twabakubira ekkubo mu nnyanja ne tubawonya, ate ne tuzikiriza abantu ba Falaawo nga nammwe mulaba.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ وَٰعَدۡنَا مُوسَىٰٓ أَرۡبَعِينَ لَيۡلَةٗ ثُمَّ ٱتَّخَذۡتُمُ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِهِۦ وَأَنتُمۡ ظَٰلِمُونَ
Era mujjukire lwe twalagaanyisa Musa ebiro amakumiana (40) (tulyoke tumuwe Ekitabo Tawulaati) wabula kye mwakola kwe kweteerawo ennyana (ne mugisinza) oluvannyuma lwa Musa okuvaawo, ne mubeera abalyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ عَفَوۡنَا عَنكُم مِّنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
Oluvannyuma lw'ebyo twabasonyiwa nga kisuubirwa nti ob'olyawo muneebaza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡفُرۡقَانَ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ
Era mujjukire we twaweera Musa Ekitabo (Tawulaati), ekyawula wakati w'obutuufu n'obukyamu mulyoke mulunngame.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ إِنَّكُمۡ ظَلَمۡتُمۡ أَنفُسَكُم بِٱتِّخَاذِكُمُ ٱلۡعِجۡلَ فَتُوبُوٓاْ إِلَىٰ بَارِئِكُمۡ فَٱقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ عِندَ بَارِئِكُمۡ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ
Era mujjukire Musa, we yagambira abantu be nti: Bantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olw'okusinza ennyana. N'olw’ekyo mwenenyeze Omutonzi Wammwe. Mu kutuukiriza ekyo muttinngane. Ekyo kye kirungi gyemuli ew'Omutonzi Wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala Yye, Yakkiriza okwenenya era Omusaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قُلۡتُمۡ يَٰمُوسَىٰ لَن نُّؤۡمِنَ لَكَ حَتَّىٰ نَرَى ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡكُمُ ٱلصَّٰعِقَةُ وَأَنتُمۡ تَنظُرُونَ
Era mujjukire we mwagambira Musa nti; Musa, tetujja kukkiriza by'ogamba okuggyako nga Allah tumulabidde ddala Yennyini mu lwatu (amangu ago) okubwatuka okwamaanyi ne kubajjira (ne mufa) nga mutangaaliridde.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ بَعَثۡنَٰكُم مِّنۢ بَعۡدِ مَوۡتِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
Oluvannyuma lw'okufa kwa mmwe ne tubazuukiza, mulyoke mwebaze.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَظَلَّلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡغَمَامَ وَأَنزَلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰۖ كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡۚ وَمَا ظَلَمُونَا وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ
Era twabasiikiriza n'ebire, ne tubassiza emmere eyitibwa Manna n'enva eziyitibwa Saluwa (enkwale) (Ne tubagamba nti) mulye ku birungi mu bintu bye twabagabirira. Naye (abajeemu mu bo) tebaatulyazaamaanya, wabula beeryazaamaanya bokka.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قُلۡنَا ٱدۡخُلُواْ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةَ فَكُلُواْ مِنۡهَا حَيۡثُ شِئۡتُمۡ رَغَدٗا وَٱدۡخُلُواْ ٱلۡبَابَ سُجَّدٗا وَقُولُواْ حِطَّةٞ نَّغۡفِرۡ لَكُمۡ خَطَٰيَٰكُمۡۚ وَسَنَزِيدُ ٱلۡمُحۡسِنِينَ
Era mujjukire we twabagambira nti muyingire ekibuga kino, nga muli mu kyo, mulye wonna we mwagala nga mwegazaanya, era muyingire omulyango gwakyo nga muvunnamye nga mugamba nti, twetonze (tusaba otuggyeko ebisobyo byaffe), tulyoke tubasonyiwe ebisobyo byammwe. Era tujja kwongeza abakozi b'ebirungi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَبَدَّلَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ قَوۡلًا غَيۡرَ ٱلَّذِي قِيلَ لَهُمۡ فَأَنزَلۡنَا عَلَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ رِجۡزٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ
Abaajeema (mu bo) baakyusa ekigambo ekyabalagirwa (ne boogeramu kirala). Ne tussa kw'abo abaajeema ekibonerezo ekyava waggulu olw'ebyo (ebyobujeemu) bye baakolanga .
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَإِذِ ٱسۡتَسۡقَىٰ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ فَقُلۡنَا ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡحَجَرَۖ فَٱنفَجَرَتۡ مِنۡهُ ٱثۡنَتَا عَشۡرَةَ عَيۡنٗاۖ قَدۡ عَلِمَ كُلُّ أُنَاسٖ مَّشۡرَبَهُمۡۖ كُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ مِن رِّزۡقِ ٱللَّهِ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ
Era mujjukire ekiseera Musa we yasabira Katonda, awe abantu be amazzi, ne tumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) mwafukumukamu ensulo kkuminabbiri. Buli kika (kya Bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda n'abagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Allah, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قُلۡتُمۡ يَٰمُوسَىٰ لَن نَّصۡبِرَ عَلَىٰ طَعَامٖ وَٰحِدٖ فَٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ يُخۡرِجۡ لَنَا مِمَّا تُنۢبِتُ ٱلۡأَرۡضُ مِنۢ بَقۡلِهَا وَقِثَّآئِهَا وَفُومِهَا وَعَدَسِهَا وَبَصَلِهَاۖ قَالَ أَتَسۡتَبۡدِلُونَ ٱلَّذِي هُوَ أَدۡنَىٰ بِٱلَّذِي هُوَ خَيۡرٌۚ ٱهۡبِطُواْ مِصۡرٗا فَإِنَّ لَكُم مَّا سَأَلۡتُمۡۗ وَضُرِبَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلذِّلَّةُ وَٱلۡمَسۡكَنَةُ وَبَآءُو بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانُواْ يَكۡفُرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَيَقۡتُلُونَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكَ بِمَا عَصَواْ وَّكَانُواْ يَعۡتَدُونَ
Era mujjukkire we mwagamba Musa nti, tetujja kugumiikiriza mmere ya kika kimu kyokka. Tusabire Omuleziwo (Katonda) atumereze e bimera okuva mu ttaka nga; enkoolimbo, kyukamba, katungulukyumu, ddengu n'obutungulu. (Musa) kwe kugamba nti muwanyisa ebyawansi mu kifo ky'ebirungi. Mugende awantu wonna awasobola okulimwa olwo nno munaafuna ebyo bye musabye. Nebakakasibwako obuswavu n'obunaku, era ne bakakatwako obusungu bwa Katonda. Ekyo nno lwakuba baali bawakanya ebigambo bya Katonda, era nga batta ba Nnabbi awatali nsonga ntuufu. Baakola ebyo byonna olw'obujeemu ne baba nga baasukka ensalo z'Amateeka ga Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلصَّٰبِـِٔينَ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Mazima abo abakkiriza (Nnabbi Muhammadi) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), n'abo abaali ku Ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba Sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nnbbi Muhammadi tannatumwa), yenna akkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero era n'akola emirimu emirungi, abo nno balina empeera yaabwe eri Omulezi Waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَكُمۡ وَرَفَعۡنَا فَوۡقَكُمُ ٱلطُّورَ خُذُواْ مَآ ءَاتَيۡنَٰكُم بِقُوَّةٖ وَٱذۡكُرُواْ مَا فِيهِ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ
Era mujjukire (mmwe abaana baYisrayiri) we twabakozesa Endagaano. Ne tuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate n'amaanyi ebyo bye tubawadde (Tawulaati). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ تَوَلَّيۡتُم مِّنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَۖ فَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ لَكُنتُم مِّنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ
Oluvannyuma ne mubikuba amabega, singa tekyali kyengera kya Allah kye yabawa n'okusaasira Kwe mwandibadde mu bafaafaaganiddwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلَّذِينَ ٱعۡتَدَوۡاْ مِنكُمۡ فِي ٱلسَّبۡتِ فَقُلۡنَا لَهُمۡ كُونُواْ قِرَدَةً خَٰسِـِٔينَ
Mazima mwamanya (ekyafaayo) ky'abo abamu mu mmwe abaasukka ensalo ne bavuba ku lunaku Olwomukaaga. Ne tubagamba nti: Mufuuke enkobe, mubeere abanyoomebwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَجَعَلۡنَٰهَا نَكَٰلٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهَا وَمَا خَلۡفَهَا وَمَوۡعِظَةٗ لِّلۡمُتَّقِينَ
Ne tukifuula ekyokulabula eri abo abaaliwo n'abo abalijja oluvannyuma. Era netukifuula ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦٓ إِنَّ ٱللَّهَ يَأۡمُرُكُمۡ أَن تَذۡبَحُواْ بَقَرَةٗۖ قَالُوٓاْ أَتَتَّخِذُنَا هُزُوٗاۖ قَالَ أَعُوذُ بِٱللَّهِ أَنۡ أَكُونَ مِنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ
Era mujjukire Musa awo we yagambira abantu be nti; mazima Allah abalagira musale ente. Ne baddamu nti: Otufuula kyakujeeja bujeeja. Musa n'addamu nti: Nsaba Allah antaase okubeera mu bantu abatategeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالُواْ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ يُبَيِّن لَّنَا مَا هِيَۚ قَالَ إِنَّهُۥ يَقُولُ إِنَّهَا بَقَرَةٞ لَّا فَارِضٞ وَلَا بِكۡرٌ عَوَانُۢ بَيۡنَ ذَٰلِكَۖ فَٱفۡعَلُواْ مَا تُؤۡمَرُونَ
Ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa n'agamba nti; mazima (Allah) agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالُواْ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ يُبَيِّن لَّنَا مَا لَوۡنُهَاۚ قَالَ إِنَّهُۥ يَقُولُ إِنَّهَا بَقَرَةٞ صَفۡرَآءُ فَاقِعٞ لَّوۡنُهَا تَسُرُّ ٱلنَّٰظِرِينَ
(Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole (ente eyo) ya langi ki? N'agamba nti; (Katonda) agamba nti ente eyo ya langi eyakyenvu ng’ennyikidde bulungi nnyo, nga esanyusa abalabi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالُواْ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ يُبَيِّن لَّنَا مَا هِيَ إِنَّ ٱلۡبَقَرَ تَشَٰبَهَ عَلَيۡنَا وَإِنَّآ إِن شَآءَ ٱللَّهُ لَمُهۡتَدُونَ
(Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukama Wo atunnyonnyole nte ki eyo? Mazima ente zonna ze zimu gye tuli. Era mazima ffe Katonda bwan'aba ayagadde, tujja kulungama.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَالَ إِنَّهُۥ يَقُولُ إِنَّهَا بَقَرَةٞ لَّا ذَلُولٞ تُثِيرُ ٱلۡأَرۡضَ وَلَا تَسۡقِي ٱلۡحَرۡثَ مُسَلَّمَةٞ لَّا شِيَةَ فِيهَاۚ قَالُواْ ٱلۡـَٰٔنَ جِئۡتَ بِٱلۡحَقِّۚ فَذَبَحُوهَا وَمَا كَادُواْ يَفۡعَلُونَ
(Musa) n'agamba nti: (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَتَلۡتُمۡ نَفۡسٗا فَٱدَّٰرَٰءۡتُمۡ فِيهَاۖ وَٱللَّهُ مُخۡرِجٞ مَّا كُنتُمۡ تَكۡتُمُونَ
Era mujjukire lwe mwatta omuntu, olwonno ne mwerumiriza okuttibwa kwe. So nga ate Allah yali Waakuggyayo ebyo bye mwali mukisizza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَقُلۡنَا ٱضۡرِبُوهُ بِبَعۡضِهَاۚ كَذَٰلِكَ يُحۡيِ ٱللَّهُ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَيُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ
Ne tugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bw'atyo Allah bw'alizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero Bwe (obulaga obuyinza Bwe) mulyoke mutegeere.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ قَسَتۡ قُلُوبُكُم مِّنۢ بَعۡدِ ذَٰلِكَ فَهِيَ كَٱلۡحِجَارَةِ أَوۡ أَشَدُّ قَسۡوَةٗۚ وَإِنَّ مِنَ ٱلۡحِجَارَةِ لَمَا يَتَفَجَّرُ مِنۡهُ ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ وَإِنَّ مِنۡهَا لَمَا يَشَّقَّقُ فَيَخۡرُجُ مِنۡهُ ٱلۡمَآءُۚ وَإِنَّ مِنۡهَا لَمَا يَهۡبِطُ مِنۡ خَشۡيَةِ ٱللَّهِۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
Oluvannyuma lw'ebyo emitima gyammwe gyakakanyala negifaananako enjazi oba okusingawo mu bukakanyavu; anti enjazi ezimu zifukumukamu emigga, ne mubaamu ezeeyasaamu ne zivaamu amazzi, n'ezimu ku zo zikka olwokutya Allah. Era Allah tagayaalirira bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ أَفَتَطۡمَعُونَ أَن يُؤۡمِنُواْ لَكُمۡ وَقَدۡ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ يَسۡمَعُونَ كَلَٰمَ ٱللَّهِ ثُمَّ يُحَرِّفُونَهُۥ مِنۢ بَعۡدِ مَا عَقَلُوهُ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ
Abaffe (Abakkiriza) mwagala (Abayudaaya) okuba nga bakkiriza Eddiini yammwe, so nga ekiwayi ekimu mu bo bawulira Ebigambo bya Allah oluvannyuma ne babikyusa nga bamaze okubitegeera. Kino nga bakikola mu bugenderevu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا لَقُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَا بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ قَالُوٓاْ أَتُحَدِّثُونَهُم بِمَا فَتَحَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمۡ لِيُحَآجُّوكُم بِهِۦ عِندَ رَبِّكُمۡۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
(Abayudaaya) bwe baasisinkananga Abakkiriza nga bagamba nti tukkirizza. Kyokka nga bwe baba bokka na bokka, abamu bagamba bannaabwe nti muyinza mutya okubabuulira ebyo Allah bye yababikkulira ate nga bajja kubasingisa nabyo omusango ewa Mukama Wammwe (Katonda), abaffe temutegeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَوَلَا يَعۡلَمُونَ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَ
Abaffe tebamanyi nti mazima Allah amanyi ebyo bye bakisa n'ebyo bye boolesa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنۡهُمۡ أُمِّيُّونَ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّآ أَمَانِيَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَظُنُّونَ
Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taulaati). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kye baliko, okuggyako bateebereza buteebereza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ يَكۡتُبُونَ ٱلۡكِتَٰبَ بِأَيۡدِيهِمۡ ثُمَّ يَقُولُونَ هَٰذَا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ لِيَشۡتَرُواْ بِهِۦ ثَمَنٗا قَلِيلٗاۖ فَوَيۡلٞ لَّهُم مِّمَّا كَتَبَتۡ أَيۡدِيهِمۡ وَوَيۡلٞ لَّهُم مِّمَّا يَكۡسِبُونَ
Kaakubajjuutuka abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwe bamala ne bagamba nti kino kivudde eri Allah, nga kye bagenderera kuwaanyisaamu (byanfuna bya nsi) eby'omuwendo ogwawansi. Zibasanze olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, era zibasanze olw'ebyo bye bapakasa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالُواْ لَن تَمَسَّنَا ٱلنَّارُ إِلَّآ أَيَّامٗا مَّعۡدُودَةٗۚ قُلۡ أَتَّخَذۡتُمۡ عِندَ ٱللَّهِ عَهۡدٗا فَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ عَهۡدَهُۥٓۖ أَمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ
Era (Abayudaaya) baagamba nti: Omuliro tegugenda kututuukako okuggyako nnaku mbale. Bagambe nti: Abaffe mwakola endagaano ne Allah, Allah alyoke abe nga tagenda kugyawukanako? Oba mwogera ku Allah bye mutamanyi?
Arabiske fortolkninger (tafasir):
بَلَىٰۚ مَن كَسَبَ سَيِّئَةٗ وَأَحَٰطَتۡ بِهِۦ خَطِيٓـَٔتُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Nedda nedda, (ekituufu kiri nti) omuntu bw'akola ekibi, ekyonoono kye ne kimumalawo; abantu abo baakuyingira Omuliro era nga baakugutuulamu olubeerera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Ate bo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi; abo be b'okuyingira Ennyumba ey'emirembe; era baakugituulamu olubeerera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ لَا تَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَانٗا وَذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَقُولُواْ لِلنَّاسِ حُسۡنٗا وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ ثُمَّ تَوَلَّيۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنكُمۡ وَأَنتُم مُّعۡرِضُونَ
Era mujjukire awo we twakozeseza abaana ba Yisirayiri endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okuggyako Allah. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo esswala, mutoole ne Zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okuggyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَكُمۡ لَا تَسۡفِكُونَ دِمَآءَكُمۡ وَلَا تُخۡرِجُونَ أَنفُسَكُم مِّن دِيَٰرِكُمۡ ثُمَّ أَقۡرَرۡتُمۡ وَأَنتُمۡ تَشۡهَدُونَ
Era mujjukire lwe twabakozesa Endagaano nti: Temuuyiwenga musaayi gwammwe, era temwegobaganyenga mu mayumba. Endagaano mwagikkiriza, era nga mmwe mwennyini ekyo mukiwaako obujulizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ أَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ تَقۡتُلُونَ أَنفُسَكُمۡ وَتُخۡرِجُونَ فَرِيقٗا مِّنكُم مِّن دِيَٰرِهِمۡ تَظَٰهَرُونَ عَلَيۡهِم بِٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡعُدۡوَٰنِ وَإِن يَأۡتُوكُمۡ أُسَٰرَىٰ تُفَٰدُوهُمۡ وَهُوَ مُحَرَّمٌ عَلَيۡكُمۡ إِخۡرَاجُهُمۡۚ أَفَتُؤۡمِنُونَ بِبَعۡضِ ٱلۡكِتَٰبِ وَتَكۡفُرُونَ بِبَعۡضٖۚ فَمَا جَزَآءُ مَن يَفۡعَلُ ذَٰلِكَ مِنكُمۡ إِلَّا خِزۡيٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُرَدُّونَ إِلَىٰٓ أَشَدِّ ٱلۡعَذَابِۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
Wabula ate mmwe mwennyini muttinngana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gaabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwe baba babajjidde mubanunula n'okuwaayo ennunuzi, awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gaabwe kyaziyizibwa. Abaffe mu Kitabo mukkirizaamu bitundu bimu ne muwakanya ebitundu ebirala? Kiki kye musuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okuggyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Allah tagayaalirira ebyo bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا بِٱلۡأٓخِرَةِۖ فَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ
Abo nno beebo abaawaanyisa obulamu bw'enkomerero ne batwalamu obw'ensi, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo wadde okutaasibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَقَفَّيۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِۦ بِٱلرُّسُلِۖ وَءَاتَيۡنَا عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَأَيَّدۡنَٰهُ بِرُوحِ ٱلۡقُدُسِۗ أَفَكُلَّمَا جَآءَكُمۡ رَسُولُۢ بِمَا لَا تَهۡوَىٰٓ أَنفُسُكُمُ ٱسۡتَكۡبَرۡتُمۡ فَفَرِيقٗا كَذَّبۡتُمۡ وَفَرِيقٗا تَقۡتُلُونَ
Mazima twawa Musa ekitabo (Tawulaati) oluvannyuma lwe ne tumugoberezaako Ababaka. Era netuwa Yisa mutabani wa Mariamu obubonero obw'olwatu ne tumuwagira ne Mwoyo Mutukuvu (Malayika Jibuliiru). Abaffe, buli lwonna Omubaka (wa Katonda) lw'abajjira n'ebyo bye mutayagala olwo nga mwekuluntaza! Abamu (ku Babaka) mubalimbisa ate abalala ne mubatta.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالُواْ قُلُوبُنَا غُلۡفُۢۚ بَل لَّعَنَهُمُ ٱللَّهُ بِكُفۡرِهِمۡ فَقَلِيلٗا مَّا يُؤۡمِنُونَ
Ne bagamba nti emitima gyaffe mizibikivu. Wabula Allah yabakolimira. Kalenno bakkiriza kitono nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَمَّا جَآءَهُمۡ كِتَٰبٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ مُصَدِّقٞ لِّمَا مَعَهُمۡ وَكَانُواْ مِن قَبۡلُ يَسۡتَفۡتِحُونَ عَلَى ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَلَمَّا جَآءَهُم مَّا عَرَفُواْ كَفَرُواْ بِهِۦۚ فَلَعۡنَةُ ٱللَّهِ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ
Ekitabo (Kulaani) okuva ewa Allah bwe kyabajjira nga kikakasa bye baalina, ate nga mu kusooka baali basaba Katonda abataase ku batakkiriza (abe nga abatumira Nnabbi gwe baali balindirira). Wabula bwe yabajjira oyo gwe baali bamanyi, baamuwakanya. Ekikolimo kya Allah kibeere ku batakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
بِئۡسَمَا ٱشۡتَرَوۡاْ بِهِۦٓ أَنفُسَهُمۡ أَن يَكۡفُرُواْ بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ بَغۡيًا أَن يُنَزِّلَ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۖ فَبَآءُو بِغَضَبٍ عَلَىٰ غَضَبٖۚ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٞ مُّهِينٞ
Kibi nnyo ekyo kye baawaanyisaamu emyoyo gyabwe olw'obutakkiriza ebyo Allah bye yassa nga kiva ku nsaalwa okuba nti Allah assa Ekyengera Kye (Obwannabbi) kw'oyo gw'aba ayagadde mu baddu Be. Ekyo kyabatuusa ku kusunguwalirwa Allah, nga kweyongera ku kusunguwalirwa okulala. Abatakkiriza balina ebibonerezo ebibakkakkanya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ ءَامِنُواْ بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ قَالُواْ نُؤۡمِنُ بِمَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا وَيَكۡفُرُونَ بِمَا وَرَآءَهُۥ وَهُوَ ٱلۡحَقُّ مُصَدِّقٗا لِّمَا مَعَهُمۡۗ قُلۡ فَلِمَ تَقۡتُلُونَ أَنۢبِيَآءَ ٱللَّهِ مِن قَبۡلُ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
Bwe baba bagambiddwa nti mukkirize ebyo Allah bye yassa, bagamba nti: tukkiriza ebyo ebyassibwa ku ffe, ate ne bawakanya ekitali byo (ekyajja oluvannyuma). so nga (Kulaani) ge mazima agakakasa ebyo bye balina. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Lwaki mu kusooka mwattanga Bannabbi ba Allah, bwe muba nga ddala muli Bakkiriza!
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَلَقَدۡ جَآءَكُم مُّوسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ ثُمَّ ٱتَّخَذۡتُمُ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِهِۦ وَأَنتُمۡ ظَٰلِمُونَ
Mazima Musa yajja gyemuli n'obunnyonnnyofu wabula ate bwe yavaawo okugenda (okunona amateeka) ne mweteerawo ennyana ne mugisinza. Mu kikolwa ekyo mwali balyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَكُمۡ وَرَفَعۡنَا فَوۡقَكُمُ ٱلطُّورَ خُذُواْ مَآ ءَاتَيۡنَٰكُم بِقُوَّةٖ وَٱسۡمَعُواْۖ قَالُواْ سَمِعۡنَا وَعَصَيۡنَا وَأُشۡرِبُواْ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلۡعِجۡلَ بِكُفۡرِهِمۡۚ قُلۡ بِئۡسَمَا يَأۡمُرُكُم بِهِۦٓ إِيمَٰنُكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
Era mujjukire lwe twabakozesa Endagaano, era ne tuwanika olusozi waggulu wammwe. Ne tubagamba nti: bye tubawadde mubikwate n'amaanyi era muwulire. Baayanukula ne bagamba nti, tuwulidde ne tujeema. Emitima gyabwe gyabbinkira mu kusinza ennyana olw'obutakkiriza bwabwe. Bagambe nti kibi nnyo enzikiriza yammwe ky'ebalagira bwe muba nga ddala muli Bakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قُلۡ إِن كَانَتۡ لَكُمُ ٱلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ عِندَ ٱللَّهِ خَالِصَةٗ مِّن دُونِ ٱلنَّاسِ فَتَمَنَّوُاْ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Bagambe nti: Ennyumba ey'enkomerero bw'eba nga yeeyawulidde mmwe mwekka ewa Allah so si abantu abalala bonna, kale mwegombe okufa bwe muba nga mwogera mazima.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَن يَتَمَنَّوۡهُ أَبَدَۢا بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّٰلِمِينَ
Lubeerera tebagenda kukwegomba (okufa) okusinziira kw'ebyo bye baakola. Allah amanyi nnyo abalyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَتَجِدَنَّهُمۡ أَحۡرَصَ ٱلنَّاسِ عَلَىٰ حَيَوٰةٖ وَمِنَ ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْۚ يَوَدُّ أَحَدُهُمۡ لَوۡ يُعَمَّرُ أَلۡفَ سَنَةٖ وَمَا هُوَ بِمُزَحۡزِحِهِۦ مِنَ ٱلۡعَذَابِ أَن يُعَمَّرَۗ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِمَا يَعۡمَلُونَ
Era ddala ojja kubasanga nga be basinga abantu bonna okululunkanira obulamu. Era be basinga okubwagalala okusinga ku abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda nga n'omu ku bo yeegomba okuwangaala emyaka lukumi, so nga eky'okuwangaala ebbanga eddene tekimuwonya bibonerezo. Allah alaba bulungi bye bakola byonna.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قُلۡ مَن كَانَ عَدُوّٗا لِّـجِبۡرِيلَ فَإِنَّهُۥ نَزَّلَهُۥ عَلَىٰ قَلۡبِكَ بِإِذۡنِ ٱللَّهِ مُصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيۡهِ وَهُدٗى وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ
Bagambe nti omuntu awalana Jibuliiru, (ateekwa amanye nti) mazima yye (Jibuliiru) yakuleetera Kulaani n'agissa ku mutima gwo nga asinziira ku Kiragiro kya Allah, nga ekakasa Ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulunngamya na kusanyusa eri Abakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
مَن كَانَ عَدُوّٗا لِّلَّهِ وَمَلَٰٓئِكَتِهِۦ وَرُسُلِهِۦ وَجِبۡرِيلَ وَمِيكَىٰلَ فَإِنَّ ٱللَّهَ عَدُوّٞ لِّلۡكَٰفِرِينَ
Omuntu abeera omulabe wa Allah ne Bamalayika Be, ne Ababaka Be, ne Jibuliiru ne Mikayiri, mazima ddala Allah Mulabe eri abatakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَقَدۡ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖۖ وَمَا يَكۡفُرُ بِهَآ إِلَّا ٱلۡفَٰسِقُونَ
Mazima twassa gy'oli obubonero obweyolefu, era tewali babuwakanya okuggyako aboonoonefu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَوَكُلَّمَا عَٰهَدُواْ عَهۡدٗا نَّبَذَهُۥ فَرِيقٞ مِّنۡهُمۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
Abaffe buli lwonna (Abayudaaya) lwe baakola endagaano, ekibinja mu bo kijaawukanako? Wabula (ekyo bakikola (kubanga) abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَمَّا جَآءَهُمۡ رَسُولٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ مُصَدِّقٞ لِّمَا مَعَهُمۡ نَبَذَ فَرِيقٞ مِّنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ كِتَٰبَ ٱللَّهِ وَرَآءَ ظُهُورِهِمۡ كَأَنَّهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
Era Omubaka (Nnabbi Muhammadi ) bwe yajja gyebali okuva eri Allah nga akakasa ebyo bye baali balina, ekiwayi ekimu mw'abo abaaweebwa Ekitabo (Tawulaati), baasuula ebbali Ekitabo kya Allah nga balinga abatamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱتَّبَعُواْ مَا تَتۡلُواْ ٱلشَّيَٰطِينُ عَلَىٰ مُلۡكِ سُلَيۡمَٰنَۖ وَمَا كَفَرَ سُلَيۡمَٰنُ وَلَٰكِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ كَفَرُواْ يُعَلِّمُونَ ٱلنَّاسَ ٱلسِّحۡرَ وَمَآ أُنزِلَ عَلَى ٱلۡمَلَكَيۡنِ بِبَابِلَ هَٰرُوتَ وَمَٰرُوتَۚ وَمَا يُعَلِّمَانِ مِنۡ أَحَدٍ حَتَّىٰ يَقُولَآ إِنَّمَا نَحۡنُ فِتۡنَةٞ فَلَا تَكۡفُرۡۖ فَيَتَعَلَّمُونَ مِنۡهُمَا مَا يُفَرِّقُونَ بِهِۦ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَزَوۡجِهِۦۚ وَمَا هُم بِضَآرِّينَ بِهِۦ مِنۡ أَحَدٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَيَتَعَلَّمُونَ مَا يَضُرُّهُمۡ وَلَا يَنفَعُهُمۡۚ وَلَقَدۡ عَلِمُواْ لَمَنِ ٱشۡتَرَىٰهُ مَا لَهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنۡ خَلَٰقٖۚ وَلَبِئۡسَ مَا شَرَوۡاْ بِهِۦٓ أَنفُسَهُمۡۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ
Ne bagoberera ebyo Sitaane bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulayimaani (nga babalowoozesa nti Sulayimaani lye yakozesanga), so nga Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula Sitaane ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku Bamalayika ababiri e Babilooni, Haaruuta ne Maaruuta. Te baayigirizanga mu ntu yenna okutuusa nga bamaze okumugamba nti: "Mazima ffe tuli kigezo tojeemera Allah". Ne bayiga ku Bamalayika abo kye basobola okwawula nakyo wakati w'omuntu ne mukyala we. Naye baali tebayinza kukosa n'eddogo eryo omuntu yenna okuggyako nga Allah asazeewo. Ne bayiga ebibakosa kyokka nga tebibayamba. Mazima baakitegeera bulungi nti awaanyisa eddogo mu Bigambo bya Allah ku Nkomerero talinaayo mugabo gwonna. Kibi nnyo kye baawaanyisaamu emyoyo gyabwe singa baali bamanyi (tebaalikikoze).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَوۡ أَنَّهُمۡ ءَامَنُواْ وَٱتَّقَوۡاْ لَمَثُوبَةٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ خَيۡرٞۚ لَّوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ
Wabula singa mazima bo bakkiriza Allah era ne bamutya, baalifunye empeera ennungi okuva eri Allah singa baali bamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَقُولُواْ رَٰعِنَا وَقُولُواْ ٱنظُرۡنَا وَٱسۡمَعُواْۗ وَلِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٞ
Abange mmwe Abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nnabbi Muhammadi) wabula mugambenga nti: "Undhurnaa". Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebirumya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
مَّا يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَلَا ٱلۡمُشۡرِكِينَ أَن يُنَزَّلَ عَلَيۡكُم مِّنۡ خَيۡرٖ مِّن رَّبِّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَخۡتَصُّ بِرَحۡمَتِهِۦ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ
Abo abatakkiriza Allah n'Omubaka We mu baaweebwa Ekitabo, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gyemuli okuva eri Omulezi Wammwe. So nga Allah assa okusaasira Kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Allah Ye Nnannyini byengera ebingi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ مَا نَنسَخۡ مِنۡ ءَايَةٍ أَوۡ نُنسِهَا نَأۡتِ بِخَيۡرٖ مِّنۡهَآ أَوۡ مِثۡلِهَآۗ أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ
Buli Aaya yonna gye tusangulawo oba gye tukwerabiza, tuleetamu egisingako oba egifaanana. Abaffe tomanyi nti mazima ddala Allah Muyinza ku buli kintu?
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۗ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٍ
Abaffe, tomanyi nti mazima ddala obufuzi bw'eggulu (omusanvu) n'ensi bwa Allah, era nga temulinaayo mukuumi yenna wadde omutaasa atali Yye.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَمۡ تُرِيدُونَ أَن تَسۡـَٔلُواْ رَسُولَكُمۡ كَمَا سُئِلَ مُوسَىٰ مِن قَبۡلُۗ وَمَن يَتَبَدَّلِ ٱلۡكُفۡرَ بِٱلۡإِيمَٰنِ فَقَدۡ ضَلَّ سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ
Wabula mulabika mwagala kubuuza Mubaka Wammwe nga Musa bwe yabuuzibwa olubereberye. Omuntu awaanyisa obutakkiriza mu Bukkiriza aba abuze okuva ku kkubo eryawakati.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَدَّ كَثِيرٞ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَوۡ يَرُدُّونَكُم مِّنۢ بَعۡدِ إِيمَٰنِكُمۡ كُفَّارًا حَسَدٗا مِّنۡ عِندِ أَنفُسِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡحَقُّۖ فَٱعۡفُواْ وَٱصۡفَحُواْ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ ٱللَّهُ بِأَمۡرِهِۦٓۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
Bangi mu bantu abaaweebwa Ekitabo baagala babakyuse oluvannyuma lw'Okukkiriza kwammwe babafuule abatakkiriza olw'ensaalwa eri mu mitima gyabwe oluvannyuma lw'amazima okubeeyoleka. Kale (mmwe Abasiraamu) musonyiwe era muleke (abo abaaweebwa Ekitabo) okutuusa Allah lw'anaaleeta Ekiragiro Kye, mazima Allah Muyinza ku buli kintu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
Era muyimirizeewo esswala, mutoole ne Zzaka. Na buli kalungi konna ke mwekolera mugenda kukasanga ewa Allah. Mazima Allah alaba mu bujjuvu bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالُواْ لَن يَدۡخُلَ ٱلۡجَنَّةَ إِلَّا مَن كَانَ هُودًا أَوۡ نَصَٰرَىٰۗ تِلۡكَ أَمَانِيُّهُمۡۗ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Era baagamba (nga bakubagana empawa) mpaawo agenda kuyingira Jjana okuggyako abaali mu ddiini y'Abayudaaya oba ey'Abanaswara. Okwo nno kwe kwegomba kwabwe. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti, muleete obujulizi bwammwe bwe muba nga mwogera mazima.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
بَلَىٰۚ مَنۡ أَسۡلَمَ وَجۡهَهُۥ لِلَّهِ وَهُوَ مُحۡسِنٞ فَلَهُۥٓ أَجۡرُهُۥ عِندَ رَبِّهِۦ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Wabula ekituufu kiri nti omuntu eyeewaayo n'ayolekeza ekyenyi kye eri Allah, era nga alongoosa, waakufuna empeera ye ew'Omutonzi We. Abantu abo tebagenda kufuna kutya wadde okunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ لَيۡسَتِ ٱلنَّصَٰرَىٰ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَقَالَتِ ٱلنَّصَٰرَىٰ لَيۡسَتِ ٱلۡيَهُودُ عَلَىٰ شَيۡءٖ وَهُمۡ يَتۡلُونَ ٱلۡكِتَٰبَۗ كَذَٰلِكَ قَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ مِثۡلَ قَوۡلِهِمۡۚ فَٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ
Abayudaaya baagamba nti Abanaswara tebalina kye baliko, n'Abanaswara ne bagamba nti: Abayudaaya tebalina kye baliko, so nga ate bonna basoma Ekitabo. Bwekityo n'abatamanyi kusoma nabo baayogera ekigambo ekifaananako ekya bali. Allah aliramula wakati waabwe ku Lunaku lw’Enkomerero ku ebyo bye baalinga baawukanamu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن مَّنَعَ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ أَن يُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ وَسَعَىٰ فِي خَرَابِهَآۚ أُوْلَٰٓئِكَ مَا كَانَ لَهُمۡ أَن يَدۡخُلُوهَآ إِلَّا خَآئِفِينَۚ لَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٞ
Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okwogera ku Linnya lya Allah mu mizikiti Gye, ng'afuba okugyonoona. Abo tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku Lunaku lw'Enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلِلَّهِ ٱلۡمَشۡرِقُ وَٱلۡمَغۡرِبُۚ فَأَيۡنَمَا تُوَلُّواْ فَثَمَّ وَجۡهُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ
Obuvanjuba n'obugwanjuba bwa Allah, kale yonna gyemuba mwolekedde nga musaala eyo y'eri obwolekero bwa Allah, mazima Allah Mugazi mu ngeri zonna era Mumanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۖ بَل لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ كُلّٞ لَّهُۥ قَٰنِتُونَ
Baagamba nti Allah alina omwana. Allah ali wala nnyo n'ekyo. Wabula ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna (bitonde Bye) era bimugondera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
بَدِيعُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَإِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ
Ye Mutandisi W'eggulu n'ensi. Bw'aba asazeewo ensonga yonna agamba bugambi nti: "Ba" ne kiba.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ لَوۡلَا يُكَلِّمُنَا ٱللَّهُ أَوۡ تَأۡتِينَآ ءَايَةٞۗ كَذَٰلِكَ قَالَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِم مِّثۡلَ قَوۡلِهِمۡۘ تَشَٰبَهَتۡ قُلُوبُهُمۡۗ قَدۡ بَيَّنَّا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يُوقِنُونَ
Abo abatalina kye bamanyi baagamba nti: Singa Allah ayogera naffe butereevu, oba ne tuwebwa Ekyamagero. Ekigambo ekyo n'abo abaabasooka baakyogera emitima gyabwe gyafaanagana, (mukitegeere nti) mazima twannyonnyola obujulizi eri abantu abakakasa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّآ أَرۡسَلۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ بَشِيرٗا وَنَذِيرٗاۖ وَلَا تُسۡـَٔلُ عَنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡجَحِيمِ
Mazima Ffe twakutuma n'amazima nga oli musanyusa era omutiisa era togenda kubuuzibwa ku bantu ba mu Muliro.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَن تَرۡضَىٰ عَنكَ ٱلۡيَهُودُ وَلَا ٱلنَّصَٰرَىٰ حَتَّىٰ تَتَّبِعَ مِلَّتَهُمۡۗ قُلۡ إِنَّ هُدَى ٱللَّهِ هُوَ ٱلۡهُدَىٰۗ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم بَعۡدَ ٱلَّذِي جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَكَ مِنَ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٍ
Abayudaaya wadde Abanaswara tebagenda kukusiima okuggyako nga ogoberedde enzikiriza yaabwe. Bagambe nti mazima okulunngamya kwa Allah kwe kulunngama okwannamaddsla. (Ndayira) Singa onoogoberera bye baagala oluvannyuma lw'okumanya okukujjidde, togenda kufuna waamukwano wadde omutaasa abanaakutaasa ku Allah.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَتۡلُونَهُۥ حَقَّ تِلَاوَتِهِۦٓ أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۗ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ
Abo be twawa Ekitabo bakisoma mu butuufu bw'okukisoma, abo bakikkiriza, naye abanaakiwakanya beebo ab'okufaafaaganirwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتِيَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتُ عَلَيۡكُمۡ وَأَنِّي فَضَّلۡتُكُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ
Abange abaana ba Yisirayiri, mujjukire ebyengera Byange bye nnabagabira era mazima Nze nnabasukkulumya ku bantu abalala bonna (ab'okumulembe gwammwe olw'okubaggyamu Bannabbi abangi).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا لَّا تَجۡزِي نَفۡسٌ عَن نَّفۡسٖ شَيۡـٔٗا وَلَا يُقۡبَلُ مِنۡهَا عَدۡلٞ وَلَا تَنفَعُهَا شَفَٰعَةٞ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ
Era mutye n'Olunaku omuntu lw'ataligasa muntu munne mu kintu kyonna, n'ennunuzi y'omuntu lw'eterikkirizibwa, wadde okuwolereza tekulimugasa, era nga tebagenda kutaasibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَإِذِ ٱبۡتَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِـۧمَ رَبُّهُۥ بِكَلِمَٰتٖ فَأَتَمَّهُنَّۖ قَالَ إِنِّي جَاعِلُكَ لِلنَّاسِ إِمَامٗاۖ قَالَ وَمِن ذُرِّيَّتِيۖ قَالَ لَا يَنَالُ عَهۡدِي ٱلظَّٰلِمِينَ
Jjukira ekiseera Katonda lwe yagezesa Ibraahiimu n'ebiragiro (Ibraahiimu) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nja kukufuula omukulembeze w'abantu. (Ibraahiimu) n'agamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti Endagaano Yange tetwaliramu balyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ جَعَلۡنَا ٱلۡبَيۡتَ مَثَابَةٗ لِّلنَّاسِ وَأَمۡنٗا وَٱتَّخِذُواْ مِن مَّقَامِ إِبۡرَٰهِـۧمَ مُصَلّٗىۖ وَعَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ إِبۡرَٰهِـۧمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ أَن طَهِّرَا بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡعَٰكِفِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ
Era jjukira ekiseera we twafuulira Ennyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'eddembe, era ne tubalagira nti; ekifo Ibraahiimu mwe yayimirira mukifuule awasaalirwa. Era twalaamira Ibraahiimu ne Ismail nti Ennyumba Yange mugitukulizanga abagyetooloola n'abagituulamu eitkaafu, n'abo abakutama abavunnama.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ ٱجۡعَلۡ هَٰذَا بَلَدًا ءَامِنٗا وَٱرۡزُقۡ أَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ مَنۡ ءَامَنَ مِنۡهُم بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ قَالَ وَمَن كَفَرَ فَأُمَتِّعُهُۥ قَلِيلٗا ثُمَّ أَضۡطَرُّهُۥٓ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلنَّارِۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
Era Jjukira ekiseera awo Ibraahiimu we yagambira nti: Ayi Mukama Katonda Wange ekibuga kino kifuule kya ddembe era ogabirire abantu baamu ebibala, oyo anakkirizanga Allah n'Olunaku lw'Enkomerero. N'agamba nti: N'oyo atakkiriza (ηŋenda kumugabiriranga mmusanyuse akaseera katono oluvannyuma ηŋenda kumukulubbya eri Ebibonerezo by'Omuliro. Era buddo bubi ddala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ يَرۡفَعُ إِبۡرَٰهِـۧمُ ٱلۡقَوَاعِدَ مِنَ ٱلۡبَيۡتِ وَإِسۡمَٰعِيلُ رَبَّنَا تَقَبَّلۡ مِنَّآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ
Era jjukira ekiseera Ibraahiimu ne Ismail we baasitulira omusingi gw'Ennyumba (Kaaba) nga bagamba nti: Ayi Mukama Katonda Waffe, kkiriza omulimu gwaffe guno, mazima Ggwe Oli Muwulizi era Omumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
رَبَّنَا وَٱجۡعَلۡنَا مُسۡلِمَيۡنِ لَكَ وَمِن ذُرِّيَّتِنَآ أُمَّةٗ مُّسۡلِمَةٗ لَّكَ وَأَرِنَا مَنَاسِكَنَا وَتُبۡ عَلَيۡنَآۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ
Ayi Mukama (Katonda) Omulezi Waffe, tufuule ffembi abeewaayo Gy'oli (ne bakugondera) era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo Gy'oli (ne bakugondera), era otulage (otumanyise) emikolo gyaffe egy'okusinza bwe tugituukirizaamu (omuli egya Hijja n'emirala). Era tusonyiwe, mazima Ggwe Oli Musonyiyi Omusaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
رَبَّنَا وَٱبۡعَثۡ فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِكَ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُزَكِّيهِمۡۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ
Ayi Mukama Katonda Omulezi Waffe era batumemu Omubaka ng'ava mu bo nga abasomera Ebigambo Byo era nga abayigiriza Ekitabo n'ebintu ebyamagezi era abatukuze. Mazima Ggwe Waamaanyi Omukenkufu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمَن يَرۡغَبُ عَن مِّلَّةِ إِبۡرَٰهِـۧمَ إِلَّا مَن سَفِهَ نَفۡسَهُۥۚ وَلَقَدِ ٱصۡطَفَيۡنَٰهُ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَإِنَّهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ لَمِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ
Tewali yaalyegombye okuva ku Ddiini ya Ibraahiimu okuggyako oyo eyeesiriwaza yekka. Ate nga (Ibraahiimu) mazima twamuwa ekifo eky'enkizo mu nsi era mazima ddala yye ku Lunaku lw'Enkomerero waakubeera mu balongoofu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِذۡ قَالَ لَهُۥ رَبُّهُۥٓ أَسۡلِمۡۖ قَالَ أَسۡلَمۡتُ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Era jjukira ekiseera Omulezi We (Katonda) we yamugambira nti: Jeemulukuka (siramuka). (Ibraahiimu) n'agamba nti; njeemulukukidde Katonda Omulezi W'ebitonde.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَوَصَّىٰ بِهَآ إِبۡرَٰهِـۧمُ بَنِيهِ وَيَعۡقُوبُ يَٰبَنِيَّ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰ لَكُمُ ٱلدِّينَ فَلَا تَمُوتُنَّ إِلَّا وَأَنتُم مُّسۡلِمُونَ
Era Ibraahiimu (ekigambo ky'okwewaayo) yakiraamira abaana be, ne Yakuubu naye bwe yakiraamira ababe nti: Baana bange mazima ddala Allah yabasiimira Eddiini, kale nno okufa tekubatuukangako okuggyako nga muli Basiraamu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَمۡ كُنتُمۡ شُهَدَآءَ إِذۡ حَضَرَ يَعۡقُوبَ ٱلۡمَوۡتُ إِذۡ قَالَ لِبَنِيهِ مَا تَعۡبُدُونَ مِنۢ بَعۡدِيۖ قَالُواْ نَعۡبُدُ إِلَٰهَكَ وَإِلَٰهَ ءَابَآئِكَ إِبۡرَٰهِـۧمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ إِلَٰهٗا وَٰحِدٗا وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ
Abaffe mmwe (Abayudaaya) mwaliwo mu kaseera awo Yakuubu bwe yali anaatera okufa, n'agamba abaana be nti; kiki kye mulisinza oluvannyuma lwange? Ne bagamba nti; tugenda kusinza Katonda Wo era Katonda Wa bakadde bo, Ibraahiimu ne Ismail ne Isihaaka, Katonda Omu Yekka era nga tugenda kumujeemulukukira.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
تِلۡكَ أُمَّةٞ قَدۡ خَلَتۡۖ لَهَا مَا كَسَبَتۡ وَلَكُم مَّا كَسَبۡتُمۡۖ وَلَا تُسۡـَٔلُونَ عَمَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
Ogwo omulembe gwayita, gulina bye gwapakasa, ate nammwe mulina ebyammwe bye mupakasizza. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo bye baali bakola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالُواْ كُونُواْ هُودًا أَوۡ نَصَٰرَىٰ تَهۡتَدُواْۗ قُلۡ بَلۡ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِـۧمَ حَنِيفٗاۖ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ
Era (Abayudaaya n'Abanaswara) baagamba nti; mubeere Bayudaaya oba Banaswara lwemunaaluηηama. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Wabula tugoberera Ddiini ya Ibraahiimu eragira okusinza Katonda omu Yekka, era (Ibraahiimu) tabangako mu bagatta kintu kirala ku Katonda
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قُولُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡنَا وَمَآ أُنزِلَ إِلَىٰٓ إِبۡرَٰهِـۧمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطِ وَمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ وَعِيسَىٰ وَمَآ أُوتِيَ ٱلنَّبِيُّونَ مِن رَّبِّهِمۡ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّنۡهُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُسۡلِمُونَ
(Mmwe Abasiraamu) mugambe nti: Tukkiriza Allah, n'ebyassibwa gyetuli, n'ebyassibwa ku Ibrahiimu, ne Ismail, ne Isihaaka, ne Yakuubu n'eri bazzukulu baabwe. N'ebyo ebyaweebwa Musa ne Yisa na byonna ebyaweebwa Bannabbi abalala nga biva eri Mukama Katonda Omulezi Waabwe era tetubaawulayawulamu era nga naffe twewaddeyo Gy'ali (tuli bajeemulukufu Gy'ali).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِنۡ ءَامَنُواْ بِمِثۡلِ مَآ ءَامَنتُم بِهِۦ فَقَدِ ٱهۡتَدَواْۖ وَّإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا هُمۡ فِي شِقَاقٖۖ فَسَيَكۡفِيكَهُمُ ٱللَّهُۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ
Bwe banakkiririza okufaanana nga kwemwakkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bbo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka (na kwawukana) nayenno Allah ajja kubakukolerako abakumalire. Era Ye (Katonda) y'Awulira ennyo, era y'Amanyi ennyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
صِبۡغَةَ ٱللَّهِ وَمَنۡ أَحۡسَنُ مِنَ ٱللَّهِ صِبۡغَةٗۖ وَنَحۡنُ لَهُۥ عَٰبِدُونَ
(Mwenyweze) ku Ddiini ya Allah. Ate ani alina Eddiini ennungi okusinga eya Allah, era naffe Gwe tusinza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قُلۡ أَتُحَآجُّونَنَا فِي ٱللَّهِ وَهُوَ رَبُّنَا وَرَبُّكُمۡ وَلَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُخۡلِصُونَ
Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti: Mutukaayanya ku bikwata ku Allah, ate nga Ye Mulabirizi Waffe era ye Mulabirizi Wammwe, era naffe tulina emirimu gyaffe nammwe mulina emirimu gyammwe, wabula ate ffe tumwawula mu kumusinza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَمۡ تَقُولُونَ إِنَّ إِبۡرَٰهِـۧمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطَ كَانُواْ هُودًا أَوۡ نَصَٰرَىٰۗ قُلۡ ءَأَنتُمۡ أَعۡلَمُ أَمِ ٱللَّهُۗ وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن كَتَمَ شَهَٰدَةً عِندَهُۥ مِنَ ٱللَّهِۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
Oba mugamba nti; mazima Ibraahiimu ne Ismail ne Isihaaka ne Yakuubu ne bazzukulu baabwe baali Bayudaaya oba Banaswara. Bagambe (ggwe Nnabbi Muhammadi) nti abaffe mmwe musinga okumanya, oba Allah? Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo akweka obujulizi bw'alina obuva eri Allah? Allah ebyo bye mukola tabigayaaliridde.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
تِلۡكَ أُمَّةٞ قَدۡ خَلَتۡۖ لَهَا مَا كَسَبَتۡ وَلَكُم مَّا كَسَبۡتُمۡۖ وَلَا تُسۡـَٔلُونَ عَمَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
Omulembe ogwo gwayita, gulina bye gwapakasa nammwe mulina bye mupakasizza. Era temugenda kubuuzibwa kw'ebyo bye baakolanga.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ سَيَقُولُ ٱلسُّفَهَآءُ مِنَ ٱلنَّاسِ مَا وَلَّىٰهُمۡ عَن قِبۡلَتِهِمُ ٱلَّتِي كَانُواْ عَلَيۡهَاۚ قُل لِّلَّهِ ٱلۡمَشۡرِقُ وَٱلۡمَغۡرِبُۚ يَهۡدِي مَن يَشَآءُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
Ababuyabuya mu bantu bajja kugamba nti kiki ekyabaggya ku bwolekero bwabwe (Baitul-makdis) bwe baaliko, bagambe nti obuvanjuba n'obugwanjuba bwonna bwa Allah. Aluŋŋamya gw'aba ayagadde eri ekkubo eggolokofu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَٰكُمۡ أُمَّةٗ وَسَطٗا لِّتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِ وَيَكُونَ ٱلرَّسُولُ عَلَيۡكُمۡ شَهِيدٗاۗ وَمَا جَعَلۡنَا ٱلۡقِبۡلَةَ ٱلَّتِي كُنتَ عَلَيۡهَآ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يَتَّبِعُ ٱلرَّسُولَ مِمَّن يَنقَلِبُ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِۚ وَإِن كَانَتۡ لَكَبِيرَةً إِلَّا عَلَى ٱلَّذِينَ هَدَى ٱللَّهُۗ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُضِيعَ إِيمَٰنَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ
Bwetutyo twabafuula (mmwe) ekibiina ekyenkamu (eky'enkizo), mube nga mmwe muwa obujulizi ku bantu, nga ate mmwe Omubaka (Nnabbi Muhammadi) y'abawaako obujulizi. Tetwateekawo bwolekero (Kibula) Bwe wasooka okwolekera okuggyako lwa kwagala kulaba abagoberezi b'Omubaka abannamaddala obutafaanana n'abo abakyukira ku bisinziiro byabwe. Wabula kino kyali kinene nnyo okuggyako kw'abo Allah be yaluŋŋamya. Era Allah tayinza kwonoona Bukkiriza bwammwe. Mazima Allah alumirirwa abantu era Musaasizi nnyo ku bo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
قَدۡ نَرَىٰ تَقَلُّبَ وَجۡهِكَ فِي ٱلسَّمَآءِۖ فَلَنُوَلِّيَنَّكَ قِبۡلَةٗ تَرۡضَىٰهَاۚ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَحَيۡثُ مَا كُنتُمۡ فَوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ شَطۡرَهُۥۗ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ لَيَعۡلَمُونَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّهِمۡۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا يَعۡمَلُونَ
Tulaba nga okyusa ekyenyi kyo nga otunula ku ggulu (ggwe Muhammadi nga olinda Obubaka ku nsonga y'obwolekero (Ekibula). Kalenno tujja kukwolekeza obwolekero bw'oyagala. Kale yolekeza ekyenyi kyo ku luuyi oluliko Omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna we mubeeranga muteekeddwa okwolekeza ebyenyi byammwe oluuyi olwo. Mu mazima abo abaaweebwa Ekitabo bakimanyidde ddala nti bino ge mazima okuva eri Katonda Waabwe. Ate nga Allah talagajjala ku bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَئِنۡ أَتَيۡتَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ بِكُلِّ ءَايَةٖ مَّا تَبِعُواْ قِبۡلَتَكَۚ وَمَآ أَنتَ بِتَابِعٖ قِبۡلَتَهُمۡۚ وَمَا بَعۡضُهُم بِتَابِعٖ قِبۡلَةَ بَعۡضٖۚ وَلَئِنِ ٱتَّبَعۡتَ أَهۡوَآءَهُم مِّنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَكَ مِنَ ٱلۡعِلۡمِ إِنَّكَ إِذٗا لَّمِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Ndayira abo abaaweebwa Ekitabo ne bw'obaleetera obujulizi obufaanana butya tebagenda kugoberera bwolekero bwo, era naawe togenda kugoberera bwolekero bwabwe. So nga n'abamu mu bo si baakugoberera bwolekero bwa balala. Kale nno singa onoogoberera okwagala kwabwe oluvannyuma lw'okumanya kw'ofunye, mazima ddala ggwe ojja kuba ogenze mu luse lw'abantu abalyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ يَعۡرِفُونَهُۥ كَمَا يَعۡرِفُونَ أَبۡنَآءَهُمۡۖ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنۡهُمۡ لَيَكۡتُمُونَ ٱلۡحَقَّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ
Abo be twawa Ekitabo bakimanyi bulungi nga bwe bamanyi abaana baabwe. Wabula ekibinja mu bo bakwekera ddala amazima ate nga bamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُمۡتَرِينَ
Gano ge mazima okuva eri Katonda Wo. Ddala Tobeereranga n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلِكُلّٖ وِجۡهَةٌ هُوَ مُوَلِّيهَاۖ فَٱسۡتَبِقُواْ ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ أَيۡنَ مَا تَكُونُواْ يَأۡتِ بِكُمُ ٱللَّهُ جَمِيعًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
Buli bantu balina oludda lweboolekera. Kale (mmwe Abakkiriza) muvuganye mu kukola ebirungi. Yonna gye muliba mwenna, Allah agenda kubaleeta. Mazima Allah Muyinza ku buli kintu kyonna.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۖ وَإِنَّهُۥ لَلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَۗ وَمَا ٱللَّهُ بِغَٰفِلٍ عَمَّا تَعۡمَلُونَ
Na buli wonna w'onoogendanga yolekeza obwanga bwo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Era ddala gano ge mazima okuva eri Katonda Wo. Allah si mugayaavu ku bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنۡ حَيۡثُ خَرَجۡتَ فَوَلِّ وَجۡهَكَ شَطۡرَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَحَيۡثُ مَا كُنتُمۡ فَوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ شَطۡرَهُۥ لِئَلَّا يَكُونَ لِلنَّاسِ عَلَيۡكُمۡ حُجَّةٌ إِلَّا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡهُمۡ فَلَا تَخۡشَوۡهُمۡ وَٱخۡشَوۡنِي وَلِأُتِمَّ نِعۡمَتِي عَلَيۡكُمۡ وَلَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ
Na buli wonna w'onoobanga ogenze yolekeza ekyenyi kyo oluuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna we munaabeeranga mwolekezenga ebyenyi byammwe oluuyi olwo, waleme kubaawo nsonga yonna bantu gye beekwasa okuggyako abo abalyazaamaanyi mu bo. Temubatya, nze (Katonda) Gwe muba mutya. Olwonno mbajjulize ebyengera Byange, nammwe kibabeerere ensonga y'okulunngama.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِيكُمۡ رَسُولٗا مِّنكُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِنَا وَيُزَكِّيكُمۡ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَيُعَلِّمُكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ
Kino kiri nga bwe twabatumira Omubaka ngr ava mu mmwe n'abeera nga abasomera Ebigambo Byaffe, era nga abatukuza, era nga abayigiriza Ekitabo n'abayigiriza ne Ssunnah, era n'abayigiriza n'ebintu ebirala bye mwali temumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَٱذۡكُرُونِيٓ أَذۡكُرۡكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لِي وَلَا تَكۡفُرُونِ
Kale nno munjogerako mboogereko. Era munneebaze, temugaananga okunneebaza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَعِينُواْ بِٱلصَّبۡرِ وَٱلصَّلَوٰةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّٰبِرِينَ
Abange mmwe Abakkiriza, mweyambise obugumiikiriza n'okusaala olw'okubanga mazima Allah ali wamu n'abagumiikiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا تَقُولُواْ لِمَن يُقۡتَلُ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أَمۡوَٰتُۢۚ بَلۡ أَحۡيَآءٞ وَلَٰكِن لَّا تَشۡعُرُونَ
Era temwogeranga kw'abo abattibwa mu kkubo lya Allah mbu bafu. Wabula eky'amazima baba balamu naye mmwe mutategeera (bulamu bwabwe).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَنَبۡلُوَنَّكُم بِشَيۡءٖ مِّنَ ٱلۡخَوۡفِ وَٱلۡجُوعِ وَنَقۡصٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَنفُسِ وَٱلثَّمَرَٰتِۗ وَبَشِّرِ ٱلصَّٰبِرِينَ
Era ndayira mazima ddala tujja kubagezesa, n'ekintu nga mwe muli okutya, enjala, okukendeera kw'ebyenfuna n'okufa kw'abantu, n'okukendeera kw'ebibala. Wabula sanyusa abagumiikiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ إِذَآ أَصَٰبَتۡهُم مُّصِيبَةٞ قَالُوٓاْ إِنَّا لِلَّهِ وَإِنَّآ إِلَيۡهِ رَٰجِعُونَ
Abo obuzibu be buba butuuseeko ne bagamba nti: Mazima ffe tuli ba Allah (y'atufuga) era ddala ffe Gy'ali gye tujja okudda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ صَلَوَٰتٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَرَحۡمَةٞۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُهۡتَدُونَ
Abo nno balina okusaasirwa okuva eri Mukama Katonda Waabwe, era abo be baluŋŋamu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ إِنَّ ٱلصَّفَا وَٱلۡمَرۡوَةَ مِن شَعَآئِرِ ٱللَّهِۖ فَمَنۡ حَجَّ ٱلۡبَيۡتَ أَوِ ٱعۡتَمَرَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِ أَن يَطَّوَّفَ بِهِمَاۚ وَمَن تَطَوَّعَ خَيۡرٗا فَإِنَّ ٱللَّهَ شَاكِرٌ عَلِيمٌ
Mazima akasozi Swafa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bubonero bwa Allah. Kale nno omuntu aba azze okulambula Ennyumba (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura talina musango kudduka wakati w'obusozi bwombiriri. N'omuntu akola obulungi bwonna mu ngeri ya kyeyagalire , (mumanye nti) Allah yeebaza (asiima), Mumanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡتُمُونَ مَآ أَنزَلۡنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلۡهُدَىٰ مِنۢ بَعۡدِ مَا بَيَّنَّٰهُ لِلنَّاسِ فِي ٱلۡكِتَٰبِ أُوْلَٰٓئِكَ يَلۡعَنُهُمُ ٱللَّهُ وَيَلۡعَنُهُمُ ٱللَّٰعِنُونَ
Mazima abo abakweka ebyo bye twassa mu bujulizi n'obulunngamu oluvannyuma nga tumaze okubinnyonnyola abantu mu Kitabo (kyabwe). Abo nno Allah abakolimira n'abakolimi bonna ne babakolimira.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ وَأَصۡلَحُواْ وَبَيَّنُواْ فَأُوْلَٰٓئِكَ أَتُوبُ عَلَيۡهِمۡ وَأَنَا ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ
Okuggyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno nzikiriza okwenenya kwabwe kuba Nze Muyitirivu E'okukkiriza okweneenya era Nze Musaasizi ennyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَمَاتُواْ وَهُمۡ كُفَّارٌ أُوْلَٰٓئِكَ عَلَيۡهِمۡ لَعۡنَةُ ٱللَّهِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ
Mazima abo abaawakanya ne bafiira ku butakkiriza; Abo baliko Ekikolimo kya Allah ne Bamalayika n'abantu bonna.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابُ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ
(Abantu abo) Balibeera mu Kikolimo obugenderevu, era ebibonerezo tebigenda kubakendeerezebwako, era tebagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلرَّحِيمُ
Mazima Katonda Wammwe ali Katonda omu, tewali asinzibwa - mu butuufu- mulala yenna okuggyako Yye, Ye Nnannyini kisa ekingi Omusaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَٱلۡفُلۡكِ ٱلَّتِي تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِمَا يَنفَعُ ٱلنَّاسَ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن مَّآءٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَبَثَّ فِيهَا مِن كُلِّ دَآبَّةٖ وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ وَٱلسَّحَابِ ٱلۡمُسَخَّرِ بَيۡنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ
Mazima mu kutonda eggulu (ery'emiko omusanvu) n'ensi, n'okukyukakyuka kw'ekiro n'emisana, n'amaato agatambulira ku nnyanja nga geetisse ebintu ebigasa abantu, n'amazzi Allah g'assa okuva waggulu, n'alamusa nago ensi oluvannyuma lw'okuba nga efudde, n'asasaanya mu nsi buli kiramu, ne mu kukyusa empewo n'ebire, ebyateekebwa wakati w'eggulu n'ensi, bubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda n'obuyinza bwe) eri abantu abategeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَتَّخِذُ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَندَادٗا يُحِبُّونَهُمۡ كَحُبِّ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَشَدُّ حُبّٗا لِّلَّهِۗ وَلَوۡ يَرَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِذۡ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ أَنَّ ٱلۡقُوَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا وَأَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعَذَابِ
Naye mu bantu mulimu abaleka Allah, ne basinza ebintu ebirala, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Allah. So nga bo Abakkiriza baagala nnyo Allah Waabwe (Omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku Yye Yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Allah baali basobola okulaba ebibonerezo lwe birituuka, baalibadde bamanya nti amaanyi gonna ga Allah era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Allah Muyitirivu wa kubonereza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِذۡ تَبَرَّأَ ٱلَّذِينَ ٱتُّبِعُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَ وَتَقَطَّعَتۡ بِهِمُ ٱلۡأَسۡبَابُ
Mu kiseera abaagobererwa we balyegaanira abaabagobereranga era ne balaba ku bibonerezo, n'ensonga ezaabagattanga ne zikutukawo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱتَّبَعُواْ لَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَتَبَرَّأَ مِنۡهُمۡ كَمَا تَبَرَّءُواْ مِنَّاۗ كَذَٰلِكَ يُرِيهِمُ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡ حَسَرَٰتٍ عَلَيۡهِمۡۖ وَمَا هُم بِخَٰرِجِينَ مِنَ ٱلنَّارِ
Abaagobereranga baligamba nti: singa tubadde tulina (obusobozi) okudda omulundi omulala ku nsi naffe ne tubeegaana nga bwe batwegaanye. Bw'atyo Allah alibalaga emirimu gyabwe nga kwejjusa gyebali era tebalifuluma kuva mu Muliro.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ كُلُواْ مِمَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ حَلَٰلٗا طَيِّبٗا وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٌ
Abange mmwe abantu, mulye kw'ebyo ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga Sitaane anti yo mulabe wammwe wa lwatu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّمَا يَأۡمُرُكُم بِٱلسُّوٓءِ وَٱلۡفَحۡشَآءِ وَأَن تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ
Mazima Sitaane abalagira kukola bibi, na bya bugwenyufu, n'okwogera ku Allah ebyo bye mutamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱتَّبِعُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ قَالُواْ بَلۡ نَتَّبِعُ مَآ أَلۡفَيۡنَا عَلَيۡهِ ءَابَآءَنَآۚ أَوَلَوۡ كَانَ ءَابَآؤُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ شَيۡـٔٗا وَلَا يَهۡتَدُونَ
Bwe baba nga bagambiddwa nti: Mugoberere ebyo Allah bye yassa (ku Nnabbi Muhammadi) baddamu nga bagamba nti: ffe tugoberera byetwasangako bakadde baffe. Abaffe ne bwebabanga bakadde baabwe baalinga tebategeera kintu kyonna era nga tebaali baluŋŋamu?
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمَثَلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ كَمَثَلِ ٱلَّذِي يَنۡعِقُ بِمَا لَا يَسۡمَعُ إِلَّا دُعَآءٗ وَنِدَآءٗۚ صُمُّۢ بُكۡمٌ عُمۡيٞ فَهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ
Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza (n'oyo abakoowoola okujja eri Obukkiriza) kiringa omulunzi akoowoola ensolo ze ezitawulira zijje gy'ali ne ky'aziyitira, wabula kukoma ku kuwulira okuyita n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakasiru, bamuzibe, bo tebategeera n'akatono.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لِلَّهِ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ
Abange mmwe Abakkiriza, mulye ku birungi mu ebyo byet twabagabirira era mwebaze Allah bwe muba nga ddala Yye, Yekka Gwe musinza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّمَا حَرَّمَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَيۡتَةَ وَٱلدَّمَ وَلَحۡمَ ٱلۡخِنزِيرِ وَمَآ أُهِلَّ بِهِۦ لِغَيۡرِ ٱللَّهِۖ فَمَنِ ٱضۡطُرَّ غَيۡرَ بَاغٖ وَلَا عَادٖ فَلَآ إِثۡمَ عَلَيۡهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٌ
Mazima ddala (Katonda) yabagaana okulya ekifudde kyokka, n'omusaayi , n'ennyama y'embizzi, na buli kyonna ekisaliddwa nga kyogereddwako ekintu ekirala ekitali Allah. Wabula omuntu abeera mu buzibu nga si lwa bujeemu, era n'atasukka kyetaago kye, oyo nno talina musango (bw'aba aliddeko). Mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡتُمُونَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَيَشۡتَرُونَ بِهِۦ ثَمَنٗا قَلِيلًا أُوْلَٰٓئِكَ مَا يَأۡكُلُونَ فِي بُطُونِهِمۡ إِلَّا ٱلنَّارَ وَلَا يُكَلِّمُهُمُ ٱللَّهُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَلَا يُزَكِّيهِمۡ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٌ
Mazima abo abakweka ebyo Allah bye yassa mu Kitabo ne babiwaanyisaamu omuwendo omutono, abo nno buli kye balya guba muliro mu mbuto zaabwe era Allah tagenda kwogera nabo ku Lunaku lw'Enkomerero era tagenda ku batukuza. Erabagenda kussibwako ebibonerezo ebirumya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ ٱشۡتَرَوُاْ ٱلضَّلَٰلَةَ بِٱلۡهُدَىٰ وَٱلۡعَذَابَ بِٱلۡمَغۡفِرَةِۚ فَمَآ أَصۡبَرَهُمۡ عَلَى ٱلنَّارِ
Abo nno beebo abaawaanyisa obubuze mu bulunngamu, n'okubonerezebwa mu kifo ky'okusonyiyibwa. Baliggya wa obuvumu obugumira Omuliro.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ نَزَّلَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّۗ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِي ٱلۡكِتَٰبِ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ
Ekyo kye kiriva kiba bwekityo kubanga Allah yassa Ekitabo lwa mazima. Naye nno mazima abo abatakkaanya ku biri mu Kitabo ddala bali mu kwawukana okuli ewala ennyo n'ekituufu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ لَّيۡسَ ٱلۡبِرَّ أَن تُوَلُّواْ وُجُوهَكُمۡ قِبَلَ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَلَٰكِنَّ ٱلۡبِرَّ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ وَٱلۡكِتَٰبِ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ وَءَاتَى ٱلۡمَالَ عَلَىٰ حُبِّهِۦ ذَوِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَٱلسَّآئِلِينَ وَفِي ٱلرِّقَابِ وَأَقَامَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَى ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُوفُونَ بِعَهۡدِهِمۡ إِذَا عَٰهَدُواْۖ وَٱلصَّٰبِرِينَ فِي ٱلۡبَأۡسَآءِ وَٱلضَّرَّآءِ وَحِينَ ٱلۡبَأۡسِۗ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ صَدَقُواْۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُتَّقُونَ
Obulungi obubalibwa eri Allah, tebwemalidde mu kwolekera kwammwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Allah n'Olunaku lw’Enkomerero, ne Bamalayika n'Ekitabo (Kulaani) ne Bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugagga bwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa ab'oluganda olw'okumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo Esswala, n'atoola ne Zzaka mu by'obugagga bwe. N'abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwe baba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera by'entalo. Abo nno be baamazima, era abo be batya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِصَاصُ فِي ٱلۡقَتۡلَىۖ ٱلۡحُرُّ بِٱلۡحُرِّ وَٱلۡعَبۡدُ بِٱلۡعَبۡدِ وَٱلۡأُنثَىٰ بِٱلۡأُنثَىٰۚ فَمَنۡ عُفِيَ لَهُۥ مِنۡ أَخِيهِ شَيۡءٞ فَٱتِّبَاعُۢ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَأَدَآءٌ إِلَيۡهِ بِإِحۡسَٰنٖۗ ذَٰلِكَ تَخۡفِيفٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَرَحۡمَةٞۗ فَمَنِ ٱعۡتَدَىٰ بَعۡدَ ذَٰلِكَ فَلَهُۥ عَذَابٌ أَلِيمٞ
Abange mmwe Abakkiriza, mulaalikiddwako okuwoolera eggwanga ku nsonga y'abattibwa nga ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana wa boobwe attibwa olw'okutta omwana wa boobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye muganda waabwe ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri ennungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda Wammwe. Oluvannyuma (lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa waakufuna ekibonerezo ekirumya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَكُمۡ فِي ٱلۡقِصَاصِ حَيَوٰةٞ يَٰٓأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ
Mulina mu kuwoolera eggwanga (okuwa abatemu ekibonerezo ky'okufa) obulamu, abange mmwe abalina amagezi, oba olyawo munaatya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كُتِبَ عَلَيۡكُمۡ إِذَا حَضَرَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ إِن تَرَكَ خَيۡرًا ٱلۡوَصِيَّةُ لِلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَ بِٱلۡمَعۡرُوفِۖ حَقًّا عَلَى ٱلۡمُتَّقِينَ
Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo emmaali, ateekwa okulaamira bazadde be bombi n'abooluganda lwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَمَنۢ بَدَّلَهُۥ بَعۡدَ مَا سَمِعَهُۥ فَإِنَّمَآ إِثۡمُهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ يُبَدِّلُونَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Wabula omuntu akyusa ekiraamo, nga amaze okukiwulira; mazima ddala ekibi ky'okukikyusa kiri kw'abo abakikyusa kubanga Allah Muwulizi nnyo, era Mumanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَمَنۡ خَافَ مِن مُّوصٖ جَنَفًا أَوۡ إِثۡمٗا فَأَصۡلَحَ بَيۡنَهُمۡ فَلَآ إِثۡمَ عَلَيۡهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Naye omuntu bwe yeekengera mu mulaami okwekubiira oba okukola ekikyamu (okwekubiira), ye nalongoosa wakati waabwe (abalaamirwa) oyo tayina musango, Mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلصِّيَامُ كَمَا كُتِبَ عَلَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ
Abange mmwe Abakkiriza, mulaalikiddwa okusiiba nga bwe kwalaalikibwa kw'abo abaabakulembera mulyoke mutye Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَيَّامٗا مَّعۡدُودَٰتٖۚ فَمَن كَانَ مِنكُم مَّرِيضًا أَوۡ عَلَىٰ سَفَرٖ فَعِدَّةٞ مِّنۡ أَيَّامٍ أُخَرَۚ وَعَلَى ٱلَّذِينَ يُطِيقُونَهُۥ فِدۡيَةٞ طَعَامُ مِسۡكِينٖۖ فَمَن تَطَوَّعَ خَيۡرٗا فَهُوَ خَيۡرٞ لَّهُۥۚ وَأَن تَصُومُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Musiiba ennaku mbale bubazi, naye oyo an'abeeranga omulwadde mu mmwe, oba ng'ali mu lugendo, (akkirizibwa obutasiiba) ennaku ezo (ze yalyamu) azisiibe mu nnaku endala. Bo abo abasiiba nga bazitoowererwa (bayinza obutasiiba) ne bawa engassi nga baliisa abanaku. Bulijjo omuntu bw'akola ekirungi ekisinga kw'ekyo ky'alagiddwa okukola, kye kirungi gy'ali. Wabula singa musiiba kye kisinga obulungi gyemuli bwe muba nga mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
شَهۡرُ رَمَضَانَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ فِيهِ ٱلۡقُرۡءَانُ هُدٗى لِّلنَّاسِ وَبَيِّنَٰتٖ مِّنَ ٱلۡهُدَىٰ وَٱلۡفُرۡقَانِۚ فَمَن شَهِدَ مِنكُمُ ٱلشَّهۡرَ فَلۡيَصُمۡهُۖ وَمَن كَانَ مَرِيضًا أَوۡ عَلَىٰ سَفَرٖ فَعِدَّةٞ مِّنۡ أَيَّامٍ أُخَرَۗ يُرِيدُ ٱللَّهُ بِكُمُ ٱلۡيُسۡرَ وَلَا يُرِيدُ بِكُمُ ٱلۡعُسۡرَ وَلِتُكۡمِلُواْ ٱلۡعِدَّةَ وَلِتُكَبِّرُواْ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا هَدَىٰكُمۡ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
(Ekiseera ekibalaalikiddwako okusiiba gwe) mwezi gwa Lamanzaane, Kulaani mwe yakkira. Nga (Kulaani) kulunngamya eri abantu. Era nga mulimu obujulizi obunnyonnyola obulunngamu era nga mulimu okulaga okwawula wakati w'amazima n'obulimba. N'olw'ekyo omuntu abeeranga atuuse ku mwezi gwa Lamanzaane ateekwa okugusiiba. Naye oyo asangibwa nga mulwadde, oba nga ali ku lugendo ennaku ezo azibale azisiibe mu kiseera ekirala. Bulijjo Allah abaagaliza bwangu so si kubakaluubiriza. Kale nno mujjuze ennaku z'omwezi ogwo era mutendereze allah olw'okubaluŋŋamya, olwo mubeere abeebaza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا سَأَلَكَ عِبَادِي عَنِّي فَإِنِّي قَرِيبٌۖ أُجِيبُ دَعۡوَةَ ٱلدَّاعِ إِذَا دَعَانِۖ فَلۡيَسۡتَجِيبُواْ لِي وَلۡيُؤۡمِنُواْ بِي لَعَلَّهُمۡ يَرۡشُدُونَ
Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi bw'abeera nga ansabye. Wabula bateekwa okunngondera era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُحِلَّ لَكُمۡ لَيۡلَةَ ٱلصِّيَامِ ٱلرَّفَثُ إِلَىٰ نِسَآئِكُمۡۚ هُنَّ لِبَاسٞ لَّكُمۡ وَأَنتُمۡ لِبَاسٞ لَّهُنَّۗ عَلِمَ ٱللَّهُ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَخۡتَانُونَ أَنفُسَكُمۡ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡ وَعَفَا عَنكُمۡۖ فَٱلۡـَٰٔنَ بَٰشِرُوهُنَّ وَٱبۡتَغُواْ مَا كَتَبَ ٱللَّهُ لَكُمۡۚ وَكُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ حَتَّىٰ يَتَبَيَّنَ لَكُمُ ٱلۡخَيۡطُ ٱلۡأَبۡيَضُ مِنَ ٱلۡخَيۡطِ ٱلۡأَسۡوَدِ مِنَ ٱلۡفَجۡرِۖ ثُمَّ أَتِمُّواْ ٱلصِّيَامَ إِلَى ٱلَّيۡلِۚ وَلَا تُبَٰشِرُوهُنَّ وَأَنتُمۡ عَٰكِفُونَ فِي ٱلۡمَسَٰجِدِۗ تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ فَلَا تَقۡرَبُوهَاۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦ لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ
Mukkirizibbwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala bammwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwe muli ebyambalo byabwe. Allah amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, (Katonda) kwekukkiriza okwenenya kwammwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Allah kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusiza ddala ewuzi enjeru (nga ky'ekitangaala) bwe kinaabeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga y'enzikiza) nga okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizikiti. Ezo z'ensalosalo za Allah, temuzisembereranga. Bw'atyo nno Allah bw'annyonnyola Amateeka Ge eri abantu balyoke bamutye.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا تَأۡكُلُوٓاْ أَمۡوَٰلَكُم بَيۡنَكُم بِٱلۡبَٰطِلِ وَتُدۡلُواْ بِهَآ إِلَى ٱلۡحُكَّامِ لِتَأۡكُلُواْ فَرِيقٗا مِّنۡ أَمۡوَٰلِ ٱلنَّاسِ بِٱلۡإِثۡمِ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Temulyanga emmaali yammwe wakati wammwe mu ngeri enkyamu, ne mutuuka n'okugitwala eri abalamuzi musobole okulya ekitundu ku bintu by'abantu mu bwonoonyi, ate nga mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡأَهِلَّةِۖ قُلۡ هِيَ مَوَٰقِيتُ لِلنَّاسِ وَٱلۡحَجِّۗ وَلَيۡسَ ٱلۡبِرُّ بِأَن تَأۡتُواْ ٱلۡبُيُوتَ مِن ظُهُورِهَا وَلَٰكِنَّ ٱلۡبِرَّ مَنِ ٱتَّقَىٰۗ وَأۡتُواْ ٱلۡبُيُوتَ مِنۡ أَبۡوَٰبِهَاۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ
Bakubuuza (ggwe Nnabbi Muhammadi) (ku mboneekerera y'omwezi) ku nkyukakyuka y'omwezi, bagambe nti ebyo kulaga biseera eri abantu na kumanyirako biseera bya Hijja. Obutuukirivu si kuyingira mayumba gammwe nga muyita waggulu, wabula obutuukirivu ye muntu okutya Katonda. Era amayumba mugayite mu miryango gyago , era mutye Allah musobole okubeera mu b'okwesiima.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ٱلَّذِينَ يُقَٰتِلُونَكُمۡ وَلَا تَعۡتَدُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُعۡتَدِينَ
Mulwane mu kkubo lya Allah nga mulwanyisa abo ababalwanyisa. Wabula temulumbagananga , mazima Allah tayagala balumbaganyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ ثَقِفۡتُمُوهُمۡ وَأَخۡرِجُوهُم مِّنۡ حَيۡثُ أَخۡرَجُوكُمۡۚ وَٱلۡفِتۡنَةُ أَشَدُّ مِنَ ٱلۡقَتۡلِۚ وَلَا تُقَٰتِلُوهُمۡ عِندَ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ حَتَّىٰ يُقَٰتِلُوكُمۡ فِيهِۖ فَإِن قَٰتَلُوكُمۡ فَٱقۡتُلُوهُمۡۗ كَذَٰلِكَ جَزَآءُ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Era mubatte wonna we mubanga mubagwikirizza, era mubaggye mu bifo ebyo bye baabaggyamu kubanga bulijjo obutakkiriza (n'okukyusa omuntu okumuggya mu Busiraamu) kibi nnyo okusinga okutta. Temubalwanyisizanga mu muzikiti ogw'emizizo okutuusa nga babalwanyisirizzaamu, bwe baba babalwanyisizza mubatte; empeera y'abatakkiriza bw'etyo bw'ebeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Bwe baba beekomyeko mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ لِلَّهِۖ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَلَا عُدۡوَٰنَ إِلَّا عَلَى ٱلظَّٰلِمِينَ
Mubalwanyise okutuusa lwe wataabeewo butakkiriza n'emisanvu gyonna, olwo nno okusinzibwa kwonna kube kwa Allah Yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulumbaganyi okuggyako ku balyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلشَّهۡرُ ٱلۡحَرَامُ بِٱلشَّهۡرِ ٱلۡحَرَامِ وَٱلۡحُرُمَٰتُ قِصَاصٞۚ فَمَنِ ٱعۡتَدَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَٱعۡتَدُواْ عَلَيۡهِ بِمِثۡلِ مَا ٱعۡتَدَىٰ عَلَيۡكُمۡۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُتَّقِينَ
Omwezi ogw'emizizo gwawaanyisibwamu n'omwezi ogw'emizizo. Omuntu atyoboola ebifo eby'emizizo aweebwa ekibonerezo ekigya mu kikolwa ky'aba akoze. Kale nno omuntu abalumbaganye mumwolekeze obwanga nga bw'aba azze. Mutye Allah era mumanye nti mazima ddala Allah ali wamu n'abamutya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَأَنفِقُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَلَا تُلۡقُواْ بِأَيۡدِيكُمۡ إِلَى ٱلتَّهۡلُكَةِ وَأَحۡسِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُحۡسِنِينَ
Era muweeyo mu Kkubo lya Allah naye temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira, era mulongoose, kubanga mazima ddala Allah ayagala abalongoosa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَأَتِمُّواْ ٱلۡحَجَّ وَٱلۡعُمۡرَةَ لِلَّهِۚ فَإِنۡ أُحۡصِرۡتُمۡ فَمَا ٱسۡتَيۡسَرَ مِنَ ٱلۡهَدۡيِۖ وَلَا تَحۡلِقُواْ رُءُوسَكُمۡ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ ٱلۡهَدۡيُ مَحِلَّهُۥۚ فَمَن كَانَ مِنكُم مَّرِيضًا أَوۡ بِهِۦٓ أَذٗى مِّن رَّأۡسِهِۦ فَفِدۡيَةٞ مِّن صِيَامٍ أَوۡ صَدَقَةٍ أَوۡ نُسُكٖۚ فَإِذَآ أَمِنتُمۡ فَمَن تَمَتَّعَ بِٱلۡعُمۡرَةِ إِلَى ٱلۡحَجِّ فَمَا ٱسۡتَيۡسَرَ مِنَ ٱلۡهَدۡيِۚ فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ ثَلَٰثَةِ أَيَّامٖ فِي ٱلۡحَجِّ وَسَبۡعَةٍ إِذَا رَجَعۡتُمۡۗ تِلۡكَ عَشَرَةٞ كَامِلَةٞۗ ذَٰلِكَ لِمَن لَّمۡ يَكُنۡ أَهۡلُهُۥ حَاضِرِي ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Mukole Hijja ne Umra mu bujjuvu ku lwa Allah, naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okusala ekisolo ekiweebwayo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekisolo ekiweebwayo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo anaabeeranga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango gw'okusiiba oba okuwaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe munaabeerangaj mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja ateekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo atakirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu nga akyali mu Hijja n'endala musanvu (azisiibe) nga azzeeyo, eryo nno ly'ekkumi (10) erijjudde. Ebyo biba bityo kw'oyo amaka ge nga tegali wali muzikiti ogw'emizizo (Makkah). Mutye Allah, era mumanye nti mazima ddala Allah alina Ebibonerezo ebikakali.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلۡحَجُّ أَشۡهُرٞ مَّعۡلُومَٰتٞۚ فَمَن فَرَضَ فِيهِنَّ ٱلۡحَجَّ فَلَا رَفَثَ وَلَا فُسُوقَ وَلَا جِدَالَ فِي ٱلۡحَجِّۗ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ يَعۡلَمۡهُ ٱللَّهُۗ وَتَزَوَّدُواْ فَإِنَّ خَيۡرَ ٱلزَّادِ ٱلتَّقۡوَىٰۖ وَٱتَّقُونِ يَٰٓأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ
Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, teyeedibaganga, era tayonoonanga, bw'atyo tawakana ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kye mukola Allah akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Naye entanda esinga obulungi kwe kutya Katonda. Kale nno muntye abange mmwe abalina amagezi agasengejja.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَن تَبۡتَغُواْ فَضۡلٗا مِّن رَّبِّكُمۡۚ فَإِذَآ أَفَضۡتُم مِّنۡ عَرَفَٰتٖ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ عِندَ ٱلۡمَشۡعَرِ ٱلۡحَرَامِۖ وَٱذۡكُرُوهُ كَمَا هَدَىٰكُمۡ وَإِن كُنتُم مِّن قَبۡلِهِۦ لَمِنَ ٱلضَّآلِّينَ
Temulina kibi bwe muba nga munonyezza ku byengera bya Katonda Wammwe, bwe muvanga mu Arafa mutendereze Allah mu kifo eky'emizizo (Muzidalifah). Era mumutendereze, anti yabaluŋŋamya newaakubadde nga mu kusooka mwali mu babuze.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ثُمَّ أَفِيضُواْ مِنۡ حَيۡثُ أَفَاضَ ٱلنَّاسُ وَٱسۡتَغۡفِرُواْ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Oluvannyuma mukuluumulukuke mweyiwe awo abantu we beeyiwanga era mwegayirire Allah okubasonyiwa, mazima Allah Musonyiyi, Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِذَا قَضَيۡتُم مَّنَٰسِكَكُمۡ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَذِكۡرِكُمۡ ءَابَآءَكُمۡ أَوۡ أَشَدَّ ذِكۡرٗاۗ فَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَقُولُ رَبَّنَآ ءَاتِنَا فِي ٱلدُّنۡيَا وَمَا لَهُۥ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ مِنۡ خَلَٰقٖ
Bwe mumaliriza emikolo gyammwe (egya Hijja), mw'ogerenga ku Katonda nga bwe mwogera ku bakadde ba mmwe, sinakindi n'okusingawo. Mu bantu mulimu abasaba nga bagamba nti; Mukama Katonda Waffe tuwe ebirungi by'ensi kyokka nga talina mugabo gwonna ku Nkomerero.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنۡهُم مَّن يَقُولُ رَبَّنَآ ءَاتِنَا فِي ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗ وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِ حَسَنَةٗ وَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ
Ate mu bo mulimu abasaba nga bagamba nti; Mukama Katonda Waffe tuwe obulungi ku nsi, ne ku Nkomerero otuwe obulungi, otuwonye ebibonerezo byOmuliro.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ نَصِيبٞ مِّمَّا كَسَبُواْۚ وَٱللَّهُ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ
Abo nno be balina omugabo omunene olw'ebyo bye baakola, era Allah Mwangu nnyo mu kubala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ فِيٓ أَيَّامٖ مَّعۡدُودَٰتٖۚ فَمَن تَعَجَّلَ فِي يَوۡمَيۡنِ فَلَآ إِثۡمَ عَلَيۡهِ وَمَن تَأَخَّرَ فَلَآ إِثۡمَ عَلَيۡهِۖ لِمَنِ ٱتَّقَىٰۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّكُمۡ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ
Mutendereze Allah mu nnaku ezebbalirirwe, omuntu anaayanguwanga n'avaayo mu nnaku bbiri talina musango. N'oyo alinda n'amalayo (ennaku ssatu) talina musango. Ekyo ky'oyo atya Allah. Mutye Allah era mumanye nti mugenda kukuŋŋanyizibwa mudde Gy'ali.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُعۡجِبُكَ قَوۡلُهُۥ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَيُشۡهِدُ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا فِي قَلۡبِهِۦ وَهُوَ أَلَدُّ ٱلۡخِصَامِ
Mu bantu mulimu omuntu nga ebigambo bye bikusanyusa mu bulamu obw'ensi era nga ajuliza Allah kw'ekyo ekiri mu mutima gwe, so nga ye mulabe asingira ddala (eri Obusiraamu n'Abasiraamu).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا تَوَلَّىٰ سَعَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ لِيُفۡسِدَ فِيهَا وَيُهۡلِكَ ٱلۡحَرۡثَ وَٱلنَّسۡلَۚ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَسَادَ
Bw'ava awo assa amaanyi mu kusaasanya obwonoonefu mu nsi, era n'azikiriza ebirime n'ebisolo, so nga ate Allah tayagala bwonoonefu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا قِيلَ لَهُ ٱتَّقِ ٱللَّهَ أَخَذَتۡهُ ٱلۡعِزَّةُ بِٱلۡإِثۡمِۚ فَحَسۡبُهُۥ جَهَنَّمُۖ وَلَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ
(Omuntu oyo y'omu) bwe bamugamba nti tya Allah, asunguwala ne yeekuluntaza olw'okwonoona kw'alina. Omuliro Jahannama gwe gumusobola. Ekyo nno kifo kibi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَشۡرِي نَفۡسَهُ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ رَءُوفُۢ بِٱلۡعِبَادِ
Era mu bantu mulimu atunda omwoyo gwe nga anoonya okusiima kwa ssh; Katonda musaasizi nnyo eri abaddu Be.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱدۡخُلُواْ فِي ٱلسِّلۡمِ كَآفَّةٗ وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ
Abange mmwe Abakkiriza, muyingire mu Busiraamu muggweeremu. Temugobereranga makubo ga Sitaane, mazima yye mulabe wa mmwe owoolwatu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِن زَلَلۡتُم مِّنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡكُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ
Bwe munaaseerera oluvannyuma lw'okujjirwa obunnyonnyofu, mumanye nti Allah wa buyinza, mukenkufu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّآ أَن يَأۡتِيَهُمُ ٱللَّهُ فِي ظُلَلٖ مِّنَ ٱلۡغَمَامِ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ وَقُضِيَ ٱلۡأَمۡرُۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ
Tebalina kye balinda, okuggyako balinda Allah okubajjira nga ali mu bisiikirize by'ebire ne Bamalayika bajje ekigambo kiggwe. So nga ate (ebyo we biribeererawo) ebintu by'ensi byonna biriba bikomye), era eri Allah ensonga zonna gye zijja okuzzibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
سَلۡ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ كَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُم مِّنۡ ءَايَةِۭ بَيِّنَةٖۗ وَمَن يُبَدِّلۡ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Buuza abaana ba Yisirayiri nti, obubonero obunnyonnyofu bumeka bwe nnabawa? Bungi. Naye nno omuntu akyusa ekyengera kya Allah nga amaze okukifuna, mazima ddala Allah Ebibonerezo Bye byamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
زُيِّنَ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَيَسۡخَرُونَ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۘ وَٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ فَوۡقَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ
Abatakkiriza bawundirwa obulamu bw'e Nsi, era bajeeja Abakkiriza; wabula abatya Katonda bagenda kubabeera waggulu ku lunaku lw’e Nkomerero. Katonda agabira gw'aba ayagadde awatali kubalirira.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كَانَ ٱلنَّاسُ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ فَبَعَثَ ٱللَّهُ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَ وَأَنزَلَ مَعَهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ لِيَحۡكُمَ بَيۡنَ ٱلنَّاسِ فِيمَا ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِۚ وَمَا ٱخۡتَلَفَ فِيهِ إِلَّا ٱلَّذِينَ أُوتُوهُ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۖ فَهَدَى ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لِمَا ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ مِنَ ٱلۡحَقِّ بِإِذۡنِهِۦۗ وَٱللَّهُ يَهۡدِي مَن يَشَآءُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٍ
Abantu baali ku Ddiini emu (ey'okukkiriza Allah Yekka) (naye olw'ensonga emu oba endala ne baawukana) Allah kwe kutuma Bannabbi nga balanga essanyu (eri abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi) era nga batiisa (ebibonerezo ebirituuka ku bajeemu). Allah n'abassaako ekitabo namazima alyoke alamule wakati w'abantu mw'ebyo bye baayawukanamu. Naye tebaayawukana mu kyo (Ekitabo) okuggyako abo bennyini abaakiweebwa, ng'obunnyonnyofu bumaze okubatuukako, Allah kwe kulunngamya abo abakkiriza ku lw'Ekisa Kye eri amazima ge baayawukanamu. Bulijjo Allah aluŋŋamya gw'aba ayagadde eri ekkubo eggolokofu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَمۡ حَسِبۡتُمۡ أَن تَدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ وَلَمَّا يَأۡتِكُم مَّثَلُ ٱلَّذِينَ خَلَوۡاْ مِن قَبۡلِكُمۖ مَّسَّتۡهُمُ ٱلۡبَأۡسَآءُ وَٱلضَّرَّآءُ وَزُلۡزِلُواْ حَتَّىٰ يَقُولَ ٱلرَّسُولُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ مَتَىٰ نَصۡرُ ٱللَّهِۗ أَلَآ إِنَّ نَصۡرَ ٱللَّهِ قَرِيبٞ
Nandiki musuubira okuyingira Ejjana nga temutuukiddwako ebiringa ebyo ebyatuuka ku baabakulembera! Baatuukibwako ebizibu n'okubonaabona, era ne bayuuguumizibwa okutuusa Omubaka ne Abakkiriza abaali awamu naye ne bagamba nti Allah atutaasa ddi? Naye, okutaasa kwa Allah kuli kumpi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَا يُنفِقُونَۖ قُلۡ مَآ أَنفَقۡتُم مِّنۡ خَيۡرٖ فَلِلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِۗ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٞ
Bakubuuza biki bye baba bawaayo. Bagambe nti buli kyonna kye muwaayo mu birungi kiweebwa abazadde ababiri, abooluganda, bamulekwa, abeetaavu n'abatambuze. Era (mukimanye) nti buli kalungi konna ke mukola mazima ddala Allah akamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِتَالُ وَهُوَ كُرۡهٞ لَّكُمۡۖ وَعَسَىٰٓ أَن تَكۡرَهُواْ شَيۡـٔٗا وَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَعَسَىٰٓ أَن تُحِبُّواْ شَيۡـٔٗا وَهُوَ شَرّٞ لَّكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ
Mulaalikiddwako okulwana (mu Kkubo lya Allah) awamu n'okuba nga temwandikyagadde. Naye, muyinza obutayagala kintu nga ate kye kirungi gyemuli, nga bwe muyinza okwagala ekintu naye nga kibi gyemuli; anti Allah amanyi ate nga mmwe temumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلشَّهۡرِ ٱلۡحَرَامِ قِتَالٖ فِيهِۖ قُلۡ قِتَالٞ فِيهِ كَبِيرٞۚ وَصَدٌّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَكُفۡرُۢ بِهِۦ وَٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ وَإِخۡرَاجُ أَهۡلِهِۦ مِنۡهُ أَكۡبَرُ عِندَ ٱللَّهِۚ وَٱلۡفِتۡنَةُ أَكۡبَرُ مِنَ ٱلۡقَتۡلِۗ وَلَا يَزَالُونَ يُقَٰتِلُونَكُمۡ حَتَّىٰ يَرُدُّوكُمۡ عَن دِينِكُمۡ إِنِ ٱسۡتَطَٰعُواْۚ وَمَن يَرۡتَدِدۡ مِنكُمۡ عَن دِينِهِۦ فَيَمُتۡ وَهُوَ كَافِرٞ فَأُوْلَٰٓئِكَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Bakubuuza ku kulamula kw'okulwana mu mwezi ogw'emizizo. Bagambe nti okugulwaniramu kibi kinene,wabula okuziyiza abantu okukola emirimu gya Allah n'okumujeemera n'okuziyiza abantu okutuuka ku Muzikiti Ogw'emizizo n'okugobaganya abantu baamu, bye bisinga obubi mu maaso ga Allah. Kubanga (bulijjo) obutakkiriza bubi nnyo okusinga okutta.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ أُوْلَٰٓئِكَ يَرۡجُونَ رَحۡمَتَ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Mazima ddala abo Abakkiriza era abaasenguka ne balwana mu Kkubo lya Allah; abo nno be basuubira okusaasira kwa Allah. Era Allah Musonyiyi, Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡخَمۡرِ وَٱلۡمَيۡسِرِۖ قُلۡ فِيهِمَآ إِثۡمٞ كَبِيرٞ وَمَنَٰفِعُ لِلنَّاسِ وَإِثۡمُهُمَآ أَكۡبَرُ مِن نَّفۡعِهِمَاۗ وَيَسۡـَٔلُونَكَ مَاذَا يُنفِقُونَۖ قُلِ ٱلۡعَفۡوَۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَتَفَكَّرُونَ
Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bw'atyo nno Allah bw'abannyonnyola Amateeka Ge mulyoke mufumiitirize.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۗ وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡيَتَٰمَىٰۖ قُلۡ إِصۡلَاحٞ لَّهُمۡ خَيۡرٞۖ وَإِن تُخَالِطُوهُمۡ فَإِخۡوَٰنُكُمۡۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ ٱلۡمُفۡسِدَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَعۡنَتَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
(Musobole okutegeera) ebibagasa mu bulamu buno obw'okunsi n'obw'Enkomerero. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubalongooseza emmaali yaabwe ky'ekisinga obulungi, naye singa mugigatta n'eyammwe anti baganda bammwe, era Allah amanyi oyo alongoosa kw'oyo afiiriza. Singa Allah yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Allah Waamaanyi Mukenkufu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا تَنكِحُواْ ٱلۡمُشۡرِكَٰتِ حَتَّىٰ يُؤۡمِنَّۚ وَلَأَمَةٞ مُّؤۡمِنَةٌ خَيۡرٞ مِّن مُّشۡرِكَةٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَتۡكُمۡۗ وَلَا تُنكِحُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ حَتَّىٰ يُؤۡمِنُواْۚ وَلَعَبۡدٞ مُّؤۡمِنٌ خَيۡرٞ مِّن مُّشۡرِكٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَكُمۡۗ أُوْلَٰٓئِكَ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلنَّارِۖ وَٱللَّهُ يَدۡعُوٓاْ إِلَى ٱلۡجَنَّةِ وَٱلۡمَغۡفِرَةِ بِإِذۡنِهِۦۖ وَيُبَيِّنُ ءَايَٰتِهِۦ لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ
Temuwasanga abagatta ku Allah ebisinzibwa ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Mazima omuzaana Omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Allah ebisinzibwa ebirala k'abeere nga abeewunyisizza. Era temufumbizanga bawala bammwe eri abo abagatta ku Allah ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu Omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Allah ebintu ebirala newaakubadde nga abeewuunyisizza. Abo bakoowoola abantu nga babazza eri Omuliro, so nga ate Allah abakoowoola kubazza eri Jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala Kwe, era annyonnyola abantu Ebigambo Bye balyoke beebuulirire.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى فَٱعۡتَزِلُواْ ٱلنِّسَآءَ فِي ٱلۡمَحِيضِ وَلَا تَقۡرَبُوهُنَّ حَتَّىٰ يَطۡهُرۡنَۖ فَإِذَا تَطَهَّرۡنَ فَأۡتُوهُنَّ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَكُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلتَّوَّٰبِينَ وَيُحِبُّ ٱلۡمُتَطَهِّرِينَ
Era bakubuuza ebikwata ku kusuulumba, bagambe nti kyo kikosa, kale nno mwesambe abakyala nga bali mu kusuulumba, era temubasemberera okutuusa lwe batukula, olwo nno bwe beetukuza mugende gye bali nga muyita mu kkubo eryo Allah lye yabalagira. Mazima ddala bulijjo Allah ayagala abeenenya era nga bw'ayagala abeetukuza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
نِسَآؤُكُمۡ حَرۡثٞ لَّكُمۡ فَأۡتُواْ حَرۡثَكُمۡ أَنَّىٰ شِئۡتُمۡۖ وَقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُمۡۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّكُم مُّلَٰقُوهُۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe n'olw'ekyo mugende mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mutegekere emyoyo gyammwe (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Allah mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa Abakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا تَجۡعَلُواْ ٱللَّهَ عُرۡضَةٗ لِّأَيۡمَٰنِكُمۡ أَن تَبَرُّواْ وَتَتَّقُواْ وَتُصۡلِحُواْ بَيۡنَ ٱلنَّاسِۚ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Temufuulanga okulayira erinnya lya Allah ekyekwaso nemutuuka obuteeyisa bulungi n'obutatya Allah ne mutuuka n'obutasobola kulongoosa wakati w'abantu. Bulijjo Allah awulira era Mumanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لَّا يُؤَاخِذُكُمُ ٱللَّهُ بِٱللَّغۡوِ فِيٓ أَيۡمَٰنِكُمۡ وَلَٰكِن يُؤَاخِذُكُم بِمَا كَسَبَتۡ قُلُوبُكُمۡۗ وَٱللَّهُ غَفُورٌ حَلِيمٞ
Allah tabavunaana mu kulayira kwammwe okw'olusaago, wabula abavunaana ebyo emitima gyammwe bye gigenderedde ne bigikakasa, bulijjo Allah Musonyiyi Waakisa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لِّلَّذِينَ يُؤۡلُونَ مِن نِّسَآئِهِمۡ تَرَبُّصُ أَرۡبَعَةِ أَشۡهُرٖۖ فَإِن فَآءُو فَإِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Abo ababa balayidde nti tebagenda kuddayo kulabagana na bakyala baabwe baweebwa ebbanga lya emyezi ena, bwe baddira bakyala baabwe mu myezi egyo mazima ddala Allah Musonyiyi Musaasizi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِنۡ عَزَمُواْ ٱلطَّلَٰقَ فَإِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Naye bwe baba bamaliridde okuta bakyala baabwe, mazima ddala Allah awulira, amanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلۡمُطَلَّقَٰتُ يَتَرَبَّصۡنَ بِأَنفُسِهِنَّ ثَلَٰثَةَ قُرُوٓءٖۚ وَلَا يَحِلُّ لَهُنَّ أَن يَكۡتُمۡنَ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ فِيٓ أَرۡحَامِهِنَّ إِن كُنَّ يُؤۡمِنَّ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ وَبُعُولَتُهُنَّ أَحَقُّ بِرَدِّهِنَّ فِي ذَٰلِكَ إِنۡ أَرَادُوٓاْ إِصۡلَٰحٗاۚ وَلَهُنَّ مِثۡلُ ٱلَّذِي عَلَيۡهِنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ وَلِلرِّجَالِ عَلَيۡهِنَّ دَرَجَةٞۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٌ
Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okulindirira ebbanga lya nsuulumba ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Allah ky'aba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Allah n'Olunaku lw’Enkomerero, era mu kiseera ekyo babbaabwe be basaanira okubuzza okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwanga ekyo nabo kyekbateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi. Kyo abasajja be basinga eddaala. Anti Allah y'asingako okuba ow'obuyinza era nga b'wasinga okuba Owaamagezi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلطَّلَٰقُ مَرَّتَانِۖ فَإِمۡسَاكُۢ بِمَعۡرُوفٍ أَوۡ تَسۡرِيحُۢ بِإِحۡسَٰنٖۗ وَلَا يَحِلُّ لَكُمۡ أَن تَأۡخُذُواْ مِمَّآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ شَيۡـًٔا إِلَّآ أَن يَخَافَآ أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَا فِيمَا ٱفۡتَدَتۡ بِهِۦۗ تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ فَلَا تَعۡتَدُوهَاۚ وَمَن يَتَعَدَّ حُدُودَ ٱللَّهِ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ
Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kubaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okusigaza mukyala we mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kuggya ku bakyala bammwe (be mutadde) kintu kyonna kw'ebyo bye mwabawa okuggyako nga beekengedde obutatuukiriza Mateeka ga Allah mu bufumbo. Kati bwe muba nga mutidde (mmwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza Mateeka ga Allah mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala ky'aba yeenunula nakyo. Ago ge Mateeka ga Allah temugasukkanga. Abo bonna abamenya Amateeka ga Allah; abo nno be balyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا تَحِلُّ لَهُۥ مِنۢ بَعۡدُ حَتَّىٰ تَنكِحَ زَوۡجًا غَيۡرَهُۥۗ فَإِن طَلَّقَهَا فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَآ أَن يَتَرَاجَعَآ إِن ظَنَّآ أَن يُقِيمَا حُدُودَ ٱللَّهِۗ وَتِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِ يُبَيِّنُهَا لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ
Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okutuusa nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddinngana (N'oli eyasooka okumuta emirundi esatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno ge Mateeka ga Allah agannyonnyola abantu abategeera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا طَلَّقۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَبَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَأَمۡسِكُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٍ أَوۡ سَرِّحُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٖۚ وَلَا تُمۡسِكُوهُنَّ ضِرَارٗا لِّتَعۡتَدُواْۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ فَقَدۡ ظَلَمَ نَفۡسَهُۥۚ وَلَا تَتَّخِذُوٓاْ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ هُزُوٗاۚ وَٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَمَآ أَنزَلَ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡحِكۡمَةِ يَعِظُكُم بِهِۦۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ
Bwe muba mutadde abakyala (etali ttalaka esembayo) ebbanga lye balina okutuula ne lisemberera okuggwaako mubasigaze n'ekigendererwa ky'okubayisa obulungi oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi kyokka temubasigazanga nga mugenderera okubacunya n'okubakolako obulumbaganyi. Omuntu akola ekyo aba yeryazaamaanyizza yekka. Temufuula Amateeka ga Allah ag'olusaago. Mujjukire ekyengera kya Allah kye yabawa n'ebyo bye yabassiza mu Kulaani ne mu njigiriza (ya Nnabbi Muhammadi). Mutye Allah mumanye nti amanyi buli kintu kyonna.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذَا طَلَّقۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَبَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَلَا تَعۡضُلُوهُنَّ أَن يَنكِحۡنَ أَزۡوَٰجَهُنَّ إِذَا تَرَٰضَوۡاْ بَيۡنَهُم بِٱلۡمَعۡرُوفِۗ ذَٰلِكَ يُوعَظُ بِهِۦ مَن كَانَ مِنكُمۡ يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۗ ذَٰلِكُمۡ أَزۡكَىٰ لَكُمۡ وَأَطۡهَرُۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ
Bwe muba nga mutadde abakyala ebbanga lyabwe lyebatuula nga tebannafumbirwa (Idda) ne liggwaako temubagaananga okudda eri babbaabwe bwe baba bakkirizigannyiza mu ngeri ennungi. Etteeka eryo libuulirwa oyo yenna akkiriza Allah n'Olunaku lw'Enkomerero. Ekyo nno kye kisinga okuba ekyensa n'obutukuvu gyemuli. Allah y'asinga okumanya (ekirimu omugaso gyemuli) naye mmwe temumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَٱلۡوَٰلِدَٰتُ يُرۡضِعۡنَ أَوۡلَٰدَهُنَّ حَوۡلَيۡنِ كَامِلَيۡنِۖ لِمَنۡ أَرَادَ أَن يُتِمَّ ٱلرَّضَاعَةَۚ وَعَلَى ٱلۡمَوۡلُودِ لَهُۥ رِزۡقُهُنَّ وَكِسۡوَتُهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ لَا تُكَلَّفُ نَفۡسٌ إِلَّا وُسۡعَهَاۚ لَا تُضَآرَّ وَٰلِدَةُۢ بِوَلَدِهَا وَلَا مَوۡلُودٞ لَّهُۥ بِوَلَدِهِۦۚ وَعَلَى ٱلۡوَارِثِ مِثۡلُ ذَٰلِكَۗ فَإِنۡ أَرَادَا فِصَالًا عَن تَرَاضٖ مِّنۡهُمَا وَتَشَاوُرٖ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَاۗ وَإِنۡ أَرَدتُّمۡ أَن تَسۡتَرۡضِعُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُمۡ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِذَا سَلَّمۡتُم مَّآ ءَاتَيۡتُم بِٱلۡمَعۡرُوفِۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku bataata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwe baba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba musango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo bye mukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Mutye Allah, era mumanye nti mazima Allah alaba byonna bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلَّذِينَ يُتَوَفَّوۡنَ مِنكُمۡ وَيَذَرُونَ أَزۡوَٰجٗا يَتَرَبَّصۡنَ بِأَنفُسِهِنَّ أَرۡبَعَةَ أَشۡهُرٖ وَعَشۡرٗاۖ فَإِذَا بَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا فَعَلۡنَ فِيٓ أَنفُسِهِنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ
Ate abo ababa bafudde mu mmwe ne baleka abakyala, abakyala abo bateekwa okwekuuma nga tebannaddamu kufumbirwa ebbanga lya myezi ena n'ennaku kkumi. Ebbanga eryo nga liweddeko, temulina musango mw'ekyo kye baba bakoze mu by'okwewunda (n'okukkiriza abaagala okubawoowa) mu ngeri y'ekintukiramu (etemenya mateeka ga Busiraamu). Allah Mumanyi nnyo ku bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا عَرَّضۡتُم بِهِۦ مِنۡ خِطۡبَةِ ٱلنِّسَآءِ أَوۡ أَكۡنَنتُمۡ فِيٓ أَنفُسِكُمۡۚ عَلِمَ ٱللَّهُ أَنَّكُمۡ سَتَذۡكُرُونَهُنَّ وَلَٰكِن لَّا تُوَاعِدُوهُنَّ سِرًّا إِلَّآ أَن تَقُولُواْ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗاۚ وَلَا تَعۡزِمُواْ عُقۡدَةَ ٱلنِّكَاحِ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ ٱلۡكِتَٰبُ أَجَلَهُۥۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ فَٱحۡذَرُوهُۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ
Era temulina musango olw'ekyo kye muba mwogedde mu kugereesa nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukisizza mu mitima gyammwe. Allah amanyi nti mujja kwogera nabo (ku nsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mu kyama mu ngeri ya kukukuta, okuggyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano ya bufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Allah amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mubyegendereze awamu n'ekyo mumanye nti Muyitirivu waa kusonyiwa era Waakisa kingi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لَّا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِن طَلَّقۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ مَا لَمۡ تَمَسُّوهُنَّ أَوۡ تَفۡرِضُواْ لَهُنَّ فَرِيضَةٗۚ وَمَتِّعُوهُنَّ عَلَى ٱلۡمُوسِعِ قَدَرُهُۥ وَعَلَى ٱلۡمُقۡتِرِ قَدَرُهُۥ مَتَٰعَۢا بِٱلۡمَعۡرُوفِۖ حَقًّا عَلَى ٱلۡمُحۡسِنِينَ
Temulina musango singa muta bakyala bammwe nga temunneegatta nabo wadde nga temunnabagerekera Mahare. Naye muteekwa okubasibirira. Omugagga asibirira ekigya mu mbeera ye n’omufunampola asibirira ekimugyamu. Okusibirira kubeera mu ngeri ya buntu bulamu. Ekyo kikakafu ku bakozi b'obulungi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِن طَلَّقۡتُمُوهُنَّ مِن قَبۡلِ أَن تَمَسُّوهُنَّ وَقَدۡ فَرَضۡتُمۡ لَهُنَّ فَرِيضَةٗ فَنِصۡفُ مَا فَرَضۡتُمۡ إِلَّآ أَن يَعۡفُونَ أَوۡ يَعۡفُوَاْ ٱلَّذِي بِيَدِهِۦ عُقۡدَةُ ٱلنِّكَاحِۚ وَأَن تَعۡفُوٓاْ أَقۡرَبُ لِلتَّقۡوَىٰۚ وَلَا تَنسَوُاْ ٱلۡفَضۡلَ بَيۡنَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ
Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera Amahare, mubawe kitundu ky'ago ge mwagereka, okuggyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okusiba endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Allah. Temwerabiranga ebirungi ebibadde wakati wammwe. Mazima Allah alaba ebyo byonna bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
حَٰفِظُواْ عَلَى ٱلصَّلَوَٰتِ وَٱلصَّلَوٰةِ ٱلۡوُسۡطَىٰ وَقُومُواْ لِلَّهِ قَٰنِتِينَ
Mwekuume nnyo ku Sswala zonna (ettaano) naddala esswala ey'enkizo; muyimirire mu maaso ga Allah nga muli bagonvu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِنۡ خِفۡتُمۡ فَرِجَالًا أَوۡ رُكۡبَانٗاۖ فَإِذَآ أَمِنتُمۡ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَمَا عَلَّمَكُم مَّا لَمۡ تَكُونُواْ تَعۡلَمُونَ
Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Naye okutya bwe kuba kuvuddewo mutendereze Allah (nga musaala) nga bwe yabayigiriza ebyo bye mwali temumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱلَّذِينَ يُتَوَفَّوۡنَ مِنكُمۡ وَيَذَرُونَ أَزۡوَٰجٗا وَصِيَّةٗ لِّأَزۡوَٰجِهِم مَّتَٰعًا إِلَى ٱلۡحَوۡلِ غَيۡرَ إِخۡرَاجٖۚ فَإِنۡ خَرَجۡنَ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِي مَا فَعَلۡنَ فِيٓ أَنفُسِهِنَّ مِن مَّعۡرُوفٖۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
N'abo abatuukwako okufa mu mmwe ne baleka abakyala, kibakakatako okulaamira bakyala baabwe okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temulina musango gwonna mw'ekyo kye baba bakoze nga bo mu ngeri ennungi. Bulijjo Allah Waamaanyi, ate nga agoba nsonga.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلِلۡمُطَلَّقَٰتِ مَتَٰعُۢ بِٱلۡمَعۡرُوفِۖ حَقًّا عَلَى ٱلۡمُتَّقِينَ
(Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa baweereddwa Talaka (bateereddwa) bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi okusinziira ku kimanyiddwa. Ekyo kikakafu kw'abo abatya Allah.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ لَعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ
Bw'atyo nno Allah bw'abannyonnyola Ebigambo Bye mulyoke mutegeere.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ خَرَجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَهُمۡ أُلُوفٌ حَذَرَ ٱلۡمَوۡتِ فَقَالَ لَهُمُ ٱللَّهُ مُوتُواْ ثُمَّ أَحۡيَٰهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ
Tolaba abo abadduka mu mayumba gaabwe nga baali nkumi na nkumi nga batya okufa, Allah n'abagamba nti kale mufe, oluvannyuma n'abazuukiza. Mazima Allah agabirira abantu, naye abantu abasinga obungi tebeebaza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَٰتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Mulwane mu Kkubo lya Allah era mumanye nti mazima ddala Allah awulira nnyo era Muyitirivu wa kumanya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
مَّن ذَا ٱلَّذِي يُقۡرِضُ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗا فَيُضَٰعِفَهُۥ لَهُۥٓ أَضۡعَافٗا كَثِيرَةٗۚ وَٱللَّهُ يَقۡبِضُ وَيَبۡصُۜطُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
Ani oyo awola Allah okuwola okulungi alyoke abe nga akumukubisizaamu ennyongeza nnyingi. Era Allah afunza era n'agaziya (enfuna y’omuntu) so nga era Gy'ali gye mulizzibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ مِنۢ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ مِنۢ بَعۡدِ مُوسَىٰٓ إِذۡ قَالُواْ لِنَبِيّٖ لَّهُمُ ٱبۡعَثۡ لَنَا مَلِكٗا نُّقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ قَالَ هَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن كُتِبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡقِتَالُ أَلَّا تُقَٰتِلُواْۖ قَالُواْ وَمَا لَنَآ أَلَّا نُقَٰتِلَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَقَدۡ أُخۡرِجۡنَا مِن دِيَٰرِنَا وَأَبۡنَآئِنَاۖ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ تَوَلَّوۡاْ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنۡهُمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّٰلِمِينَ
Tolaba abakungu mu baana ba Yisirayiri abaaliwo oluvannyuma lwa Musa lwe baatuuka okugamba Nnabbi waabwe nti tuteerewo Kabaka (atukulembere) tusobole okulwana mu Kkubo lya Allah. (Nnabbi) n'abagamba nti ‘kye mugamba nti singa mulaalikiddwako okulwana nga muli ne Kabaka oyo temuugaane kulwana?’ Ne bagamba nti ‘Ate lwaki tetulwana mu Kkubo lya Allah nga twagobaganyizibwa dda ffe n’abaana baffe okuva mu nsi yaffe? Wabula bwe baalaalikibwako okulwana baakyuka okuva ku bigambo byabwe okuggyako abatono mu bo. Wabula nga bulijjo Allah amanyi abalyazaamaanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ بَعَثَ لَكُمۡ طَالُوتَ مَلِكٗاۚ قَالُوٓاْ أَنَّىٰ يَكُونُ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ عَلَيۡنَا وَنَحۡنُ أَحَقُّ بِٱلۡمُلۡكِ مِنۡهُ وَلَمۡ يُؤۡتَ سَعَةٗ مِّنَ ٱلۡمَالِۚ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ ٱصۡطَفَىٰهُ عَلَيۡكُمۡ وَزَادَهُۥ بَسۡطَةٗ فِي ٱلۡعِلۡمِ وَٱلۡجِسۡمِۖ وَٱللَّهُ يُؤۡتِي مُلۡكَهُۥ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ
Nabbi waabwe kwe kubaanukula nti mazima Allah ataddewo Twaluuta (Saulo) okuba Kabaka wammwe. Bo kwe kugamba nti ayinza atya okuba Kabaka waffe so nga ffe tusaanira obwakabaka okumusinga, ate nga teyaweebwa bugazi bwa byabugagga. (Nnabbi waabwe) n'abagamba nti Allah gw'abalondedde era n'amwongera obugazi mu kumanya ne mu mubiri. Era Allah awa obufuzi Bwe oyo gw'aba ayagadde. Era Allah Mugazi era Mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَقَالَ لَهُمۡ نَبِيُّهُمۡ إِنَّ ءَايَةَ مُلۡكِهِۦٓ أَن يَأۡتِيَكُمُ ٱلتَّابُوتُ فِيهِ سَكِينَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَبَقِيَّةٞ مِّمَّا تَرَكَ ءَالُ مُوسَىٰ وَءَالُ هَٰرُونَ تَحۡمِلُهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لَّكُمۡ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
Nnabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwe kuba nti essanduuke ebajjira nga erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda Wammwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haaruuna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba nga esituddwa Bamalayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu akabonero gyemuli, bwe muba ddala nga muli Bakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَلَمَّا فَصَلَ طَالُوتُ بِٱلۡجُنُودِ قَالَ إِنَّ ٱللَّهَ مُبۡتَلِيكُم بِنَهَرٖ فَمَن شَرِبَ مِنۡهُ فَلَيۡسَ مِنِّي وَمَن لَّمۡ يَطۡعَمۡهُ فَإِنَّهُۥ مِنِّيٓ إِلَّا مَنِ ٱغۡتَرَفَ غُرۡفَةَۢ بِيَدِهِۦۚ فَشَرِبُواْ مِنۡهُ إِلَّا قَلِيلٗا مِّنۡهُمۡۚ فَلَمَّا جَاوَزَهُۥ هُوَ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مَعَهُۥ قَالُواْ لَا طَاقَةَ لَنَا ٱلۡيَوۡمَ بِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦۚ قَالَ ٱلَّذِينَ يَظُنُّونَ أَنَّهُم مُّلَٰقُواْ ٱللَّهِ كَم مِّن فِئَةٖ قَلِيلَةٍ غَلَبَتۡ فِئَةٗ كَثِيرَةَۢ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ مَعَ ٱلصَّٰبِرِينَ
Twaluuta bwe. yafuluma n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Allah ajja kubagezesa na mugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali waamuggye lyange. Naye oyo ataalozeeko oyo nno ye wange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n'ebibatu bye. Bonna baaganywa okuggyako abatono mu bo. Bwe yamala okugusomoka wamu n'Abakkiriza abaali naye, ne bagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jaaluuta (Goliyaasi) n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Allah kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Allah ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Allah abeera wamu n'abagumiikiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَلَمَّا بَرَزُواْ لِجَالُوتَ وَجُنُودِهِۦ قَالُواْ رَبَّنَآ أَفۡرِغۡ عَلَيۡنَا صَبۡرٗا وَثَبِّتۡ أَقۡدَامَنَا وَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Bwebaayolekaganya obwanga eri Jaaluuta n'eggye lye ne bagamba nti, Ayi Katonda Waffe, tuyiweeko obugumiikiriza onyweze ebigere byaffe, era otutaase ku bantu abatakkiriza nti okusinzibwa Kukwo Wekka.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَهَزَمُوهُم بِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَقَتَلَ دَاوُۥدُ جَالُوتَ وَءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَهُۥ مِمَّا يَشَآءُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّفَسَدَتِ ٱلۡأَرۡضُ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ ذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ
Ne baabawangula olw'Obuyinza bwa Allah . Dauda n'atta Jaaluuta era Allah n'amuwa obufuzi n'okutegeera okwenjawulo era era n'amuyigiriza ebimu kw'ebyo bye yayagala amanye. Singa tekyali nti Allah aggyawo abantu nga akozesa abamu ne bannaabwe, nsi yandyonoonese. Naye mazima ddala Allah ebitonde Bye abigabirira ebyengera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۚ وَإِنَّكَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Ebyo nno Bigambo bya Allah tubikusomera na mazima, era mazima ddala ggwe (Nnabbi Muhammadi) oli mu luse lw'Abatume.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ تِلۡكَ ٱلرُّسُلُ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۘ مِّنۡهُم مَّن كَلَّمَ ٱللَّهُۖ وَرَفَعَ بَعۡضَهُمۡ دَرَجَٰتٖۚ وَءَاتَيۡنَا عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَأَيَّدۡنَٰهُ بِرُوحِ ٱلۡقُدُسِۗ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا ٱقۡتَتَلَ ٱلَّذِينَ مِنۢ بَعۡدِهِم مِّنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ وَلَٰكِنِ ٱخۡتَلَفُواْ فَمِنۡهُم مَّنۡ ءَامَنَ وَمِنۡهُم مَّن كَفَرَۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ مَا ٱقۡتَتَلُواْ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يُرِيدُ
Abo Ababaka betubagambye ko twasukkulumya abamu ku bannaabwe, abamu ku bbo Katonda yayogera nabo, n'abalala n'abasukkulumya mu madaala. Isa mutabani wa Mariam twamuwa obukakafu era netumuwagira ne mwoyo mutukuvu (Jiburilu), Singa Katonda yayagala abaaliwo oluvanyuma te baalirwanaganye oluvannyuma lw'obunnyonnyofu okubatuukako naye baayawukana, abamu mu bbo bakkiriza ate abalala nebagaana okukkiriza, era singa Katonda yayagala tebandirwanaganye, wabula mazima Katonda akola ekyo ky'aba ayagadde.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنفِقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰكُم مِّن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَ يَوۡمٞ لَّا بَيۡعٞ فِيهِ وَلَا خُلَّةٞ وَلَا شَفَٰعَةٞۗ وَٱلۡكَٰفِرُونَ هُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ
Abange mmwe abakkiriza muweeyo kw'ebyo byetwabagabira, nga olunaku okutaliba kutunda wadde omukwano oba okuwolereza terunatuuka, naye Abatakkiriza Katonda n'Ababaka be bebalyazaamaanyi (olw'obutagondera mateeka g’a Katonda).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُۚ لَا تَأۡخُذُهُۥ سِنَةٞ وَلَا نَوۡمٞۚ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ مَن ذَا ٱلَّذِي يَشۡفَعُ عِندَهُۥٓ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۖ وَلَا يُحِيطُونَ بِشَيۡءٖ مِّنۡ عِلۡمِهِۦٓ إِلَّا بِمَا شَآءَۚ وَسِعَ كُرۡسِيُّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۖ وَلَا يَـُٔودُهُۥ حِفۡظُهُمَاۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ
Katonda yekka, y'asinzibwa mu butuufu tewali ateekwa kusinzibwa okuggyako ye, Omulamu obulamu obw'olubeerera Eyeeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, bibye byonna ebiri mu Ggulu ne mu Nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okuggyako nga amukkirizza, amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega waabwe ate bbo tebalina kintu kyonna kye bamanyi ku by'amanyi okuggyako ky'aba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eGgulu n'e Nsi, so nga ate e Ggulu n'e Nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yam'asinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa ekisuffu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لَآ إِكۡرَاهَ فِي ٱلدِّينِۖ قَد تَّبَيَّنَ ٱلرُّشۡدُ مِنَ ٱلۡغَيِّۚ فَمَن يَكۡفُرۡ بِٱلطَّٰغُوتِ وَيُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ فَقَدِ ٱسۡتَمۡسَكَ بِٱلۡعُرۡوَةِ ٱلۡوُثۡقَىٰ لَا ٱنفِصَامَ لَهَاۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ
Tewali kuwaliriza bantu kuyingira mu Ddiini anti obulunngamu bweyolese okuva ku bubuze, oyo yenna awakanya Sitane n'akkiriza Katonda aba yeekutte ku muguwa omugumu ogutakutuka, bulijjo Katonda awulira nnyo amanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُخۡرِجُهُم مِّنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَوۡلِيَآؤُهُمُ ٱلطَّٰغُوتُ يُخۡرِجُونَهُم مِّنَ ٱلنُّورِ إِلَى ٱلظُّلُمَٰتِۗ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Katonda yemweyimirize w'abakkiriza, abaggya mu bizikiza n'abazza eri ekitangaala, bbo abatakkiriza, Sitane z'enneeyimirize zaabwe zibaggya mu kitangaala n'ebazza mu nzikiza, abo be bantu b'omu muliro b'akugutuulamu olubeerera.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِي حَآجَّ إِبۡرَٰهِـۧمَ فِي رَبِّهِۦٓ أَنۡ ءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ إِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّيَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ قَالَ أَنَا۠ أُحۡيِۦ وَأُمِيتُۖ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَأۡتِي بِٱلشَّمۡسِ مِنَ ٱلۡمَشۡرِقِ فَأۡتِ بِهَا مِنَ ٱلۡمَغۡرِبِ فَبُهِتَ ٱلَّذِي كَفَرَۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Tolaba oyo eyakaayana ne Ibrahim ku bw'omu bwa Katonda we, olw'okuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi (ekyamuletera okwekuluntaza), Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era n'atta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim n'agamba nti mazima Katonda aggya enjuba ebuvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuw'akanyi oyo n'atangaalirira anti bulijjo Katonda talunngamya bantu balyazaamaamya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَوۡ كَٱلَّذِي مَرَّ عَلَىٰ قَرۡيَةٖ وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا قَالَ أَنَّىٰ يُحۡيِۦ هَٰذِهِ ٱللَّهُ بَعۡدَ مَوۡتِهَاۖ فَأَمَاتَهُ ٱللَّهُ مِاْئَةَ عَامٖ ثُمَّ بَعَثَهُۥۖ قَالَ كَمۡ لَبِثۡتَۖ قَالَ لَبِثۡتُ يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۖ قَالَ بَل لَّبِثۡتَ مِاْئَةَ عَامٖ فَٱنظُرۡ إِلَىٰ طَعَامِكَ وَشَرَابِكَ لَمۡ يَتَسَنَّهۡۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰ حِمَارِكَ وَلِنَجۡعَلَكَ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِۖ وَٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡعِظَامِ كَيۡفَ نُنشِزُهَا ثُمَّ نَكۡسُوهَا لَحۡمٗاۚ فَلَمَّا تَبَيَّنَ لَهُۥ قَالَ أَعۡلَمُ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
Oba wamanyaako afaanana n'oyo eyayita ku kyalo ng'obusolya bwakyo bwagwa n'agamba nti bannyini kyo Katonda agenda kubalamusa atya nga baafa dda! Katonda n'amutta okumala emyaka kikumi oluvannyuma n'amuzuukiza n'amugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? N'amuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, n'amugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule eky'okulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba g'e ndogoyi yo nga bwetugagatta olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli n'agamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gy'olizuukizaamu abafu, Katonda n'agamba nti tokkirizanga! Ibrahim n'agamba nti nakkiriza naye nkisaba omutima gwange gutebenkere, Katonda n'amugamba nti kwata ebinyonyi bina obikunngaanye obitemeteme omale oteeke ku buli lusozi ekitundu, oluvannyuma obikoowoole bijja kujja gy'oli mubwangu, era kitegeere nti mazima Allah nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
مَّثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ كَمَثَلِ حَبَّةٍ أَنۢبَتَتۡ سَبۡعَ سَنَابِلَ فِي كُلِّ سُنۢبُلَةٖ مِّاْئَةُ حَبَّةٖۗ وَٱللَّهُ يُضَٰعِفُ لِمَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٌ
Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kkubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gw'aba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ لَا يُتۡبِعُونَ مَآ أَنفَقُواْ مَنّٗا وَلَآ أَذٗى لَّهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Abo abawaayo e mmaali yaabwe mu kkubo lya Katonda ate kyebawaddeyo nebatakigoberezaako kulaalaasa oba ebinyiiza, abo bagenda kufuna e mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe, era tebagenda kuba nakutya kwonna mu maaso ga Katonda era nga tebagenda kunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ قَوۡلٞ مَّعۡرُوفٞ وَمَغۡفِرَةٌ خَيۡرٞ مِّن صَدَقَةٖ يَتۡبَعُهَآ أَذٗىۗ وَٱللَّهُ غَنِيٌّ حَلِيمٞ
Ekigambo aky'obuntu bulamu n'okusonyiwa ky'ekirungi okusinga Saddaaka egoberezebwako ebigambo ebikosa, bulijjo Katonda si mwetaavu (era) wakisa kingi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تُبۡطِلُواْ صَدَقَٰتِكُم بِٱلۡمَنِّ وَٱلۡأَذَىٰ كَٱلَّذِي يُنفِقُ مَالَهُۥ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ فَمَثَلُهُۥ كَمَثَلِ صَفۡوَانٍ عَلَيۡهِ تُرَابٞ فَأَصَابَهُۥ وَابِلٞ فَتَرَكَهُۥ صَلۡدٗاۖ لَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّمَّا كَسَبُواْۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Abange mmwe Abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe n'okulalaasa n’okunakuwaza ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olw'abantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba n'alutonnyako n'aluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola ku lwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebalisobola kufuna mpeera yonna (mumaaso g’a Katonda) mw'ebyo bye baakola bw'atyo nno Katonda talunngamya bantu bajeemu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمَثَلُ ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمُ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ وَتَثۡبِيتٗا مِّنۡ أَنفُسِهِمۡ كَمَثَلِ جَنَّةِۭ بِرَبۡوَةٍ أَصَابَهَا وَابِلٞ فَـَٔاتَتۡ أُكُلَهَا ضِعۡفَيۡنِ فَإِن لَّمۡ يُصِبۡهَا وَابِلٞ فَطَلّٞۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ
Ate ekifaananyi ky'abo abawaayo emmaali yaabwe olw'okunoonya okusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kw'emitima gyabwe Katonda okwa namaddala, kiringa ennimiro eri ku ttaka ejjimu eriri ku katunnumba neetonnyebwamu namuttikwa wenkuba n'emeza ebibala byayo ebyekubisaamu emirundi ebiri nebweba tetonnyeddwako namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna bye mukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
أَيَوَدُّ أَحَدُكُمۡ أَن تَكُونَ لَهُۥ جَنَّةٞ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَابٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ لَهُۥ فِيهَا مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ وَأَصَابَهُ ٱلۡكِبَرُ وَلَهُۥ ذُرِّيَّةٞ ضُعَفَآءُ فَأَصَابَهَآ إِعۡصَارٞ فِيهِ نَارٞ فَٱحۡتَرَقَتۡۗ كَذَٰلِكَ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَتَفَكَّرُونَ
Abaffe omu ku mmwe yandyagadde okubeera n'ennimiro ey'emitende n'emizabbibu nga emigga gikulukutira wansi waayo ng'alina mu yo buli kika ky'ebibala, obukadde nebumutuukako ate nga alina abaana abakyali abato, kibuyaga nga alimu n'omuliro n'agikuba n'eggya n'eggwawo, bw'atyo nno Katonda bw'abannyonyola ebigambo ebigasa musobole okufumiitiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنفِقُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا كَسَبۡتُمۡ وَمِمَّآ أَخۡرَجۡنَا لَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِۖ وَلَا تَيَمَّمُواْ ٱلۡخَبِيثَ مِنۡهُ تُنفِقُونَ وَلَسۡتُم بِـَٔاخِذِيهِ إِلَّآ أَن تُغۡمِضُواْ فِيهِۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٌ
Abange mmwe abakkiriza muweeyo ku birungi byemuba mukoze ne kw'ebyo bye tubaggyira wansi mu ttaka, temulondangamu ebibi mu bbyo mube nga byemuwaayo, so singa biba biweereddwa mmwe temwandibitutte okuggyako nga muzibiridde (nemumala gabitwala) era musaana mukimanye nti mazima Katonda Mugagga talina bwetaavu eri kintu kyonna era y'atenderezebwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلشَّيۡطَٰنُ يَعِدُكُمُ ٱلۡفَقۡرَ وَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ وَٱللَّهُ يَعِدُكُم مَّغۡفِرَةٗ مِّنۡهُ وَفَضۡلٗاۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ
Sitaane ebatiisa okwavuwala bwe munasaddaaka n'ebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gy'ali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يُؤۡتِي ٱلۡحِكۡمَةَ مَن يَشَآءُۚ وَمَن يُؤۡتَ ٱلۡحِكۡمَةَ فَقَدۡ أُوتِيَ خَيۡرٗا كَثِيرٗاۗ وَمَا يَذَّكَّرُ إِلَّآ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ
Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gw'aba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okuggyako abalina amagezi agakola ennyo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن نَّفَقَةٍ أَوۡ نَذَرۡتُم مِّن نَّذۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُهُۥۗ وَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٍ
(Muteekwa mukimanye nti ) temulina kyonna kye muwaayo oba naziri yonna gye mwetema mazima Katonda abimanyi. Abalyazaamaanyi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِن تُبۡدُواْ ٱلصَّدَقَٰتِ فَنِعِمَّا هِيَۖ وَإِن تُخۡفُوهَا وَتُؤۡتُوهَا ٱلۡفُقَرَآءَ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۚ وَيُكَفِّرُ عَنكُم مِّن سَيِّـَٔاتِكُمۡۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ
Saddaaka bwemuziwa mu lwatu zibeera nsuffu obulungi naye ate bwe muba muzikisizza (nemuziwa abaavu) mukyama kyekisinga obulungi gyemuli, era ekyo kibasangulako ebibi byammwe, bulijjo Katonda amanyi nnyo byemukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ لَّيۡسَ عَلَيۡكَ هُدَىٰهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَلِأَنفُسِكُمۡۚ وَمَا تُنفِقُونَ إِلَّا ٱبۡتِغَآءَ وَجۡهِ ٱللَّهِۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ
(Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulunngama kwabwe, wabula Katonda alunngamya oyo gw'aba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) ate temuwaayo okuggyako okunoonya okusiima kwa Katonda, na buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamaanyizibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لِلۡفُقَرَآءِ ٱلَّذِينَ أُحۡصِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا يَسۡتَطِيعُونَ ضَرۡبٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ يَحۡسَبُهُمُ ٱلۡجَاهِلُ أَغۡنِيَآءَ مِنَ ٱلتَّعَفُّفِ تَعۡرِفُهُم بِسِيمَٰهُمۡ لَا يَسۡـَٔلُونَ ٱلنَّاسَ إِلۡحَافٗاۗ وَمَا تُنفِقُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِهِۦ عَلِيمٌ
(Saddaaka ziweebwa) abaavu abo abeemalira mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nga tebasobola kutambula mu Nsi nga banoonya Riziki. Olw'ensa zaabwe, atamanyi alowooza nti bagagga olw'ensa zebalina osobola okubamanya olwobubonero bwabwe, anti tebabeeba Bantu nga basaba, (n’olwekyo abalina baweeyo) anti buli kalungi konna kemuwaayo Katonda akamanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ فَلَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Abo abawaayo e mmaali yaabwe ekiro n'emisana, mu kyama ne mu lwatu, bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe, tebagenda kutuukibwako kutya era tebagenda kunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ ٱلرِّبَوٰاْ لَا يَقُومُونَ إِلَّا كَمَا يَقُومُ ٱلَّذِي يَتَخَبَّطُهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مِنَ ٱلۡمَسِّۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡبَيۡعُ مِثۡلُ ٱلرِّبَوٰاْۗ وَأَحَلَّ ٱللَّهُ ٱلۡبَيۡعَ وَحَرَّمَ ٱلرِّبَوٰاْۚ فَمَن جَآءَهُۥ مَوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ فَٱنتَهَىٰ فَلَهُۥ مَا سَلَفَ وَأَمۡرُهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَنۡ عَادَ فَأُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lw'okuzuukira tebagenda kuyimuka mu ntaana wabula nga bayimuka ng'oyo aba akubiddwa Sitaane n'agwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonn'a kuwanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) ate nga mazima Katonda yakkiriza okusuubula, ate yo Ribba n'agiziza. Kale nno oyo atuukwako okubuulirira okuva eri Katonda n'ava ku Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, n'ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo eri Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَمۡحَقُ ٱللَّهُ ٱلرِّبَوٰاْ وَيُرۡبِي ٱلصَّدَقَٰتِۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ كَفَّارٍ أَثِيمٍ
Katonda asaanyaawo Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda).
Arabiske fortolkninger (tafasir):
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ وَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ
Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirungi nebayimirizaawo e Sswala nebatoola Zzaka bagenda kufuna empeera yaabwe ewa Katonda waabwe tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَذَرُواْ مَا بَقِيَ مِنَ ٱلرِّبَوٰٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era muleke kyonna ekya Ribba ekyasigalayo bwe muba nga ddala muli bakkiriza.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
فَإِن لَّمۡ تَفۡعَلُواْ فَأۡذَنُواْ بِحَرۡبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦۖ وَإِن تُبۡتُمۡ فَلَكُمۡ رُءُوسُ أَمۡوَٰلِكُمۡ لَا تَظۡلِمُونَ وَلَا تُظۡلَمُونَ
Bwemutaakikole mumanye nti Katonda n'omubakawe babalangiriddeko olutalo naye bwe muba mwenenyezza sente zammwe (Capital) zemwassaamu muziggyeeyo, mukino mube nga temufiiriza wadde okufiirizibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَإِن كَانَ ذُو عُسۡرَةٖ فَنَظِرَةٌ إِلَىٰ مَيۡسَرَةٖۚ وَأَن تَصَدَّقُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Abanjibwa bwaba nga mwavu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
وَٱتَّقُواْ يَوۡمٗا تُرۡجَعُونَ فِيهِ إِلَى ٱللَّهِۖ ثُمَّ تُوَفَّىٰ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ
Mutye olunaku lwe muliddizibwa ewa Katonda oluvannyuma buli muntu asasulwe ebyo byeyakola era tebagenda kulyazamaanyizibwa.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا تَدَايَنتُم بِدَيۡنٍ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى فَٱكۡتُبُوهُۚ وَلۡيَكۡتُب بَّيۡنَكُمۡ كَاتِبُۢ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَلَا يَأۡبَ كَاتِبٌ أَن يَكۡتُبَ كَمَا عَلَّمَهُ ٱللَّهُۚ فَلۡيَكۡتُبۡ وَلۡيُمۡلِلِ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥ وَلَا يَبۡخَسۡ مِنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ فَإِن كَانَ ٱلَّذِي عَلَيۡهِ ٱلۡحَقُّ سَفِيهًا أَوۡ ضَعِيفًا أَوۡ لَا يَسۡتَطِيعُ أَن يُمِلَّ هُوَ فَلۡيُمۡلِلۡ وَلِيُّهُۥ بِٱلۡعَدۡلِۚ وَٱسۡتَشۡهِدُواْ شَهِيدَيۡنِ مِن رِّجَالِكُمۡۖ فَإِن لَّمۡ يَكُونَا رَجُلَيۡنِ فَرَجُلٞ وَٱمۡرَأَتَانِ مِمَّن تَرۡضَوۡنَ مِنَ ٱلشُّهَدَآءِ أَن تَضِلَّ إِحۡدَىٰهُمَا فَتُذَكِّرَ إِحۡدَىٰهُمَا ٱلۡأُخۡرَىٰۚ وَلَا يَأۡبَ ٱلشُّهَدَآءُ إِذَا مَا دُعُواْۚ وَلَا تَسۡـَٔمُوٓاْ أَن تَكۡتُبُوهُ صَغِيرًا أَوۡ كَبِيرًا إِلَىٰٓ أَجَلِهِۦۚ ذَٰلِكُمۡ أَقۡسَطُ عِندَ ٱللَّهِ وَأَقۡوَمُ لِلشَّهَٰدَةِ وَأَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَرۡتَابُوٓاْ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً حَاضِرَةٗ تُدِيرُونَهَا بَيۡنَكُمۡ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَلَّا تَكۡتُبُوهَاۗ وَأَشۡهِدُوٓاْ إِذَا تَبَايَعۡتُمۡۚ وَلَا يُضَآرَّ كَاتِبٞ وَلَا شَهِيدٞۚ وَإِن تَفۡعَلُواْ فَإِنَّهُۥ فُسُوقُۢ بِكُمۡۗ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱللَّهُۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ
Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye ebbanja lyonna nga liriko ekiseera ekigere mu liwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bw'aba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olw'obutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano eno) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mw'abo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, olw'okutya omu okwerabira, munne n'abeeranga amujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo wekiggwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri y'emu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lye nkanawa oba lyakusasula ddi) okuggyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mw'ekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era ne bwemuba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
۞ وَإِن كُنتُمۡ عَلَىٰ سَفَرٖ وَلَمۡ تَجِدُواْ كَاتِبٗا فَرِهَٰنٞ مَّقۡبُوضَةٞۖ فَإِنۡ أَمِنَ بَعۡضُكُم بَعۡضٗا فَلۡيُؤَدِّ ٱلَّذِي ٱؤۡتُمِنَ أَمَٰنَتَهُۥ وَلۡيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥۗ وَلَا تَكۡتُمُواْ ٱلشَّهَٰدَةَۚ وَمَن يَكۡتُمۡهَا فَإِنَّهُۥٓ ءَاثِمٞ قَلۡبُهُۥۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ
Bwe muba nga mutambula olugendo ne mutafuna muwandiisi olwo nno omusingo gukwatibwe naye bwe muba nga mwesigannganye nemutawandiika ndagaano oba okukwata omusingo oyo eyateekebwamu obwesige ateekwa okutuukiriza obwesigwa obwo era ateekeddwa okutya mukama omulabirizi we (bwemutwalibwa nga okuba abajulizi) temukwekanga obujulizi, oyo yenna abukweka omutima gwe guba gukoze ekibi bulijjo Katonda amanyi byonna byemukola.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لِّلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَإِن تُبۡدُواْ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ أَوۡ تُخۡفُوهُ يُحَاسِبۡكُم بِهِ ٱللَّهُۖ فَيَغۡفِرُ لِمَن يَشَآءُ وَيُعَذِّبُ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ
Ebiri mu Ggulu omusanvu ne mu Nsi byonna bya Katonda, kamwolese oba mukweke ebiri mu mitima gyammwe Katonda agenda kubibabalira, olwo nno asonyiwe oyo gw'aliba ayagadde era abonereze oyo gw'aliba ayagadde anti Katonda muyinza wabuli kintu.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
ءَامَنَ ٱلرَّسُولُ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِ مِن رَّبِّهِۦ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَۚ كُلٌّ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَمَلَٰٓئِكَتِهِۦ وَكُتُبِهِۦ وَرُسُلِهِۦ لَا نُفَرِّقُ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّن رُّسُلِهِۦۚ وَقَالُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَاۖ غُفۡرَانَكَ رَبَّنَا وَإِلَيۡكَ ٱلۡمَصِيرُ
Omubaka yakkiriza n'akakasa ebyo ebyassibwa kuye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bbo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gy'oli y'eri obuddo.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
لَا يُكَلِّفُ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۚ لَهَا مَا كَسَبَتۡ وَعَلَيۡهَا مَا ٱكۡتَسَبَتۡۗ رَبَّنَا لَا تُؤَاخِذۡنَآ إِن نَّسِينَآ أَوۡ أَخۡطَأۡنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تَحۡمِلۡ عَلَيۡنَآ إِصۡرٗا كَمَا حَمَلۡتَهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِنَاۚ رَبَّنَا وَلَا تُحَمِّلۡنَا مَا لَا طَاقَةَ لَنَا بِهِۦۖ وَٱعۡفُ عَنَّا وَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَآۚ أَنتَ مَوۡلَىٰنَا فَٱنصُرۡنَا عَلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Katonda tawaliriza muntu okuggyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olw'ebibi byegwetikka. Ayi Mukama omulabirizi waffe totuvunaana byetukoze mukwerabira oba mu bu'tanwa, Ayi Mukama omulabirizi waffe totutikka obuzito nga bwewatikka abo abaatukulembera, Ayi Mukama omulabirizi waffe totulagira kukola byetutasobola, tuggyeko ebibi otusonyiwe otusaasire, Ggwe mukuumi waffe tutaase ku bantu Abaakaafuwala.
Arabiske fortolkninger (tafasir):
 
Meningsmæssige oversættelser Kapitel (sura): AL-BAQARAH
Sura oversigt Sidetal
 
Meningsmæssige oversættelser af Den Hellige Koran - Den lugandiske oversættelse - Det Afrikanske Udviklingsinstitut - Oversigt over oversættelser

Udstedt af Det Afrikanske Udviklingsinstitut.

Luk